< 1 Basessaloniika 2 >

1 Mmwe bennyini, abooluganda abaagalwa, mumanyi ng’okujja kwaffe gye muli tekwafa busa.
Αὐτοὶ γὰρ οἴδατε, ἀδελφοί, τὴν εἴσοδον ἡμῶν τὴν πρὸς ὑμᾶς ὅτι οὐ κενὴ γέγονεν·
2 Mumanyi nga bwe twabonaabonera e Firipi, n’okuyisibwa obubi kyokka ne tugumira mu Katonda waffe ne tubategeeza Enjiri ya Katonda nga tuli mu kuwakanyizibwa okungi.
ἀλλὰ (καὶ *k*) προπαθόντες καὶ ὑβρισθέντες, καθὼς οἴδατε, ἐν Φιλίπποις, ἐπαρρησιασάμεθα ἐν τῷ θεῷ ἡμῶν λαλῆσαι πρὸς ὑμᾶς τὸ εὐαγγέλιον τοῦ θεοῦ ἐν πολλῷ ἀγῶνι.
3 Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okw’obukuusa,
ἡ γὰρ παράκλησις ἡμῶν οὐκ ἐκ πλάνης οὐδὲ ἐξ ἀκαθαρσίας (οὐδὲ *N(k)O*) ἐν δόλῳ·
4 naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda n’atwesiga n’Enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng’abaagala okusanyusa abantu, wabula tusiimibwe Katonda, oyo akebera ebirowoozo by’emitima gyaffe.
ἀλλὰ καθὼς δεδοκιμάσμεθα ὑπὸ τοῦ θεοῦ πιστευθῆναι τὸ εὐαγγέλιον, οὕτως λαλοῦμεν, οὐχ ὡς ἀνθρώποις ἀρέσκοντες ἀλλὰ (τῷ *k*) θεῷ τῷ δοκιμάζοντι τὰς καρδίας ἡμῶν.
5 Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba ab’omululu era Katonda akimanyi,
οὔτε γάρ ποτε ἐν λόγῳ κολακείας ἐγενήθημεν, καθὼς οἴδατε, οὔτε ἐν προφάσει πλεονεξίας, θεὸς μάρτυς,
6 newaakubadde okunoonyaamu ekitiibwa, newaakubadde okuva eri mmwe wadde abantu abalala,
οὔτε ζητοῦντες ἐξ ἀνθρώπων δόξαν οὔτε ἀφ᾽ ὑμῶν οὔτε ἀπ᾽ ἄλλων, δυνάμενοι ἐν βάρει εἶναι ὡς Χριστοῦ ἀπόστολοι·
7 tulyoke tulabike ng’abatume ba Kristo ab’amaanyi. Naye twefuula ng’abaana abato mu maaso gammwe, nga nnyina w’abaana bwe yandyagadde abaana be,
ἀλλ᾽ ἐγενήθημεν (νήπιοι *N(K)O*) ἐν μέσῳ ὑμῶν, ὡς (ἐὰν *N(k)O*) τροφὸς θάλπῃ τὰ ἑαυτῆς τέκνα,
8 bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye n’okuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe.
οὕτως (ὁμειρόμενοι *N(k)O*) ὑμῶν εὐδοκοῦμεν μεταδοῦναι ὑμῖν οὐ μόνον τὸ εὐαγγέλιον τοῦ θεοῦ ἀλλὰ καὶ τὰς ἑαυτῶν ψυχάς, διότι ἀγαπητοὶ ἡμῖν (ἐγενήθητε. *N(k)O*)
9 Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe n’okutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana n’ekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.
Μνημονεύετε γάρ, ἀδελφοί, τὸν κόπον ἡμῶν καὶ τὸν μόχθον· νυκτὸς (γάρ *k*) καὶ ἡμέρας ἐργαζόμενοι πρὸς τὸ μὴ ἐπιβαρῆσαί τινα ὑμῶν ἐκηρύξαμεν εἰς ὑμᾶς τὸ εὐαγγέλιον τοῦ θεοῦ.
