< 2 Abakkolinso 3 >

1 Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala?
Elkezdjük-e ismét ajánlgatni magunkat? Vagy talán szükségünk van, mint némelyeknek, ajánlólevelekre hozzátok vagy tőletek?
2 Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna,
A mi levelünk ti vagytok, szívünkbe írva, amelyet ismer és olvas minden ember.
3 ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.
Mert nyilvánvaló, hogy Krisztusnak a mi szolgálatunk által szerzett levele vagytok, nem tintával, hanem az élő Isten Lelkével írva, nem kőtáblákra, hanem a szívnek hústábláira.
4 Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo.
Ilyen bizodalmunk Krisztus által van Isten iránt.
5 Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda,
Nem mintha önmagunktól volnánk alkalmasak, magunknak tulajdonítva valamit, ellenkezőleg a mi alkalmas voltunk Istentől van,
6 oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.
aki alkalmassá tett minket arra, hogy új szövetség szolgái legyünk, nem a betűé, hanem a Léleké, mert a betű megöl, a Lélek pedig megelevenít.
7 Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako,
Ha pedig a halálnak betűkkel kövekbe vésett szolgálata dicsőséges volt, úgyhogy Izrael fiai nem is nézhettek Mózes arcára, arcának mulandó dicsősége miatt,
8 kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa?
hogyne volna még inkább dicsőséges a Lélek szolgálata?
9 Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa.
Mert ha a kárhoztatás szolgálata dicsőséges, mennyivel inkább dicsőséges az igazság szolgálata?
10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino.
Sőt az egykor dicsőített, már nem is dicsőséges, az őt felülmúló dicsőség miatt.
11 Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.
Mert ha dicsőséges a mulandó, sokkal inkább dicsőséges a maradandó.
12 Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi,
Mivel tehát ilyen reménységünk van, nagy nyíltsággal szólunk.
13 so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako.
És nem úgy, mint Mózes, aki leplet borított arcára, hogy ne lássák Izrael fiai mulandó dicsőségének végét.
14 Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo.
De értelmük eltompult. Mert ugyanaz a lepel mind e mai napig ott van felfedetlenül az Ószövetség olvasásánál, mert az csak Krisztusban tűnik el.
15 Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka.
Sőt mindmáig, amikor csak olvassák Mózest, lepel borul szívükre,
16 Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo.
de ha majd megtérnek az Úrhoz, akkor lehull a lepel.
17 Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe.
Az Úr pedig Lélek, és ahol az Úr Lelke van, ott a szabadság.
18 Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.
Mi pedig az Úr dicsőségét mindnyájan fedetlen arccal szemléljük, az Úr Lelke által ugyanarra a képre formálódunk, dicsőségről dicsőségre.

< 2 Abakkolinso 3 >