< 2 Abakkolinso 6 >

1 Ffe ng’abakolera awamu ne Katonda, tubeegayirira, ekisa kya Katonda kye mufunye, kireme kufa bwereere.
Working together, we entreat also that you do not receive the grace of God in vain.
2 Kubanga agamba nti, “Nakuwulira mu biro ebituufu, era ne nkuyamba ku lunaku olw’obulokozi.” Laba kaakano kye kiseera ekituufu, era laba kaakano lwe lunaku olw’obulokozi.
For he says, “At an acceptable time I listened to you. In a day of salvation I helped you.” Behold, now is the acceptable time. Behold, now is the day of salvation.
3 Tetuleeta kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okunenyezebwa,
We give no occasion of stumbling in anything, that our service may not be blamed,
4 naye mu buli kintu tweyoleka nga tuli baweereza ba Katonda, mu kugumiikiriza okungi okw’okubonaabona, mu bizibu byonna ebya buli ngeri, ne mu kunyolwa,
but in everything commending ourselves as servants of God: in great endurance, in afflictions, in hardships, in distresses,
5 ne mu kukubibwa ne mu kusibibwa mu kkomera, ne mu busasamalo, ne mu kutakabana, ne mu kutunula, ne mu kusiiba,
in beatings, in imprisonments, in riots, in labors, in watchings, in fastings,
6 ne mu bulongoofu, ne mu kumanya, ne mu bugumiikiriza, ne mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bukuusa,
in pureness, in knowledge, in perseverance, in kindness, in the Holy Spirit, in sincere love,
7 ne mu kigambo eky’amazima, ne mu maanyi ga Katonda olw’ebyokulwanyisa eby’obutuukirivu ebiri mu mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono,
in the word of truth, in the power of God, by the armor of righteousness on the right hand and on the left,
8 wakati mu kitiibwa n’okunyoomebwa, wakati mu kutufeebya, ne wakati mu kututenda, nga tuyitibwa abalimba ate nga tuli ba mazima.
by glory and dishonor, by evil report and good report, as deceivers and yet true,
9 Ensi etusussa amaaso nga b’etemanyi, naye ate nga tumanyiddwa ng’abaafa, naye laba nga tuli balamu, nga tubonerezebwa naye ate nga tetuttibwa,
as unknown and yet well known, as dying and behold—we live, as punished and not killed,
10 nga tunakuwala naye ate nga tusanyuka bulijjo, nga tuli ng’abaavu naye nga tugaggawaza bangi, nga tuli ng’abatalina kintu naye ate nga tulina byonna.
as sorrowful yet always rejoicing, as poor yet making many rich, as having nothing and yet possessing all things.
11 Twogedde lwatu gye muli Abakkolinso, n’omutima gwaffe gugaziye.
Our mouth is open to you, Corinthians. Our heart is enlarged.
12 Musiriikiridde bingi naye ffe tubategeezezza byonna.
You are not restricted by us, but you are restricted by your own affections.
13 Kaakano njogera nammwe nga bwe nandyogedde n’abaana, temutwekwekerera.
Now in return—I speak as to my children—you also open your hearts.
14 Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?
Don’t be unequally yoked with unbelievers, for what fellowship do righteousness and iniquity have? Or what fellowship does light have with darkness?
15 Kristo atabagana atya ne Beriyali? Oba mugabo ki omukkiriza gw’alina n’atali mukkiriza?
What agreement does Christ have with Belial? Or what portion does a believer have with an unbeliever?
16 Yeekaalu ya Katonda ne bakatonda abalala bibeera bitya obumu? Kubanga ffenna tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu. Nga Katonda bwe yagamba nti, “Nnaabeeranga mu bo era natambuliranga mu bo, nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”
What agreement does a temple of God have with idols? For you are a temple of the living God. Even as God said, “I will dwell in them and walk in them. I will be their God and they will be my people.”
17 Noolwekyo “muve wakati mu bo, mubeeyawuleko, bw’ayogera Mukama. Temukwata ku bitali birongoofu, nange nnaabaaniriza.”
Therefore “‘Come out from among them, and be separate,’ says the Lord. ‘Touch no unclean thing. I will receive you.
18 Era “nnaabeeranga Kitammwe, nammwe ne mubeeranga batabani bange ne bawala bange,” bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.
I will be to you a Father. You will be to me sons and daughters,’ says the Lord Almighty.”

< 2 Abakkolinso 6 >