< 2 Ebyomumirembe 36 >

1 Awo abantu b’ensi eyo ne balonda Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya, n’asikira kitaawe mu Yerusaalemi.
ויקחו עם הארץ את יהואחז בן יאשיהו וימליכהו תחת אביו בירושלם׃
2 Yekoyakaazi yali wa myaka amakumi abiri mu esatu bwe yalya obwakabaka, n’afugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.
בן שלוש ועשרים שנה יואחז במלכו ושלשה חדשים מלך בירושלם׃
3 Kabaka w’e Misiri yamugoba ku ntebe ey’obwakabaka mu Yerusaalemi, n’asalira Yuda obusuulu obwa ttani ssatu n’obutundu buna obwa ffeeza ne kilo amakumi asatu mu nnya eza zaabu.
ויסירהו מלך מצרים בירושלם ויענש את הארץ מאה ככר כסף וככר זהב׃
4 Kabaka w’e Misiri n’afuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakaazi okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n’akyusa n’erinnya lye, n’amutuuma Yekoyakimu, naye n’atwala Yekoyakaazi muganda we nga musibe e Misiri.
וימלך מלך מצרים את אליקים אחיו על יהודה וירושלם ויסב את שמו יהויקים ואת יואחז אחיו לקח נכו ויביאהו מצרימה׃
5 Yekoyakimu yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we.
בן עשרים וחמש שנה יהויקים במלכו ואחת עשרה שנה מלך בירושלם ויעש הרע בעיני יהוה אלהיו׃
6 Awo lumu Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’amulumba, n’amusiba mu masamba, n’amutwala e Babulooni.
עליו עלה נבוכדנאצר מלך בבל ויאסרהו בנחשתים להליכו בבלה׃
7 Nebukadduneeza n’atwala n’ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama e Babulooni, n’abiteeka mu ssabo lye.
ומכלי בית יהוה הביא נבוכדנאצר לבבל ויתנם בהיכלו בבבל׃
8 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekoyakimu, eby’ekivve bye yakola, ne byonna bye yavunaanibwa, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda. Yekoyakini mutabani we n’amusikira.
ויתר דברי יהויקים ותעבתיו אשר עשה והנמצא עליו הנם כתובים על ספר מלכי ישראל ויהודה וימלך יהויכין בנו תחתיו׃
9 Yekoyakini yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyezi esatu n’ennaku kkumi mu Yerusaalemi. N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
בן שמונה שנים יהויכין במלכו ושלשה חדשים ועשרת ימים מלך בירושלם ויעש הרע בעיני יהוה׃
10 Awo omwaka bwe gwali nga gunaatera okuggwaako, kabaka Nebukadduneeza n’amutumya, n’aleetebwa e Babulooni n’ebintu byonna eby’omuwendo okuva mu yeekaalu ya Mukama. Nebukadduneeza n’afuula Zeddekiya kitaawe omuto okuba kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
ולתשובת השנה שלח המלך נבוכדנאצר ויבאהו בבלה עם כלי חמדת בית יהוה וימלך את צדקיהו אחיו על יהודה וירושלם׃
11 Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi.
בן עשרים ואחת שנה צדקיהו במלכו ואחת עשרה שנה מלך בירושלם׃
12 N’akola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda we, n’ateetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya, eyayogeranga ekigambo kya Mukama.
ויעש הרע בעיני יהוה אלהיו לא נכנע מלפני ירמיהו הנביא מפי יהוה׃
13 N’ajeemera ne kabaka Nebukadduneeza eyamulayiza mu maaso ga Katonda. N’akakanyaza ensingo ye n’omutima gwe, n’atakyuka kudda eri Mukama Katonda wa Isirayiri.
וגם במלך נבוכדנאצר מרד אשר השביעו באלהים ויקש את ערפו ויאמץ את לבבו משוב אל יהוה אלהי ישראל׃
14 Ate ne bakabona abakulu bonna n’abantu, ne bataba beesigwa ne bagoberera eby’obukaafiiri eby’amawanga amalala, ne bagwagwawaza yeekaalu ya Mukama, gye yali atukuzizza mu Yerusaalemi.
גם כל שרי הכהנים והעם הרבו למעול מעל ככל תעבות הגוים ויטמאו את בית יהוה אשר הקדיש בירושלם׃
15 Awo Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’ayogera nabo ng’ayita mu babaka be, ng’asaasira abantu be n’ekifo mu abeera.
וישלח יהוה אלהי אבותיהם עליהם ביד מלאכיו השכם ושלוח כי חמל על עמו ועל מעונו׃
16 Naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda, ne banyoomanga n’ebigambo bye, ne basekereranga bannabbi be, okutuusa obusungu bwa Katonda bwe bwabuubuukira ku bantu be awatali kubasaasira.
ויהיו מלעבים במלאכי האלהים ובוזים דבריו ומתעתעים בנבאיו עד עלות חמת יהוה בעמו עד לאין מרפא׃
17 Kyeyava aweereza kabaka w’Abakaludaaya okubalumba, n’atta n’ekitala abavubuka baabwe mu nnyumba awasinzizibwa, n’atalekaawo muvubuka n’omu newaakubadde abawala abato, newaakubadde abasajja abakulu wadde abakadde ennyo. Bonna Katonda yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza.
ויעל עליהם את מלך כשדיים ויהרג בחוריהם בחרב בבית מקדשם ולא חמל על בחור ובתולה זקן וישש הכל נתן בידו׃
18 Ne yeetikka ebintu ebinene n’ebitono byonna okuva mu yeekaalu ya Katonda, n’eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’amawanika ga kabaka n’abakungu be.
וכל כלי בית האלהים הגדלים והקטנים ואצרות בית יהוה ואצרות המלך ושריו הכל הביא בבל׃
19 Ne bookya yeekaalu ya Katonda ne bamenyaamenya ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya n’embiri zonna, ne bazikiriza n’ebintu eby’omuwendo byonna.
וישרפו את בית האלהים וינתצו את חומת ירושלם וכל ארמנותיה שרפו באש וכל כלי מחמדיה להשחית׃
20 N’abo abaawona ekitala, n’abatwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ne babeera baddu be n’aba batabani be okutuusa ku kufuga kw’obwakabaka bw’Obuperusi.
ויגל השארית מן החרב אל בבל ויהיו לו ולבניו לעבדים עד מלך מלכות פרס׃
21 Ensi n’ekuuma ssabbiiti zaayo, ekiseera kyonna kye yamala mu kubonaabona kwayo okutuusa emyaka ensanvu bwe gyagwako, ng’ekyo kituukiriza ekigambo Mukama kye yayogera mu Yeremiya.
למלאות דבר יהוה בפי ירמיהו עד רצתה הארץ את שבתותיה כל ימי השמה שבתה למלאות שבעים שנה׃
22 Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Kuulo kabaka wa Buperusi, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi ng’ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya bwe kyali, okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okuwandiika nti,
ובשנת אחת לכורש מלך פרס לכלות דבר יהוה בפי ירמיהו העיר יהוה את רוח כורש מלך פרס ויעבר קול בכל מלכותו וגם במכתב לאמר׃
23 “Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka wa Buperusi nti, “‘Mukama Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. Bwe wabaawo omuntu yenna mu mmwe ow’oku bantu be, Mukama Katonda abeere naye, ayambuke.’”
כה אמר כורש מלך פרס כל ממלכות הארץ נתן לי יהוה אלהי השמים והוא פקד עלי לבנות לו בית בירושלם אשר ביהודה מי בכם מכל עמו יהוה אלהיו עמו ויעל׃

< 2 Ebyomumirembe 36 >