< 2 Ebyomumirembe 30 >
1 Awo Keezeekiya n’aweereza obubaka eri Isirayiri yonna ne Yuda, n’awandiikira ne Efulayimu ne Manase amabaluwa, ng’abayita okujja e Yerusaalemi mu yeekaalu ya Mukama, okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri.
Misit quoque Ezechias ad omnem Israël et Judam: scripsitque epistolas ad Ephraim et Manassen ut venirent ad domum Domini in Jerusalem, et facerent Phase Domino Deo Israël.
2 Kabaka n’abakungu be, n’ekibiina kyonna mu Yerusaalemi baasalawo okukwata Embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogwokubiri;
Inito ergo consilio regis et principum, et universi cœtus Jerusalem, decreverunt ut facerent Phase mense secundo.
3 baali tebasobola kukwata mbaga eyo mu kiseera kyayo kubanga bakabona abaali beetukuzizza, baali batono ate nga n’abantu tebanakuŋŋaanira mu Yerusaalemi.
Non enim potuerant facere in tempore suo, quia sacerdotes qui possent sufficere, sanctificati non fuerant, et populus nondum congregatus fuerat in Jerusalem.
4 Enteekateeka eyo n’erabika nga nnungi eri kabaka n’ekibiina kyonna.
Placuitque sermo regi, et omni multitudini.
5 Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yenna, okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, nga bategeeza abantu okujja e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda wa Isirayiri; baali batutte ebbanga nga tebagikwata ng’ekibiina ekinene eky’awamu, nga bwe kyawandiikibwa.
Et decreverunt ut mitterent nuntios in universum Israël, de Bersabee usque Dan, ut venirent, et facerent Phase Domino Deo Israël in Jerusalem: multi enim non fecerant sicut lege præscriptum est.
6 Awo ababaka ne batwala amabaluwa mu Isirayiri yonna ne mu Yuda okuva ewa kabaka n’abakungu be, ng’ekiragiro kya kabaka bwe kyali nti, “Abantu ba Isirayiri, mudde eri Mukama Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, Katonda alyoke adde gye muli, mmwe ekitundu ekisigaddewo, ekiwonye omukono gwa bakabaka b’e Bwasuli.
Perrexeruntque cursores cum epistolis ex regis imperio, et principum ejus, in universum Israël et Judam, juxta id quod rex jusserat, prædicantes: Filii Israël, revertimini ad Dominum Deum Abraham, et Isaac, et Israël: et revertetur ad reliquias quæ effugerunt manum regis Assyriorum.
7 Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abataali beesigwa eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n’abafuula ekyelolerwa, nga bwe mulaba.
Nolite fieri sicut patres vestri et fratres, qui recesserunt a Domino Deo patrum suorum, qui tradidit eos in interitum, ut ipsi cernitis.
8 So temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali, naye mukkakkane eri Mukama, mujje mu watukuvu we, we yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, obusungu bwe bubaveeko.
Nolite indurare cervices vestras, sicut patres vestri: tradite manus Domino, et venite ad sanctuarium ejus quod sanctificavit in æternum: servite Domino Deo patrum vestrorum, et avertetur a vobis ira furoris ejus.
9 Bwe munadda eri Mukama, olwo ne baganda bammwe n’abaana bammwe banaalaba ekisa mu maaso g’abo abaabawamba, ne bakomawo mu nsi eno. Mukama Katonda wammwe wa kisa era ajjudde okusaasira, so taakyuse maaso ge, okubavaako bwe munadda gyali.”
Si enim vos reversi fueritis ad Dominum, fratres vestri et filii habebunt misericordiam coram dominis suis, qui illos duxerunt captivos, et revertentur in terram hanc: pius enim et clemens est Dominus Deus vester, et non avertet faciem suam a vobis, si reversi fueritis ad eum.
10 Ababaka ne bagenda mu buli kibuga mu nsi ya Efulayimu ne Manase, ne batuuka ne mu Zebbulooni, naye abasinga obungi ne babasekerera, ne babaduulira.
Igitur cursores pergebant velociter de civitate in civitatem per terram Ephraim et Manasse usque ad Zabulon, illis irridentibus et subsannantibus eos.
11 Kyokka abamu ku bantu ab’e Aseri, ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bagenda e Yerusaalemi.
Attamen quidam viri ex Aser, et Manasse, et Zabulon acquiescentes consilio, venerunt Jerusalem.
12 Ne mu Yuda, omukono gwa Katonda ne gukwata ku bantu ne bakkiriziganya ku ekyo kabaka n’abakungu kye baalagira, nga bagoberera ekigambo kya Mukama.
In Juda vero facta est manus Domini ut daret eis cor unum, ut facerent juxta præceptum regis et principum verbum Domini.
13 Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokubiri okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse.
