< 1 Basessaloniika 5 >
1 Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira.
Περὶ δὲ τῶν χρόνων καὶ τῶν καιρῶν, ἀδελφοί, οὐ χρείαν ἔχετε ὑμῖν γράφεσθαι·
2 Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro.
αὐτοὶ γὰρ ἀκριβῶς οἴδατε ὅτι ἡμέρα Κυρίου ὡς κλέπτης ἐν νυκτὶ οὕτως ἔρχεται.
3 Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
ὅταν λέγωσιν Εἰρήνη καὶ ἀσφάλεια, τότε αἰφνίδιος αὐτοῖς ἐπίσταται ὄλεθρος ὥσπερ ἡ ὠδὶν τῇ ἐν γαστρὶ ἐχούσῃ, καὶ οὐ μὴ ἐκφύγωσιν.
4 Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi;
ὑμεῖς δέ, ἀδελφοί, οὐκ ἐστὲ ἐν σκότει, ἵνα ἡ ἡμέρα ὑμᾶς ὡς κλέπτης καταλάβῃ·
5 Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.
πάντες γὰρ ὑμεῖς υἱοὶ φωτός ἐστε καὶ υἱοὶ ἡμέρας. Οὐκ ἐσμὲν νυκτὸς οὐδὲ σκότους·
6 Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga.
ἄρα οὖν μὴ καθεύδωμεν ὡς οἱ λοιποί, ἀλλὰ γρηγορῶμεν καὶ νήφωμεν.
7 Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro.
οἱ γὰρ καθεύδοντες νυκτὸς καθεύδουσιν, καὶ οἱ μεθυσκόμενοι νυκτὸς μεθύουσιν·
8 Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe.
ἡμεῖς δὲ ἡμέρας ὄντες νήφωμεν, ἐνδυσάμενοι θώρακα πίστεως καὶ ἀγάπης καὶ περικεφαλαίαν ἐλπίδα σωτηρίας·
9 Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo,
ὅτι οὐκ ἔθετο ἡμᾶς ὁ Θεὸς εἰς ὀργὴν ἀλλὰ εἰς περιποίησιν σωτηρίας διὰ τοῦ Κυρίου ἡμῶν Ἰησοῦ Χριστοῦ,
10 eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye.
τοῦ ἀποθανόντος περὶ ἡμῶν, ἵνα εἴτε γρηγορῶμεν εἴτε καθεύδωμεν ἅμα σὺν αὐτῷ ζήσωμεν.
11 Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
Διὸ παρακαλεῖτε ἀλλήλους καὶ οἰκοδομεῖτε εἷς τὸν ἕνα, καθὼς καὶ ποιεῖτε.
12 Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira,
Ἐρωτῶμεν δὲ ὑμᾶς, ἀδελφοί, εἰδέναι τοὺς κοπιῶντας ἐν ὑμῖν καὶ προϊσταμένους ὑμῶν ἐν Κυρίῳ καὶ νουθετοῦντας ὑμᾶς,
13 mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe.
καὶ ἡγεῖσθαι αὐτοὺς ὑπερεκπερισσῶς ἐν ἀγάπῃ διὰ τὸ ἔργον αὐτῶν. εἰρηνεύετε ἐν ἑαυτοῖς.
14 Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna.
Παρακαλοῦμεν δὲ ὑμᾶς, ἀδελφοί, νουθετεῖτε τοὺς ἀτάκτους, παραμυθεῖσθε τοὺς ὀλιγοψύχους, ἀντέχεσθε τῶν ἀσθενῶν, μακροθυμεῖτε πρὸς πάντας.
15 Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna.
ὁρᾶτε μή τις κακὸν ἀντὶ κακοῦ τινι ἀποδῷ, ἀλλὰ πάντοτε τὸ ἀγαθὸν διώκετε εἰς ἀλλήλους καὶ εἰς πάντας.
16 Musanyukenga ennaku zonna.
Πάντοτε χαίρετε,
18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.
ἐν παντὶ εὐχαριστεῖτε· τοῦτο γὰρ θέλημα Θεοῦ ἐν Χριστῷ Ἰησοῦ εἰς ὑμᾶς.
19 Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu,
τὸ Πνεῦμα μὴ σβέννυτε,
20 era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi,
προφητείας μὴ ἐξουθενεῖτε·
21 naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.
πάντα δὲ δοκιμάζετε, τὸ καλὸν κατέχετε·
22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
ἀπὸ παντὸς εἴδους πονηροῦ ἀπέχεσθε.
23 Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Αὐτὸς δὲ ὁ Θεὸς τῆς εἰρήνης ἁγιάσαι ὑμᾶς ὁλοτελεῖς, καὶ ὁλόκληρον ὑμῶν τὸ πνεῦμα καὶ ἡ ψυχὴ καὶ τὸ σῶμα ἀμέμπτως ἐν τῇ παρουσίᾳ τοῦ Κυρίου ἡμῶν Ἰησοῦ Χριστοῦ τηρηθείη.
24 Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
πιστὸς ὁ καλῶν ὑμᾶς, ὃς καὶ ποιήσει.
25 Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
Ἀδελφοί, προσεύχεσθε περὶ ἡμῶν.
26 Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
Ἀσπάσασθε τοὺς ἀδελφοὺς πάντας ἐν φιλήματι ἁγίῳ.
27 Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
Ἐνορκίζω ὑμᾶς τὸν Κύριον ἀναγνωσθῆναι τὴν ἐπιστολὴν πᾶσιν τοῖς ἀδελφοῖς.
28 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Ἡ χάρις τοῦ Κυρίου ἡμῶν Ἰησοῦ Χριστοῦ μεθ’ ὑμῶν.