< 1 Timoseewo 2 >

1 Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna.
I EXHORT therefore, that, first of all, supplications, prayers, intercessions, and giving of thanks, be made for all men;
2 Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri.
For kings, and for all that are in authority; that we may lead a quiet and peaceable life in all godliness and honesty.
3 Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe,
For this is good and acceptable in the sight of God our Saviour;
4 ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima.
Who will have all men to be saved, and to come unto the knowledge of the truth.
5 Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu,
For there is one God, and one mediator between God and men, the man Christ Jesus;
6 eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu.
Who gave himself a ransom for all, to be testified in due time.
7 Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.
Whereunto I am ordained a preacher, and an apostle, (I speak the truth in Christ, and lie not; ) a teacher of the Gentiles in faith and verity.
8 Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
I will therefore that men pray every where, lifting up holy hands, without wrath and doubting.
9 Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo.
In like manner also, that women adorn themselves in modest apparel, with shamefacedness and sobriety; not with broided hair, or gold, or pearls, or costly array;
10 Wabula babe n’ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
But (which becometh women professing godliness) with good works.
11 Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga nga yeewombeese.
Let the woman learn in silence with all subjection.
12 Sikkiriza mukazi kuyigiriza wadde okuba n’obuyinza ku musajja, wabula asaana asirikenga.
But I suffer not a woman to teach, nor to usurp authority over the man, but to be in silence.
13 Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Kaawa.
For Adam was first formed, then Eve.
14 Era Adamu si ye yasendebwasendebwa, wabula mukazi ye yasendebwasendebwa, n’agwa mu kibi.
And Adam was not deceived, but the woman being deceived was in the transgression.
15 Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.
Notwithstanding she shall be saved in childbearing, if they continue in faith and charity and holiness with sobriety.

< 1 Timoseewo 2 >