< 1 Samwiri 31 >
1 Mu kiseera kyekimu Abafirisuuti baali balwana ne Isirayiri. Abasajja ba Isirayiri ne badduka Abafirisuuti, bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa.
2 Abafirisuuti ne banyiikira okugoberera Sawulo ne batabani be, era ne batta Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisuwa.
3 Olutalo Sawulo ne lumuba bubi, abalasi ab’obusaale ne bamuzingiza era ne bamuleetako ekiwundu kinene.
4 Awo Sawulo n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onfumite, abatali bakomole abo baleme okunkwata ne bambonyaabonya n’okunswaza ne banswaza.” Naye eyasitulanga ebyokulwanyisa bye n’atya era n’agaana okukikola. Sawulo kyeyava asowola ekitala kye ne yetta.
5 Awo eyasitulanga ebyokulwanyisa bye bwe yalaba nga Sawulo afudde, n’asowola ekitala kye naye ne yetta.
6 Sawulo bw’atyo, ne batabani be abasatu, n’eyasitulanga ebyokulwanyisa bye ne basajja be bonna ne bafa ku lunaku olwo lwe lumu.
7 Awo Abayisirayiri abaali emitala w’ekiwonvu n’abo abaali emitala wa Yoludaani bwe baalaba ng’eggye lya Isirayiri lidduse nga ne Sawulo ne batabani be abasatu bafudde, ne balekulira ebibuga byabwe ne badduka. Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 Enkeera, Abafirisuuti bwe baagenda okwambula emirambo, baasanga Sawulo ne batabani be abasatu bafiiridde ku lusozi Girubowa.
9 Ne batemako omutwe gwe ne bamwambulamu ebyokulwanyisa bye, ne batuma ababaka mu nsi yonna ey’Abafirisuuti okulangirira mu ssabo lyabwe, n’eri abantu baabwe.
10 Ne bateeka ebyokulwanyisa bye mu ssabo lya Baasutoleesi, n’ekiwudduwuddu kye ne bakiwanika ku bbugwe ow’e Besusani.
11 Naye abatuuze b’e Yabesugireyaadi bwe baawulira Abafirisuuti kye baali bakoze Sawulo,
12 abasajja abazira bonna ne bagolokoka, ne batambula ekiro kyonna ne bagenda e Besusani. Ne bawanulayo omulambo gwa Sawulo, n’egya batabani be ku bbugwe ow’e Besusani, ne bagitwala e Yabesi ne bagyokera eyo.
13 N’oluvannyuma ne baddira amagumba gaabwe ne bagaziika wansi w’omumyulimu e Yabesi, ne basiibira ennaku musanvu.