< 2 Ebyomumirembe 26 >
1 Awo Uzziya bwe yali ng’aweza emyaka kkumi na mukaaga egy’obukulu, abantu bonna aba Yuda, ne bamufuula kabaka n’asikira kitaawe Amaziya.
2 N’addaabiriza Erosi, n’akiddiza Yuda nga Amaziya amaze okuziikibwa.
3 Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi.
4 N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bwe yasooka okukola.
5 N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.
6 N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti.
7 Katonda n’amuyambanga ng’alwana n’Abafirisuuti, n’Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali, era n’Abamewunimu.
8 Abamoni ne bawanga Uzziya busuulu, era n’erinnya lye ne lyatiikirira n’okutuusa ku nsalo ya Misiri, kubanga yali afuuse wa maanyi nnyo.
9 Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe.
10 Era n’azimba n’eminaala mu ddungu, ate era n’asima n’ebidiba bingi mu biwonvu ne mu lusenyi, olw’amaggana amanene ge yalina. Yalina n’abantu abaakolanga mu nnimiro ze ez’emizabbibu mu nsozi n’abaalimanga ettaka eggimu, kubanga yayagalanga nnyo okulima.
11 Uzziya yalina eggye ery’abasajja abalwanyi abaatendekebwa obulungi, abaatabaalanga mu bibinja ng’emiwendo gyabwe bwe gyali, Yeyeri omuwandiisi gye yabala ne Maaseya omukungu, eyali wansi wa Kananiya, omu ku baduumizi b’eggye lya kabaka.
12 Omuwendo gwonna awamu ogw’abakulu b’ennyumba ez’abasajja abalwanyi gwali enkumi bbiri mu lukaaga.
13 Abo be baaduumiranga eggye ery’abasajja abatendeke mu kulwana, abaawera emitwalo amakumi asatu mu kasanvu mu ebikumi bitaano, abaakuumanga kabaka.
14 Uzziya n’awa eggye lyonna, engabo, n’amafumu, n’enkuufiira ez’ebyuma, n’ebizibaawo eby’ebyuma, n’emitego emigumu, n’envuumuulo.
15 N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
16 Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane.
17 Azaliya kabona ne bakabona ba Mukama abalala abazira kinaana ne bagenda gy’ali,
18 ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”
19 Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna.
20 Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.
21 Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga.
22 Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi.
23 Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.