< 1 Samwiri 30 >

1 Awo Dawudi ne basajja be bwe baatuuka e Zikulagi, nga wayiseewo ennaku ssatu, baasanga Abamaleki baalumbye obukiikaddyo mu ddungu; ne Zikulagi, baali bakikumyeko omuliro.
ויהי בבא דוד ואנשיו צקלג ביום השלישי ועמלקי פשטו אל נגב ואל צקלג ויכו את צקלג וישרפו אתה באש׃
2 Baali batutte abakazi nga basibe, ne bonna abaalimu, abato era n’abakulu. Tewaali n’omu ku bo gwe batta, wabula okubawamba ne babatwala.
וישבו את הנשים אשר בה מקטן ועד גדול לא המיתו איש וינהגו וילכו לדרכם׃
3 Dawudi ne basajja be bwe baatuuka mu kibuga, baasanga kyokebbwa, era abakazi baabwe n’abaana baabwe aboobulenzi n’aboobuwala nga nabo bawambiddwa.
ויבא דוד ואנשיו אל העיר והנה שרופה באש ונשיהם ובניהם ובנתיהם נשבו׃
4 Awo Dawudi ne bonna abaali awamu naye ne bakaaba nnyo okutuusa lwe baggweeramu ddala agakaaba.
וישא דוד והעם אשר אתו את קולם ויבכו עד אשר אין בהם כח לבכות׃
5 Abakyala ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali Omukalumeeri, nabo baali babatutte.
ושתי נשי דוד נשבו אחינעם היזרעלית ואביגיל אשת נבל הכרמלי׃
6 Mu kiseera ekyo Dawudi n’anakuwala nnyo kubanga basajja be baali boogera ku kumukuba amayinja, buli omu nga munyiikaavu mu mutima olwa batabani baabwe ne bawala baabwe abaali batwalibbwa. Naye Dawudi n’afuna amaanyi okuva eri Mukama Katonda we.
ותצר לדוד מאד כי אמרו העם לסקלו כי מרה נפש כל העם איש על בנו ועל בנתיו ויתחזק דוד ביהוה אלהיו׃
7 Dawudi n’agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki nti, “Ndeetera ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.” Awo Abiyasaali n’agimuleetera.
ויאמר דוד אל אביתר הכהן בן אחימלך הגישה נא לי האפד ויגש אביתר את האפד אל דוד׃
8 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ngoberere ekibinja ekyo, nnaabakwata?” N’amuddamu nti, “Bagoberere, kubanga ojja kusobola okununula abawambe bonna.”
וישאל דוד ביהוה לאמר ארדף אחרי הגדוד הזה האשגנו ויאמר לו רדף כי השג תשיג והצל תציל׃
9 Awo Dawudi n’abasajja lukaaga ne batuuka ku kagga Besoli, abamu ku bo ne basigala awo,
וילך דוד הוא ושש מאות איש אשר אתו ויבאו עד נחל הבשור והנותרים עמדו׃
10 kubanga ebikumi bibiri ku bo baali bakooye nnyo n’okuyinza nga tebayinza kusomoka kagga. Naye Dawudi n’abalala ebikumi bina ne banyiikira okugoberera omulabe, ebikumi ebibiri ne basigala ku kagga nga bakooye.
וירדף דוד הוא וארבע מאות איש ויעמדו מאתים איש אשר פגרו מעבר את נחל הבשור׃
11 Ne basanga Omumisiri mu nnimiro ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bamuwa amazzi okunywa, n’emmere n’alya,
וימצאו איש מצרי בשדה ויקחו אתו אל דוד ויתנו לו לחם ויאכל וישקהו מים׃
12 ne bamuwa ekitole eky’ettiini n’ebirimba bibiri eby’ezabbibu enkalu. N’alya n’addamu amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu, emisana n’ekiro nga talidde ku mmere wadde okunywa ku mazzi.
ויתנו לו פלח דבלה ושני צמקים ויאכל ותשב רוחו אליו כי לא אכל לחם ולא שתה מים שלשה ימים ושלשה לילות׃
13 Awo Dawudi n’amubuuza nti, “Oli w’ani era ova wa?” N’addamu nti, “Ndi Mumisiri, omuweereza w’Omwamaleki. Mmaze ennaku ssatu nga ndi mulwadde muyi era mukama wange kyeyavudde ansuula wano.
ויאמר לו דוד למי אתה ואי מזה אתה ויאמר נער מצרי אנכי עבד לאיש עמלקי ויעזבני אדני כי חליתי היום שלשה׃
14 Twalumba obukiikaddyo obw’Abakeresi, n’ensi ya Yuda n’obukiikaddyo obwa Kalebu, ne twokya ne Zikulagi.”
אנחנו פשטנו נגב הכרתי ועל אשר ליהודה ועל נגב כלב ואת צקלג שרפנו באש׃
15 Dawudi n’amubuuza nti, “Oyinza okuntwala eri ekibinja ekyo ekyalumbye?” N’amuddamu nti, “Ssooka ondayirire Katonda, nga tolinzita so tolimpaayo eri mukama wange, ndyoke nkuserengese gye bali.”
