< 2 Ebyomumirembe 20 >

1 Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n’Abamoni nga bali wamu n’abamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa.
此后,摩押人和亚扪人,又有米乌尼人,一同来攻击约沙法。
2 Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,”
有人来报告约沙法说:“从海外亚兰那边有大军来攻击你,如今他们在哈洗逊·他玛,就是隐·基底。”
3 Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna.
约沙法便惧怕,定意寻求耶和华,在犹大全地宣告禁食。
4 Yuda yonna n’ekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda.
于是犹大人聚会,求耶和华帮助。犹大各城都有人出来寻求耶和华。
5 Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya,
约沙法就在犹大和耶路撒冷的会中,站在耶和华殿的新院前,
6 n’ayogera nti, “Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go.
说:“耶和华—我们列祖的 神啊,你不是天上的 神吗?你不是万邦万国的主宰吗?在你手中有大能大力,无人能抵挡你。
7 Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna?
我们的 神啊,你不是曾在你民以色列人面前驱逐这地的居民,将这地赐给你朋友亚伯拉罕的后裔永远为业吗?
8 Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo ow’okusinziza erinnya lyo, nga boogera nti,
他们住在这地,又为你的名建造圣所,说:
9 ‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’
‘倘有祸患临到我们,或刀兵灾殃,或瘟疫饥荒,我们在急难的时候,站在这殿前向你呼求,你必垂听而拯救,因为你的名在这殿里。’
10 “Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza,
从前以色列人出埃及地的时候,你不容以色列人侵犯亚扪人、摩押人,和西珥山人,以色列人就离开他们,不灭绝他们。
11 laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe.
看哪,他们怎样报复我们,要来驱逐我们出离你的地,就是你赐给我们为业之地。
12 Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”
我们的 神啊,你不惩罚他们吗?因为我们无力抵挡这来攻击我们的大军,我们也不知道怎样行,我们的眼目单仰望你。”
13 Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.
犹大众人和他们的婴孩、妻子、儿女都站在耶和华面前。
14 Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.
那时,耶和华的灵在会中临到利未人亚萨的后裔—玛探雅的玄孙,耶利的曾孙,比拿雅的孙子,撒迦利雅的儿子雅哈悉。
15 N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda.
他说:“犹大众人、耶路撒冷的居民,和约沙法王,你们请听。耶和华对你们如此说:‘不要因这大军恐惧惊惶;因为胜败不在乎你们,乃在乎 神。
16 Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri.
明日你们要下去迎敌,他们是从洗斯坡上来,你们必在耶鲁伊勒旷野前的谷口遇见他们。
17 Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’”
犹大和耶路撒冷人哪,这次你们不要争战,要摆阵站着,看耶和华为你们施行拯救。不要恐惧,也不要惊惶。明日当出去迎敌,因为耶和华与你们同在。’”
18 Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza.
约沙法就面伏于地,犹大众人和耶路撒冷的居民也俯伏在耶和华面前,叩拜耶和华。
19 Abamu ku Baleevi, Abakokasi n’abalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, n’eddoboozi ery’omwanguka.
哥辖族和可拉族的利未人都起来,用极大的声音赞美耶和华以色列的 神。
20 Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.”
次日清早,众人起来往提哥亚的旷野去。出去的时候,约沙法站着说:“犹大人和耶路撒冷的居民哪,要听我说:信耶和华—你们的 神就必立稳;信他的先知就必亨通。”
21 Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti, “Mwebaze Mukama kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
约沙法既与民商议了,就设立歌唱的人,颂赞耶和华,使他们穿上圣洁的礼服,走在军前赞美耶和华说:“当称谢耶和华,因他的慈爱永远长存!”
22 Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa.
众人方唱歌赞美的时候,耶和华就派伏兵击杀那来攻击犹大人的亚扪人、摩押人,和西珥山人,他们就被打败了。
23 Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.
因为亚扪人和摩押人起来,击杀住西珥山的人,将他们灭尽;灭尽住西珥山的人之后,他们又彼此自相击杀。
24 Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo.
犹大人来到旷野的望楼,向那大军观看,见尸横遍地,没有一个逃脱的。
25 Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo.
约沙法和他的百姓就来收取敌人的财物,在尸首中见了许多财物、珍宝,他们剥脱下来的多得不可携带;因为甚多,直收取了三日。
26 Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.
第四日众人聚集在比拉迦谷,在那里称颂耶和华。因此那地方名叫比拉迦谷,直到今日。
27 Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe.
犹大人和耶路撒冷人都欢欢喜喜地回耶路撒冷,约沙法率领他们;因为耶和华使他们战胜仇敌,就欢喜快乐。
28 Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, n’ennanga, n’amakondeere.
他们弹琴、鼓瑟、吹号来到耶路撒冷,进了耶和华的殿。
29 Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri.
列邦诸国听见耶和华战败以色列的仇敌,就甚惧怕。
30 Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba n’emirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna.
这样,约沙法的国得享太平,因为 神赐他四境平安。
31 Yekosafaati n’afuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki.
约沙法作犹大王,登基的时候年三十五岁,在耶路撒冷作王二十五年。他母亲名叫阿苏巴,乃示利希的女儿。
32 N’atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n’atalivaamu, era n’akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama.
约沙法效法他父亚撒所行的,不偏左右,行耶和华眼中看为正的事。
33 Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so n’abantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
只是邱坛还没有废去,百姓也没有立定心意归向他们列祖的 神。
34 Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri.
约沙法其余的事,自始至终都写在哈拿尼的儿子耶户的书上,也载入以色列诸王记上。
35 Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi w’ebibi.
此后,犹大王约沙法与以色列王亚哈谢交好;亚哈谢行恶太甚。
36 N’ateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba.
二王合伙造船要往他施去,遂在以旬·迦别造船。
37 Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow’e Malesa n’ayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ng’agamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, n’omwegattako, Mukama alizikiriza by’okoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.
那时玛利沙人、多大瓦的儿子以利以谢向约沙法预言说:“因你与亚哈谢交好,耶和华必破坏你所造的。”后来那船果然破坏,不能往他施去了。

< 2 Ebyomumirembe 20 >