< 2 Ebyomumirembe 28 >
1 Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
2 N’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri, n’okukola n’akola ebifaananyi ebisaanuuse ebyakozesebwanga mu kusinza Baali.
3 N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
4 N’awangayo ssaddaaka wamu n’okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu, ne ku ntikko z’ensozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
5 Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko. Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene.
6 Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7 Ne Zikuli, omusajja omulwanyi omuzira owa Efulayimu n’atta Maaseya mutabani wa kabaka, ne Azulikamu omukulu w’olubiri ne Erukaana omukungu, addirira kabaka.
8 Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.
9 Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu.
10 Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe?
11 Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.”
12 Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo.
13 Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”
14 Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna.
15 Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.
16 Awo mu biro ebyo kabaka Akazi n’asaba kabaka w’e Bwasuli amuyambe,
17 kubanga Abayedomu baali bazeemu okulumba Yuda, ne batwala abantu mu busibe.
18 Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balumbye ebibuga eby’omu nsenyi n’eby’omu bukiikaddyo obwa Yuda, nga bawambye Besusemesi, ne Ayalooni, ne Gederosi, ne Soko, ne Timuna, ne Gimuzo n’ebyalo ebyali byetoolodde ebibuga ebyo, era ng’omwo mwe babeera.
19 Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda.
20 Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba.
21 Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.
22 Mu kiseera ekyo kabaka Akazi we yalabira ennyo ennaku, yeeyongera obutaba mwesigwa eri Mukama.
23 N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna.
24 Akazi n’akuŋŋaanya ebintu eby’omu yeekaalu ya Katonda, n’abiggyamu, n’aggalawo enzigi za yeekaalu ya Mukama, ne yeezimbira ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi.
25 Mu buli kibuga kya Yuda n’azimbamu ebifo ebigulumivu okuwerangayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, n’asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26 Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
27 Akazi n’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isirayiri. Keezeekiya mutabani we n’amusikira.