< 2 Ebyomumirembe 35 >

1 Awo Yosiya n’akwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi, era ne batta omwana gw’endiga, ogw’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye.
ויעש יאשיהו בירושלם פסח ליהוה וישחטו הפסח בארבעה עשר לחדש הראשון
2 N’alonda bakabona mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwabwe, n’abakuutira mu kuweereza kwabwe mu yeekaalu ya Mukama.
ויעמד הכהנים על משמרותם ויחזקם לעבודת בית יהוה
3 N’agamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri,
ויאמר ללוים המבונים (המבינים) לכל ישראל הקדושים ליהוה תנו את ארון הקדש בבית אשר בנה שלמה בן דויד מלך ישראל--אין לכם משא בכתף עתה עבדו את יהוה אלהיכם ואת עמו ישראל
4 mweteeketeeke ng’ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri mu masiga gammwe, nga mugoberera ebiragiro Dawudi kabaka wa Isirayiri ne Sulemaani mutabani we bye yawandiika.
והכונו (והכינו) לבית אבותיכם כמחלקותיכם--בכתב דויד מלך ישראל ובמכתב שלמה בנו
5 “Muyimirire awatukuvu mu bibinja eby’Abaleevi eby’ennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo.
ועמדו בקדש לפלוגת בית האבות לאחיכם בני העם--וחלקת בית אב ללוים
6 Mutte ennyana n’abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ng’ayita mu Musa.”
ושחטו הפסח והתקדשו והכינו לאחיכם לעשות כדבר יהוה ביד משה
7 Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.
וירם יאשיהו לבני העם צאן כבשים ובני עזים הכל לפסחים לכל הנמצא למספר שלשים אלף ובקר שלשת אלפים אלה מרכוש המלך
8 Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona n’abaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana b’endiga n’ab’embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n’ente ebikumi bisatu.
ושריו לנדבה לעם לכהנים וללוים--הרימו חלקיה וזכריהו ויחיאל נגידי בית האלהים לכהנים נתנו לפסחים אלפים ושש מאות ובקר שלש מאות
9 Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b’endiga n’ente enkumi ttaano nga by’ebiweebwayo eby’Embaga ey’Okuyitako.
וכונניהו (וכנניהו) ושמעיהו ונתנאל אחיו וחשביהו ויעיאל ויוזבד--שרי הלוים הרימו ללוים לפסחים חמשת אלפים ובקר חמש מאות
10 Ne bateekateeka eby’okusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira.
ותכון העבודה ויעמדו הכהנים על עמדם והלוים על מחלקותם כמצות המלך
11 Ne batta abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga.
וישחטו הפסח ויזרקו הכהנים מידם והלוים מפשיטים
12 Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola n’ente.
ויסירו העלה לתתם למפלגות לבית אבות לבני העם להקריב ליהוה ככתוב בספר משה וכן לבקר
13 Ne bookya ensolo ez’Embaga ey’Okuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, n’oluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo.
ויבשלו הפסח באש כמשפט והקדשים בשלו בסירות ובדודים ובצלחות ויריצו לכל בני העם
14 Oluvannyuma lw’ebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olw’omulimu ogw’okuwaayo ebiweebwayo n’amasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni.
ואחר הכינו להם ולכהנים--כי הכהנים בני אהרן בהעלות העולה והחלבים עד לילה והלוים הכינו להם ולכהנים בני אהרן
15 N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
והמשררים בני אסף על מעמדם כמצות דויד ואסף והימן וידתון חוזה המלך והשערים לשער ושער אין להם לסור מעל עבדתם--כי אחיהם הלוים הכינו להם
16 Bwe kutyo okuweereza kwonna okw’Embaga ey’Okuyitako n’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira.
ותכון כל עבודת יהוה ביום ההוא לעשות הפסח והעלות עלות על מזבח יהוה--כמצות המלך יאשיהו
17 Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bakwata Embaga ey’Okuyitako, ne bafumba n’embaga ey’Emigaati egitali mizimbulukuse, okumala ennaku musanvu.
ויעשו בני ישראל הנמצאים את הפסח בעת ההיא ואת חג המצות שבעת ימים
18 Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ng’eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona n’Abaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, n’abatuuze ba Yerusaalemi.
ולא נעשה פסח כמהו בישראל מימי שמואל הנביא וכל מלכי ישראל לא עשו כפסח אשר עשה יאשיהו והכהנים והלוים וכל יהודה וישראל הנמצא ויושבי ירושלם
19 Embaga ey’Okuyitako eyo yakwatibwa mu mwaka gwa kkumi na munaana ogw’okufuga kwa Yosiya.
בשמונה עשרה שנה למלכות יאשיהו--נעשה הפסח הזה
20 Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale.
אחרי כל זאת אשר הכין יאשיהו את הבית עלה נכו מלך מצרים להלחם בכרכמיש על פרת ויצא לקראתו יאשיהו
21 Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”
וישלח אליו מלאכים לאמר מה לי ולך מלך יהודה לא עליך אתה היום כי אל בית מלחמתי ואלהים אמר לבהלני חדל לך מאלהים אשר עמי ואל ישחיתך
22 Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.
ולא הסב יאשיהו פניו ממנו כי להלחם בו התחפש ולא שמע אל דברי נכו מפי אלהים ויבא להלחם בבקעת מגדו
23 Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.”
וירו הירים למלך יאשיהו ויאמר המלך לעבדיו העבירוני כי החליתי מאד
24 Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.
ויעבירהו עבדיו מן המרכבה וירכיבהו על רכב המשנה אשר לו ויוליכהו ירושלם וימת ויקבר בקברות אבתיו וכל יהודה וירושלם מתאבלים על יאשיהו
25 Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.
ויקונן ירמיהו על יאשיהו ויאמרו כל השרים והשרות בקינותיהם על יאשיהו עד היום ויתנום לחק על ישראל והנם כתובים על הקינות
26 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, n’ebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama,
ויתר דברי יאשיהו וחסדיו--ככתוב בתורת יהוה
27 ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.
ודבריו הראשנים והאחרנים--הנם כתובים על ספר מלכי ישראל ויהודה

< 2 Ebyomumirembe 35 >