Congregatique sunt in Jerusalem populi multi ut facerent solemnitatem azymorum, in mense secundo:
14 Ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi, n’ebyoto byonna eby’okwoterezaako obubaane, ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni.
et surgentes destruxerunt altaria quæ erant in Jerusalem, atque universa in quibus idolis adolebatur incensum, subvertentes, projecerunt in torrentem Cedron.
15 Ne batta Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogwokubiri. Bakabona n’Abaleevi ne baswala, ne beetukuza, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu yeekaalu ya Mukama.
Immolaverunt autem Phase quartadecima die mensis secundi. Sacerdotes quoque atque Levitæ tandem sanctificati, obtulerunt holocausta in domo Domini:
16 Ne bayimirira mu bifo byabwe ng’etteeka lya Musa omusajja wa Katonda bwe lyali libalagira. Bakabona ne bamansira omusaayi ogwabaweerezebwa Abaleevi.
steteruntque in ordine suo juxta dispositionem et legem Moysi hominis Dei: sacerdotes vero suscipiebant effundendum sanguinem de manibus Levitarum,
17 Bangi ku bo, baali tebeetukuzizza nga tebasobola kuwaayo ndiga zaabwe; Abaleevi kyebaava battira buli muntu ataali mulongoofu Endiga Ento ey’Embaga ey’Okuyitako, okubatukuza eri Mukama.
eo quod multa turba sanctificata non esset: et idcirco immolarent Levitæ Phase his qui non occurrerant sanctificari Domino.
18 Newaakubadde ng’abantu abasinga abaava mu Efulayimu, ne Manase, ne Isakaali, ne Zebbulooni baali tebeetukuzizza, baalya Embaga ey’Okuyitako, ekyali tekikkiriziganya na biwandiike. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti, “Mukama omulungi asonyiwe buli muntu
Magna etiam pars populi de Ephraim, et Manasse, et Issachar, et Zabulon, quæ sanctificata non fuerat, comedit Phase non juxta quod scriptum est: et oravit pro eis Ezechias, dicens: Dominus bonus propitiabitur
19 amaliridde mu mutima gwe okunoonya Katonda, Mukama Katonda wa bajjajjaabe, newaakubadde nga tabadde mulongoofu okusinziira ku mateeka g’awatukuvu.”
cunctis, qui in toto corde requirunt Dominum Deum patrum suorum: et non imputabit eis quod minus sanctificati sunt.
20 Mukama n’awulira okusaba kwa Keezeekiya, n’atabazikiriza.
Quem exaudivit Dominus, et placatus est populo.
21 Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse okumala ennaku musanvu nga bajjudde essanyu lingi; Abaleevi ne bakabona ne batenderezanga Mukama buli lunaku, nga bakuba n’ebivuga eby’okumutendereza.
Feceruntque filii Israël, qui inventi sunt in Jerusalem, solemnitatem azymorum septem diebus in lætitia magna, laudantes Dominum per singulos dies: Levitæ quoque et sacerdotes per organa quæ suo officio congruebant.
22 Keezeekiya n’ayogera ebigambo eby’okugumya Abaleevi bonna abaalaga nga bategeera obuweereza bwa Mukama. Abantu ne balya emmere ey’embaga okumala ennaku musanvu, ne bawaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, ne batendereza Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Et locutus est Ezechias ad cor omnium Levitarum qui habebant intelligentiam bonam super Domino: et comederunt septem diebus solemnitatis, immolantes victimas pacificorum, et laudantes Dominum Deum patrum suorum.
23 Ekibiina kyonna ne bakkiriziganya okweyongerayo ennaku endala musanvu nga bali ku mbaga; bwe batyo ne bamala ennaku endala musanvu nga bajaguza.
Placuitque universæ multitudini ut celebrarent etiam alios dies septem: quod et fecerunt cum ingenti gaudio.
24 Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume nga nto lukumi n’endiga kasanvu okuba ebiweebwayo, ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
Ezechias enim rex Juda præbuerat multitudini mille tauros, et septem millia ovium: principes vero dederant populo tauros mille, et oves decem millia: sanctificata est ergo sacerdotum plurima multitudo.
25 Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri, n’abagenyi abaali bavudde mu nsi ya Isirayiri, n’abagenyi abaabeeranga mu Yuda ne bajaguliza wamu.
Et hilaritate perfusa omnis turba Juda, tam sacerdotum et Levitarum, quam universæ frequentiæ quæ venerat ex Israël: proselytorum quoque de terra Israël, et habitantium in Juda.
26 Ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, waali tewabangawo kintu kifaanana bwe kityo mu Yerusaalemi.
Factaque est grandis celebritas in Jerusalem, qualis a diebus Salomonis filii David regis Israël in ea urbe non fuerat.
27 Awo bakabona n’Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa, Katonda n’abawulira; kubanga okusaba kwabwe kwatuuka mu kifo kye ekitukuvu gy’abeera, mu ggulu.
Surrexerunt autem sacerdotes atque Levitæ benedicentes populo: et exaudita est vox eorum, pervenitque oratio in habitaculum sanctum cæli.