ויאמר אליו דוד התורדני אל הגדוד הזה ויאמר השבעה לי באלהים אם תמיתני ואם תסגרני ביד אדני ואורדך אל הגדוד הזה׃
16 N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda.
וירדהו והנה נטשים על פני כל הארץ אכלים ושתים וחגגים בכל השלל הגדול אשר לקחו מארץ פלשתים ומארץ יהודה׃
17 Dawudi n’atandika okubatta okuva akawungeezi okutuusa enkeera, ne watawonawo n’omu, okuggyako abavubuka ebikumi bina abeebagala eŋŋamira ne badduka.
ויכם דוד מהנשף ועד הערב למחרתם ולא נמלט מהם איש כי אם ארבע מאות איש נער אשר רכבו על הגמלים וינסו׃
18 Dawudi n’akomyawo byonna Abamaleki bye baali banyaze, ng’omwo mwe muli ne bakyala be ababiri abaali bawambiddwa.
ויצל דוד את כל אשר לקחו עמלק ואת שתי נשיו הציל דוד׃
19 Ne watabaawo na kimu ekyabula, oba kitono oba kinene, newaakubadde abaana aboobulenzi oba aboobuwala, n’omunyago na buli kintu kyonna ku ebyo bye baatwala. Dawudi yakomyawo buli kimu.
ולא נעדר להם מן הקטן ועד הגדול ועד בנים ובנות ומשלל ועד כל אשר לקחו להם הכל השיב דוד׃
20 N’atwala ebisibo byonna n’amagana gonna, abasajja be ne babikulembeza ebisolo ebirala byonna, nga bwe boogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.”
ויקח דוד את כל הצאן והבקר נהגו לפני המקנה ההוא ויאמרו זה שלל דוד׃
21 Awo Dawudi n’addayo eri bali ebikumi ebibiri abaali bakooye ennyo, nga tebayinza kumugoberera, abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n’abantu abaali naye, n’abalamusa.
ויבא דוד אל מאתים האנשים אשר פגרו מלכת אחרי דוד וישיבם בנחל הבשור ויצאו לקראת דוד ולקראת העם אשר אתו ויגש דוד את העם וישאל להם לשלום׃
22 Naye abamu ku basajja abaagenda ne Dawudi abaali ababi n’abalala nga bafujjo, ne boogera nti, “Tetujja kugabana nabo munyago gwe twasuuzizza omulabe, kubanga tebaagenze naffe. Wabula, buli musajja addizibwe mukazi we n’abaana be agende.”
ויען כל איש רע ובליעל מהאנשים אשר הלכו עם דוד ויאמרו יען אשר לא הלכו עמי לא נתן להם מהשלל אשר הצלנו כי אם איש את אשתו ואת בניו וינהגו וילכו׃
23 Naye Dawudi n’addamu nti, “Nedda baganda bange, temusaana kukola bwe mutyo, Mukama by’atuwadde. Atukuumye era n’awaayo mu mukono gwaffe ekibinja ekyatulumbye.
ויאמר דוד לא תעשו כן אחי את אשר נתן יהוה לנו וישמר אתנו ויתן את הגדוד הבא עלינו בידנו׃
24 Ani anaabawuliriza ku nsonga eyo? Omuntu eyagenze mu lutalo ky’anaagabana, kinaaba kyekimu n’eky’oli eyasigadde ng’akuuma ebintu ebikozesebwa. Bonna banaagabana kyenkanyi.”
ומי ישמע לכם לדבר הזה כי כחלק הירד במלחמה וכחלק הישב על הכלים יחדו יחלקו׃
25 Ekyo Dawudi n’akifuula etteeka n’empisa mu Isirayiri ne leero.
ויהי מהיום ההוא ומעלה וישמה לחק ולמשפט לישראל עד היום הזה׃
26 Awo Dawudi bwe yatuuka mu Zikulagi, n’aweereza abakadde ba Yuda ebimu ku bintu eby’omunyago, abaali mikwano gye, ng’agamba nti, “Ekyo kirabo okuva ku munyago gw’abalabe ba Mukama.”
ויבא דוד אל צקלג וישלח מהשלל לזקני יהודה לרעהו לאמר הנה לכם ברכה משלל איבי יהוה׃
27 Yakiweereza ab’e Beseri, abaali mu bukiikaddyo mu Lamosi n’ab’e Yattiri,
לאשר בבית אל ולאשר ברמות נגב ולאשר ביתר׃
28 ab’e Aloweri, n’e Sifumosi, n’e Esutemoa;
ולאשר בערער ולאשר בשפמות ולאשר באשתמע׃
29 n’e Lakali, n’abaali mu bibuga eby’Abayerameeri, ne mu bibuga eby’Abakeeni;
ולאשר ברכל ולאשר בערי הירחמאלי ולאשר בערי הקיני׃
30 n’e Koluma, n’e Kolasani n’e Asaki;
ולאשר בחרמה ולאשר בבור עשן ולאשר בעתך׃
31 n’e Kebbulooni, ne bonna abaali mu bifo byonna Dawudi ne basajja be gye baatambuliranga.
ולאשר בחברון ולכל המקמות אשר התהלך שם דוד הוא ואנשיו׃

< 1 Samwiri 30 >