10 Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe,
ὑμεῖς μάρτυρες καὶ ὁ θεός, ὡς ὁσίως καὶ δικαίως καὶ ἀμέμπτως ὑμῖν τοῖς πιστεύουσιν ἐγενήθημεν,
11 nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe w’abaana bw’abeera eri abaana be,
καθάπερ οἴδατε, ὡς ἕνα ἕκαστον ὑμῶν ὡς πατὴρ τέκνα ἑαυτοῦ παρακαλοῦντες ὑμᾶς καὶ παραμυθούμενοι καὶ (μαρτυρόμενοι *N(k)O*)
12 nga tubabuulirira era nga tubagumya mu mwoyo era nga tubaweerako obujulirwa, ne tubakuutira okutambulanga nga musaanira mu maaso ga Katonda, oyo abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ye ne mu kitiibwa kye.
εἰς τὸ (περιπατεῖν *N(k)O*) ὑμᾶς ἀξίως τοῦ θεοῦ τοῦ καλοῦντος ὑμᾶς εἰς τὴν ἑαυτοῦ βασιλείαν καὶ δόξαν.
13 Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.
(Καὶ *no*) διὰ τοῦτο καὶ ἡμεῖς εὐχαριστοῦμεν τῷ θεῷ ἀδιαλείπτως ὅτι παραλαβόντες λόγον ἀκοῆς παρ᾽ ἡμῶν τοῦ θεοῦ ἐδέξασθε οὐ λόγον ἀνθρώπων ἀλλὰ καθώς ἐστιν ἀληθῶς λόγον θεοῦ, ὃς καὶ ἐνεργεῖται ἐν ὑμῖν τοῖς πιστεύουσιν.
14 Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ng’Ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu b’eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu b’eggwanga lyabwe Abayudaaya.
ὑμεῖς γὰρ μιμηταὶ ἐγενήθητε, ἀδελφοί, τῶν ἐκκλησιῶν τοῦ θεοῦ τῶν οὐσῶν ἐν τῇ Ἰουδαίᾳ ἐν Χριστῷ Ἰησοῦ, ὅτι (τὰ *N(K)O*) (αὐτὰ *N(k)O*) ἐπάθετε καὶ ὑμεῖς ὑπὸ τῶν ἰδίων συμφυλετῶν, καθὼς καὶ αὐτοὶ ὑπὸ τῶν Ἰουδαίων,
15 Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe b’abantu bonna,
τῶν καὶ τὸν κύριον ἀποκτεινάντων Ἰησοῦν καὶ τοὺς (ἰδίους *K*) προφήτας καὶ (ἡμᾶς *NK(O)*) ἐκδιωξάντων καὶ θεῷ μὴ ἀρεσκόντων καὶ πᾶσιν ἀνθρώποις ἐναντίων,
16 era baatugaana okubuulira Abaamawanga olw’okutya nti bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko.
κωλυόντων ἡμᾶς τοῖς ἔθνεσιν λαλῆσαι ἵνα σωθῶσιν, εἰς τὸ ἀναπληρῶσαι αὐτῶν τὰς ἁμαρτίας πάντοτε· ἔφθασεν δὲ ἐπ᾽ αὐτοὺς ἡ ὀργὴ (τοῦ θεοῦ *O*) εἰς τέλος.
17 Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako.
Ἡμεῖς δέ, ἀδελφοί, ἀπορφανισθέντες ἀφ᾽ ὑμῶν πρὸς καιρὸν ὥρας προσώπῳ οὐ καρδίᾳ, περισσοτέρως ἐσπουδάσαμεν τὸ πρόσωπον ὑμῶν ἰδεῖν ἐν πολλῇ ἐπιθυμίᾳ.
18 Twayagala nnyo okudda gye muli, na ddala nze, Pawulo; nagezaako emirundi n’emirundi, naye Setaani n’atuziyiza.
(διότι *N(k)O*) ἠθελήσαμεν ἐλθεῖν πρὸς ὑμᾶς, ἐγὼ μὲν Παῦλος καὶ ἅπαξ καὶ δίς, καὶ ἐνέκοψεν ἡμᾶς ὁ σατανᾶς.
19 Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe?
τίς γὰρ ἡμῶν ἐλπὶς ἢ χαρὰ ἢ στέφανος καυχήσεως; ἢ οὐχὶ καὶ ὑμεῖς ἔμπροσθεν τοῦ κυρίου ἡμῶν Ἰησοῦ (Χριστοῦ *K*) ἐν τῇ αὐτοῦ παρουσίᾳ;
20 Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe era essanyu lyaffe.
ὑμεῖς γάρ ἐστε ἡ δόξα ἡμῶν καὶ ἡ χαρά.

< 1 Basessaloniika 2 >