< 2 Ebyomumirembe 2 >

1 Sulemaani n’awa ebiragiro okuzimbira erinnya lya Mukama eyeekaalu, ate naye okwezimbira olubiri olwa kabaka.
ויאמר שלמה לבנות בית לשם יהוה ובית למלכותו׃
2 N’alonda abasajja emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutema amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okubakuliranga.
ויספר שלמה שבעים אלף איש סבל ושמונים אלף איש חצב בהר ומנצחים עליהם שלשת אלפים ושש מאות׃
3 Awo Sulemaani n’aweereza Kulamu kabaka w’e Ttuulo obubaka nti, “Nga bwe wakolagananga ne Dawudi kitange, n’omuweereza emivule egy’okwezimbira olubiri lwe okubeeramu, nange kolagana nange mu ngeri y’emu.
וישלח שלמה אל חורם מלך צר לאמר כאשר עשית עם דויד אבי ותשלח לו ארזים לבנות לו בית לשבת בו׃
4 Laba kaakano nnaatera okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange eyeekaalu, era ngiwonge olw’okwoterezaayo obubaane obw’ebyakaloosa obulungi mu maaso ge, n’okuweerayo emigaati egya buli lunaku, n’olw’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa enkya n’akawungeezi buli ssabbiiti ne ku myezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe, ng’ekiragiro eky’enkalakkalira eri Isirayiri.
הנה אני בונה בית לשם יהוה אלהי להקדיש לו להקטיר לפניו קטרת סמים ומערכת תמיד ועלות לבקר ולערב לשבתות ולחדשים ולמועדי יהוה אלהינו לעולם זאת על ישראל׃
5 “Eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba ejja kuba yaakitiibwa, kubanga Katonda waffe waakitiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.
והבית אשר אני בונה גדול כי גדול אלהינו מכל האלהים׃
6 Naye ani ayinza okumuzimbira eyeekaalu, nga n’eggulu erya waggulu ddala taligyamu? Noolwekyo nze ani okumuzimbira eyeekaalu, okuggyako okumuzimbira ekifo eky’okwoterezangamu obubaane mu maaso ge?
ומי יעצר כח לבנות לו בית כי השמים ושמי השמים לא יכלכלהו ומי אני אשר אבנה לו בית כי אם להקטיר לפניו׃
7 “Noolwekyo mpeereza omusajja omumanyirivu nga mugezi asobola okuweesa zaabu, ne ffeeza, n’ebikomo, n’ebyuma, ate era asobola okuluka engoye eza kakobe, n’entwakaavu, n’eza bbululu, ate era nga mumanyirivu mu kukola enjola ez’engeri zonna, ngakolaganira wamu n’abasajja bange abamanyirivu mu by’omu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
ועתה שלח לי איש חכם לעשות בזהב ובכסף ובנחשת ובברזל ובארגון וכרמיל ותכלת וידע לפתח פתוחים עם החכמים אשר עמי ביהודה ובירושלם אשר הכין דויד אבי׃
8 “Era mpeereza n’emivule, n’emiberosi, n’emitoogo okuva e Lebanooni, kubanga mmanyi nti abasajja bo bamanyirivu mu kutema emiti mu Lebanooni. Abaddu bange banaakolagananga n’ababo
ושלח לי עצי ארזים ברושים ואלגומים מהלבנון כי אני ידעתי אשר עבדיך יודעים לכרות עצי לבנון והנה עבדי עם עבדיך׃
9 okunteekerateekera embaawo mu bungi, kubanga eyeekaalu gye ŋŋenda okuzimba egenda kuba nnene era nga yaakitiibwa.
ולהכין לי עצים לרב כי הבית אשר אני בונה גדול והפלא׃
10 Laba, ndiwa abaweereza bo, abasajja ababazzi, lita ez’eŋŋaano ense emitwalo amakumi ana mu ena, ne lita eza sayiri, emitwalo amakumi ana mu ena, n’ebita eby’omwenge emitwalo ebiri, n’ebita eby’amafuta ag’omuzeeyituuni emitwalo ebiri.”
והנה לחטבים לכרתי העצים נתתי חטים מכות לעבדיך כרים עשרים אלף ושערים כרים עשרים אלף ויין בתים עשרים אלף ושמן בתים עשרים אלף׃
11 Awo Kulamu n’addamu ebbaluwa Sulemaani gye yamuweereza ng’agamba nti, “Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyavudde akufuula kabaka waabwe.”
ויאמר חורם מלך צר בכתב וישלח אל שלמה באהבת יהוה את עמו נתנך עליהם מלך׃
12 N’ayongerako na kino nti, “Mukama Katonda wa Isirayiri eyakola eggulu n’ensi, yeebazibwe, kubanga awadde kabaka Dawudi omwana omutegeevu, alina okutegeera n’okwawula ebirungi n’ebibi, agenda okuzimbira Mukama eyeekaalu, n’okwezimbira olubiri.
ויאמר חורם ברוך יהוה אלהי ישראל אשר עשה את השמים ואת הארץ אשר נתן לדויד המלך בן חכם יודע שכל ובינה אשר יבנה בית ליהוה ובית למלכותו׃
13 “Nkuweereza Kulamu omusajja omumanyirivu, era alina okutegeera n’obumanyirivu bungi,
ועתה שלחתי איש חכם יודע בינה לחורם אבי׃
14 ne nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.
בן אשה מן בנות דן ואביו איש צרי יודע לעשות בזהב ובכסף בנחשת בברזל באבנים ובעצים בארגמן בתכלת ובבוץ ובכרמיל ולפתח כל פתוח ולחשב כל מחשבת אשר ינתן לו עם חכמיך וחכמי אדני דויד אביך׃
15 “Kaakano mukama wange aweereze abaddu be eŋŋaano ne sayiri, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ne wayini gwe yasuubiza,
ועתה החטים והשערים השמן והיין אשר אמר אדני ישלח לעבדיו׃
16 tulyoke tuteme emiti gyonna gye weetaaga okuva e Lebanooni. Tunaagiseeyeeyeteza ku nnyanja okutuuka e Yopa, naawe oligyambusa e Yerusaalemi.”
ואנחנו נכרת עצים מן הלבנון ככל צרכך ונביאם לך רפסדות על ים יפו ואתה תעלה אתם ירושלם׃
17 Awo Sulemaani n’abala bannaggwanga bonna abaali mu nsi eya Isirayiri, ng’okubala Dawudi kitaawe kwe yakola bwe kwali; baali abasajja emitwalo kkumi n’ettaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.
ויספר שלמה כל האנשים הגירים אשר בארץ ישראל אחרי הספר אשר ספרם דויד אביו וימצאו מאה וחמשים אלף ושלשת אלפים ושש מאות׃
18 N’alonda mu bo emitwalo musanvu okuba abeetissi, n’abalala emitwalo munaana okutemanga amayinja mu nsozi, n’abalala enkumi ssatu mu lukaaga okulabiriranga abantu abaakolanga.
ויעש מהם שבעים אלף סבל ושמנים אלף חצב בהר ושלשת אלפים ושש מאות מנצחים להעביד את העם׃

< 2 Ebyomumirembe 2 >