< 2 Ebyomumirembe 9 >

1 Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani n’ajja e Yerusaalemi okumugeza n’ebibuuzo ebikalubo, ng’awerekeddwako ekibinja ekinene omwali eŋŋamira ezaali zeetise ebyakaloosa, ne zaabu nnyingi nnyo n’amayinja ag’omuwendo omungi. Awo bwe yatuuka eri Sulemaani, n’anyumya naye ku ebyo byonna ebyali ku mutima gwe.
Regina quoque Saba, cum audisset famam Salomonis, venit ut tentaret eum in ænigmatibus in Ierusalem, cum magnis opibus et camelis, qui portabant aromata, et auri plurimum, gemmasque pretiosas. Cumque venisset ad Salomonem, locuta est ei quæcumque erant in corde suo.
2 Sulemaani n’addamu ebibuuzo bye byonna, ne wataba n’ekimu ekyamulema okumunnyonnyola.
Et exposuit ei Salomon omnia quæ proposuerat: nec quidquam fuit, quod non perspicuum ei fecerit.
3 Awo Kabaka omukazi w’e Seeba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani, n’olubiri lwe yali azimbye,
Quæ postquam vidit, sapientiam scilicet Salomonis, et domum quam ædificaverat,
4 n’emmere eyaliibwanga ku mmeeza ye, n’okutuula okw’abakungu be, n’abaweereza be mu byambalo byabwe, n’enyambuka gye yayambukangamu okugenda okuwaayo ebiweebwayo mu yeekaalu ya Mukama, n’aggwaamu omwoyo.
necnon et cibaria mensæ eius, et habitacula servorum, et officia ministrorum eius, et vestimenta eorum, pincernas quoque et vestes eorum, et victimas quas immolabat in domo Domini: non erat præ stupore ultra in ea spiritus.
5 N’agamba kabaka nti, “Bye nnawulira nga ndi mu nsi yange ku bikwata ku bikolwa byo n’amagezi go bya mazima,
Dixitque ad regem: Verus est sermo, quem audieram in terra mea de virtutibus et sapientia tua.
6 naye nnali sibikkirizanga okutuusa bwe najja ne mbyelabirako n’amaaso gange. Laba saabuulirwa wadde ekitundu eky’ettutumo lyo; bye mpulidde bisingawo ku ebyo bye nnawulira.
Non credebam narrantibus donec ipsa venissem, et vidissent oculi mei, et probassem vix medietatem sapientiæ tuæ mihi fuisse narratam: vicisti famam virtutibus tuis.
7 Abantu bo nga balina omukisa! Abaddu bo abakuweereza bulijjo ne bawulira amagezi go nga balina omukisa!
Beati viri tui, et beati servi tui, qui assistunt coram te omni tempore, et audiunt sapientiam tuam.
8 Mukama Katonda wo yeebazibwe akwenyumiririzaamu, era eyakuteeka ku ntebe yo ey’obwakabaka. Olw’okwagala kwa Katonda wo eri Isirayiri, era n’okwagala okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka okubafuga, okukola obwenkanya n’obutuukirivu.”
Sit Dominus Deus tuus benedictus, qui voluit te ordinare super thronum suum, regem Domini Dei tui. Quia diligit Deus Israel, et vult servare eum in æternum, idcirco posuit te super eum regem ut facias iudicia atque iustitiam.
9 N’alyoka awa kabaka ettani nnya n’ekitundu eza zaabu, n’ebyakaloosa bingi nnyo nnyini, n’amayinja ag’omuwendo. Waali tewabangawo bya kaloosa bingi bwe bityo nga Kabaka omukazi w’e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
Dedit autem regi centum viginti talenta auri, et aromata multa nimis, et gemmas pretiosissimas: non fuerunt aromata talia ut hæc, quæ dedit regina Saba regi Salomoni.
10 Abasajja ba Kulamu n’abasajja ba Sulemaani abaasuubulanga zaabu okuva e Ofiri baaleetanga n’emitoogo n’amayinja ag’omuwendo omungi.
Sed et servi Hiram cum servis Salomonis attulerunt aurum de Ophir, et ligna thyina, et gemmas pretiosissimas:
11 Kabaka n’akozesa emitoogo egyo okuzimba amaddaala aga yeekaalu ya Mukama n’ag’olubiri lwa kabaka, ate era n’akolamu n’ennanga n’entongooli z’abayimbi. Waali tewabangawo bifaanana ng’ebyo mu nsi ya Yuda.
de quibus fecit rex, de lignis scilicet thyinis, gradus in domo Domini, et in domo regia, citharas quoque, et psalteria cantoribus: numquam visa sunt in Terra Iuda ligna talia.
12 Kabaka Sulemaani n’awa Kabaka omukazi w’e Seeba byonna bye yayagala, okusinga n’ebyo bye yali amuleetedde. N’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye n’ekibinja kye.
Rex autem Salomon dedit reginæ Saba cuncta quæ voluit, et quæ postulavit, et multo plura quam attulerat ad eum: quæ reversa, abiit in terram suam cum servis suis.
13 Obuzito bwa zaabu obwaleetebwanga eri Sulemaani buli mwaka bwaweranga ettani amakumi abiri mu ttaano,
Erat autem pondus auri, quod afferebatur Salomoni per singulos annos, sexcenta sexaginta sex talenta auri:
14 okwo nga tagasseeko ey’obusuulu eyaweebwangayo abasuubuzi n’abamaguzi. Ate era ne bakabaka ab’e Buwalabu ne bagavana ab’ensi bamuleeteranga zaabu n’effeeza.
excepta ea summa, quam legati diversarum gentium, et negotiatores afferre consueverant, omnesque reges Arabiæ, et satrapæ terrarum, qui comportabant aurum, et argentum Salomoni.
