< 2 Ebyomumirembe 4 >
1 Yazimba ekyoto eky’ekikomo, obuwanvu bwakyo mita mwenda, n’obugazi bwakyo mita mwenda, ng’obugulumivu bwakyo mita nnya n’ekitundu.
2 N’akola Ennyanja ensaanuuse, nga neekulungirivu, nga ya mita nnya n’ekitundu okuva ku mugo okutuuka ku mugo, ng’obugulumivu eri mita bbiri ne desimoolo ssatu, ate ng’obwetooloovu eri mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
3 Wansi waakyo waaliyo ebifaananyi by’ente ennume nga mumbe, nga buli emu eri kitundu kya mita obuwanvu, era nga zikyetoolodde. Ebifaananyi byasaanuusibwanga mu nnyiriri bbiri bbiri, ekidiba bwe kyasaanuusibwanga.
4 Ennyanja yatuulanga ku bifaananyi by’ente ennume kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiikakkono, n’essatu endala nga zitunuulira ebugwanjuba, n’essatu endala nga zitunuulira obukiikaddyo, n’essatu endala nga zitunuulira ebuvanjuba. Ennyanja yatuulanga ku zo waggulu, n’amagulu gaazo ag’emabega nga gatunudde munda, wakati waayo.
5 Obukwafu bwayo bwali nga luta, n’omugo gwayo ng’omugo gw’ekikopo, n’okufaanana ng’efaanana ng’ekimuli ky’amalanga. Yatekebwangamu lita emitwalo mukaaga.
6 N’akolayo ne bensani kkumi ez’okwolezangamu, etaano n’azissa ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ettaano endala n’azissa ku luuyi olw’obukiikakkono. Omwo mwe mwanyumungulizibwanga ebintu ebyakozesebwanga mu kiseera eky’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, naye ng’Ennyanja ya bakabona okuginaabirangamu.
7 N’akola ebikondo eby’ettaala ez’omukono kkumi nga bya zaabu, ng’ekiragiro kyabyo bwe kyali, n’abiteeka mu yeekaalu, ebitaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’ebitaano ebirala ku luuyi olw’obukiikakkono.
8 N’akola n’emmeeza kkumi, n’aziteeka mu yeekaalu, etaano ku luuyi olw’obukiikaddyo, n’etaano endala ku luuyi olw’obukiikakkono. N’akola ne bbakuli ezikozesebwa okumansira kkumi nga za zaabu.
9 N’akola oluggya lwa bakabona, n’oluggya olunene ddala, n’enzigi ez’oluggya, n’enzigi n’azisaaba n’ekikomo.
10 Ennyanja n’agiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ebuvanjuba mu yeekaalu.
11 N’akola n’ensuwa, n’ebisena, ne bbakuli. Awo Kulamu n’amaliriza omulimu ogwali gumuwereddwa kabaka Sulemaani ku yeekaalu ya Katonda:
12 empagi bbiri, n’emitwe egifaanana ng’ebakuli ku mitwe gy’empagi, n’ebitimba bya mirundi ebiri nga bibeera ku mitwe egyali ku mpagi,
13 n’amakomamawanga ebikumi bina obw’ebitimba biri ebibiri, buli kitimba nga kirina ennyiriri bbiri ez’amakomamawanga, nga zitimbye emitwe gy’empagi.
14 N’akola n’ebiyimirirwako, n’amabensani gaakwo,
15 n’Ennyanja n’ebifaananyi by’ente ennume emumbe,
16 n’ensuwa, n’ebisena, n’ewuuma ez’ennyama, n’ebintu byonna ebigenderako. Ebintu byonna Kulamu bye yakolera Kabaka Sulemaani ku lwa yeekaalu ya Mukama yabizigula n’ekikomo.
17 Kabaka yalagira babisaanuusize mu lusenyi lwa Yoludaani, awali ettaka ery’ebbumba wakati w’e Sukkosi n’e Zereda.
18 Sulemaani n’akola ebintu ebyo byonna nga bingi nnyo nnyini, n’obuzito bw’ekikomo mwe byakolebwa ne butamanyibwa.
19 Sulemaani n’akola ebintu byonna ebyole mu yeekaalu ya Katonda: ekyoto ekya zaabu, n’emmeeza okwabanga emigaati egy’okulaga,
20 n’ebikondo eby’ettaala ez’omukono nga bya zaabu, wamu ne ttaala zaabyo, okwakiranga mu maaso g’awaayimirirwanga okwogera, ng’ekiragiro bwe kyali,
21 n’ebimuli, ne ttaala, ne wuuma nga byonna zaabu ntuukirivu,
22 n’ebisalako ebisirinza, ne bensani, ne bbakuli ez’okumansira akaloosa, ne fulampeni nga bya zaabu ennongoose, n’enzigi za yeekaalu, n’enzigi ez’omunda mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, n’enzigi ez’ekisenge ekinene, nga byonna bya zaabu.