< 2 Ebyomumirembe 34 >
1 Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi.
2 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya Mukama eggolokofu.
3 Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi.
4 N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka.
5 N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi.
6 Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola,
7 n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
8 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’okufuga kwe ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, n’alonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami w’ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama Katonda we.
9 Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu b’e Manase, ne Efulayimu, n’ekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, n’okuva eri abantu b’e Yerusaalemi.
10 Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya Mukama. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga n’okulongoosa yeekaalu.
11 Ababazzi n’abazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, n’embaawo ez’ebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza.
12 Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga
13 be baavunaanyizibwanga abapakasi, n’okulabirira abakozi bonna mu kuweereza okw’engeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, n’abalala ng’abaami, n’abalala nga baggazi.
14 Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya Mukama, Kirukiya kabona, n’azuula ekitabo eky’amateeka ga Mukama agaaweebwa Musa.
15 Awo Kirukiya kabona n’agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo eky’amateeka mu yeekaalu ya Mukama.” N’akiwa Safani.
16 Safani n’akitwalira kabaka, n’amutegeeza ne ku by’omulimu ng’agamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola.
17 Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya Mukama ziweereddwa abalabirira n’abakozi.”
18 Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.
19 Kabaka bwe yawulira ebigambo by’amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.
20 N’alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng’ayogera nti,
21 “Mugende mumbulize ku Mukama, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”
22 Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri.
23 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti,
24 bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda.
25 Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.”’
26 Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti,
27 “Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde.
28 Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.”’” Ne bazaayo obubaka eri kabaka.
29 Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi.
30 N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama.
31 Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.
32 Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba.
33 Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.