15 Kabaka Sulemaani n’aweesa engabo ennene ebikumi bibiri okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo ssatu n’ekitundu eza zaabu omukubeekube.
Fecit igitur rex Salomon ducentas hastas aureas de summa sexcentorum aureorum, qui in singulis hastis expendebantur:
16 N’aweesa n’engabo entono ebikumi bisatu okuva mu zaabu omukubeekube, buli emu ku zo ng’erimu kilo emu ne desimoolo musanvu eza zaabu. Kabaka n’aziteeka mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni.
trecenta quoque scuta aurea trecentorum aureorum, quibus tegebantur singula scuta: posuitque ea rex in armentario, quod erat consitum nemore.
17 Kabaka n’akola entebe ey’obwakabaka ennene nga ya masanga, n’agibikkako zaabu ennongoose.
Fecit quoque rex solium eburneum grande, et vestivit illud auro mundissimo.
18 Entebe ye ey’obwakabaka yaliko amaddaala mukaaga, n’akatebe kawumulizaako ebigere akaakolebwa mu zaabu, era yaliko n’emikono eruuyi n’eruuyi, n’ebibumbe by’empologoma ennume bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g’emikono.
Sex quoque gradus, quibus ascendebatur ad solium, et scabellum aureum, et brachiola duo altrinsecus, et duos leones stantes iuxta brachiola,
19 N’empologoma kkumi na bbiri emmumbe zaali zisimbiddwa eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali eyakolebwa ng’eyo mu bwakabaka obulala bwonna.
sed et alios duodecim leunculos stantes super sex gradus ex utraque parte: non fuit tale solium in universis regnis.
20 Ebinywerwamu byonna ebya kabaka Sulemaani byali bya zaabu, n’ebintu byonna ebyali mu lubiri lw’Ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu omulongoseemu. Tewaali kyakolebwa mu ffeeza kubanga mu biro bya Sulemaani effeeza yabanga ya muwendo gwa wansi.
Omnia quoque vasa convivii regis erant aurea, et vasa domus saltus Libani ex auro purissimo. Argentum enim in diebus illis pro nihilo reputabatur.
21 Kabaka yalina ebyombo ebyagendanga e Talusiisi n’abasajja ba Kulamu, era buli myaka esatu byaleetanga zaabu n’effeeza, n’amasanga, n’enkoba n’enkima okuva e Talusiisi.
Siquidem naves regis ibant in Tharsis cum servis Hiram, semel in annis tribus: et deferebant inde aurum et argentum, et ebur, et simias, et pavos.
22 Kabaka Sulemaani yali mugagga nnyo era nga mugezi okusinga bakabaka bonna ab’ensi.
Magnificatus est igitur Salomon super omnes reges terræ præ divitiis et gloria.
23 Bakabaka bonna baagendanga gyali okumwebuuzaako, n’okuwulira amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
Omnesque reges terrarum desiderabant videre faciem Salomonis, ut audirent sapientiam, quam dederat Deus in corde eius:
24 Buli mwaka, buli eyajjanga, yaleetanga ekirabo, ebimu byali bintu bya ffeeza ne zaabu, n’ebirala nga byambalo, n’ebirala nga byakulwanyisa, n’ebirala nga byakaloosa, n’embalaasi, n’ennyumbu.
et deferebant ei munera, vasa argentea, et aurea, et vestes, et arma, et aromata, equos, et mulos, per singulos annos.
25 Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya omwaterekebwanga embalaasi n’amagaali; n’abavuzi ab’amagaali baali emitwalo ebiri be yateeka mu bibuga eby’amagaali, n’abamu ku bo nga babeera naye mu Yerusaalemi.
Habuit quoque Salomon quadraginta millia equorum in stabulis, et curruum, equitumque duodecim millia, constituitque eos in urbibus quadrigarum, et ubi erat rex in Ierusalem.
26 Era yafuganga bakabaka bonna okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, n’okutuuka ku nsalo ya Misiri.
Exercuit etiam potestatem super cunctos reges a flumine Euphrate usque ad terram Philisthinorum, et usque ad terminos Ægypti.
27 Kabaka n’afuula ffeeza okuba ekya bulijjo ng’amayinja mu Yerusaalemi era n’emivule ne giba mingi ng’emisukamooli egiri mu biwonvu.
Tantamque copiam præbuit argenti in Ierusalem quasi lapidum: et cedrorum tantam multitudinem velut sycomororum, quæ gignuntur in campestribus.
28 Sulemaani yasuubulanga embalaasi okuva mu Misiri n’ensi endala.
Adducebantur autem ei equi de Ægypto, cunctisque regionibus.
29 Ebyafaayo ebirala byonna ebyabaawo mu mulembe gwa Sulemaani okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, tebyawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Nasani, ne mu kwolesebwa kwa Akiya Omusiiro, ne mu birooto eby’omulabi Iddo ebikwata ku Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
Reliqua autem operum Salomonis priorum et novissimorum scripta sunt in verbis Nathan Prophetæ, et in libris Ahiæ Silonitis, in visione quoque Addo Videntis, contra Ieroboam filium Nabat.
30 Sulemaani n’afugira Isirayiri yenna mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana.
Regnavit autem Salomon in Ierusalem super omnem Israel quadraginta annis.
31 N’afa era n’aziikibwa mu kibuga kya kitaawe Dawudi, Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.
Dormivitque cum patribus suis, et sepelierunt eum in Civitate David: regnavitque Roboam filius eius pro eo.

< 2 Ebyomumirembe 9 >