< 2 Ebyomumirembe 22 >

1 Abantu ab’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya, mutabani wa Yekolaamu omuggalanda, kabaka, kubanga abasajja abanyazi abajja n’Abawalabu baali bamaze okutta abaana be bonna abakulu. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga Yuda.
וימליכו יושבי ירושלם את אחזיהו בנו הקטן תחתיו כי כל הראשנים הרג הגדוד הבא בערבים למחנה וימלך אחזיהו בן יהורם מלך יהודה׃
2 Akaziya yalina emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatandika okufuga, era n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli.
בן ארבעים ושתים שנה אחזיהו במלכו ושנה אחת מלך בירושלם ושם אמו עתליהו בת עמרי׃
3 Ne Akaziya n’atambulira mu makubo ag’ennyumba ya Akabu, kubanga nnyina yamupikirizanga okukola ebibi.
גם הוא הלך בדרכי בית אחאב כי אמו היתה יועצתו להרשיע׃
4 N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ennyumba ya Akabu bwe yakola, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa kitaawe be baamuwabyanga, okukola ebikyamu.
ויעש הרע בעיני יהוה כבית אחאב כי המה היו לו יועצים אחרי מות אביו למשחית לו׃
5 Era naye yagobereranga ebirowoozo byabwe, era n’agenda ne Yekolaamu, mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi. Abasuuli ne bafumita Yolaamu ebiwundu
גם בעצתם הלך וילך את יהורם בן אחאב מלך ישראל למלחמה על חזאל מלך ארם ברמות גלעד ויכו הרמים את יורם׃
6 era n’addayo e Yezuleeri okujjanjabibwa ebiwundu bye yali afunidde e Laama, bwe yali ng’alwana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’agenda okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu olw’ebisago ebyali bimutuusibbwako.
וישב להתרפא ביזרעאל כי המכים אשר הכהו ברמה בהלחמו את חזהאל מלך ארם ועזריהו בן יהורם מלך יהודה ירד לראות את יהורם בן אחאב ביזרעאל כי חלה הוא׃
7 Naye kyali kyategekebwa Katonda, nti okugwa kwa Akaziya kulimutuukako ng’akyalidde Yolaamu. Awo Akaziya bwe yatuuka eyo, n’agenda ne Yolaamu okusisinkana Yeeku mutabani wa Nimusu, Mukama gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.
ומאלהים היתה תבוסת אחזיהו לבוא אל יורם ובבאו יצא עם יהורם אל יהוא בן נמשי אשר משחו יהוה להכרית את בית אחאב׃
8 Awo Yeeku bwe yali ng’asalira ennyumba ya Akabu omusango, n’asanga abakungu ba Yuda, ne batabani ba baganda ba Akaziya, abaaweerezanga Akaziya, n’abatta.
ויהי כהשפט יהוא עם בית אחאב וימצא את שרי יהודה ובני אחי אחזיהו משרתים לאחזיהו ויהרגם׃
9 N’oluvannyuma n’anoonya Akaziya, era abasajja be ne bamuwambira e Samaliya gye yali yeekwese, n’aleetebwa ewa Yeeku n’attibwa. Ne bamuziika nga boogera nti, “Ono ye muzzukulu wa Yekosafaati, eyanoonya Mukama, n’omutima gwe gwonna.” Era mu nnyumba ya Akaziya ne wataba n’omu eyayinza okusikira obwakabaka.
ויבקש את אחזיהו וילכדהו והוא מתחבא בשמרון ויבאהו אל יהוא וימתהו ויקברהו כי אמרו בן יהושפט הוא אשר דרש את יהוה בכל לבבו ואין לבית אחזיהו לעצר כח לממלכה׃
10 Awo Asaliya, nnyina Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’asitula olutalo era n’azikiriza ennyumba yonna ey’obwakabaka bwa Yuda.
ועתליהו אם אחזיהו ראתה כי מת בנה ותקם ותדבר את כל זרע הממלכה לבית יהודה׃
11 Naye Yekosabeyaasi, muwala wa kabaka Yekolaamu, n’abba Yowaasi mutabani wa Akaziya okuva mu balangira abaali bagenda okuttibwa, n’amukweka ye n’omukozi we mu kimu ku bisenge. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu, ate nga ye yali mukyala wa Yekoyaada kabona, n’akweka omwana, Asaliya aleme okumutta. Yekosabeyaasi, yali mwannyina Akaziya.
ותקח יהושבעת בת המלך את יואש בן אחזיהו ותגנב אתו מתוך בני המלך המומתים ותתן אתו ואת מינקתו בחדר המטות ותסתירהו יהושבעת בת המלך יהורם אשת יהוידע הכהן כי היא היתה אחות אחזיהו מפני עתליהו ולא המיתתהו׃
12 Omwana n’akwekebwa okumala emyaka mukaaga mu nnyumba ya Katonda, nga Asaliya y’afuga ensi.
ויהי אתם בבית האלהים מתחבא שש שנים ועתליה מלכת על הארץ׃

< 2 Ebyomumirembe 22 >