< 1 Samwiri 23 >
1 Awo Dawudi bwe yategeezebwa nti, “Laba, Abafirisuuti balwana ne Keyira, era banyagulula amawuuliro,”
И возвестиша Давиду, глаголюще: се, иноплеменницы облегоша Кеиль, и расхищают и попирают плоды.
2 ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende nnumbe Abafirisuuti abo?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda olumbe Abafirisuuti owonye Keyira.”
И вопроси Давид Господа, глаголя: аще пойду и избию иноплеменники сия? И рече Господь: иди, и победиши иноплеменники сия, и спасеши Кеиль.
3 Naye abasajja ba Dawudi ne bamugamba nti, “Wano mu Yuda tuli mu ntiisa. Naye ate bwe tuligenda e Keyira okulwanyisa Abafirisuuti, kiriba kitya?”
И реша мужие Давидовы к нему: се, мы зде во Иудеи боимся, и како будет, аще идем в Кеиль, в плен иноплеменников внидем?
4 Dawudi n’addayo nate okwebuuza ku Mukama. Mukama n’amuddamu nti, “Golokoka oserengete e Keyira, kubanga ŋŋenda kuwaayo Abafirisuuti mu mukono gwo.”
И приложи еще Давид вопросити Господа. И отвеща ему Господь и рече ему: востани и сниди в Кеиль, яко Аз предаю иноплеменники в руце твои.
5 Awo Dawudi n’abasajja be ne balaga e Keyira, ne balwana n’Abafirisuuti, ne batwala ente zaabwe, era ne batta bangi ku bo. Dawudi n’awonya abatuuze b’e Keyira.
И иде Давид и мужие его с ним в Кеиль, и брашася со иноплеменники: и бежаша (иноплеменницы) от лица его, и взя скоты их, и порази их язвою великою, и спасе Давид живущыя в Кеиле.
6 Mu biro ebyo Abiyasaali mutabani wa Akimereki bwe yaddukira eri Dawudi e Keyira, yagenda ne kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.
И бысть егда бежа Авиафар сын Авимелехов к Давиду, и той с Давидом в Кеиль сниде, имый ефуд в руце своей.
7 Sawulo n’ategeezebwa nti Dawudi agenze e Keyira, n’ayogera nti, “Katonda awaddeyo Dawudi mu mukono gwange, kubanga Dawudi yesibiddeyo, bw’ayingidde mu kibuga ekiriko wankaaki ow’emitayimbwa.”
И возвестися Саулу, яко прииде Давид в Кеиль. И рече Саул: предаде его Бог в руце мои, яко заключися вшед в град (имущь) врата и вереи.
8 Awo Sawulo n’akuŋŋaanya amaggye ge gonna okweteekerateekera olutalo, n’aserengeta e Keyira okuzingiza Dawudi ne basajja be.
И заповеда Саул всем людем на брань снити в Кеиль, яти Давида и мужы его.
9 Dawudi n’ategeera nga Sawulo ateekateeka okumukola akabi, n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Leeta ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi wano.”
И уведе Давид, яко не премолкает злобы о нем Саул, и рече Давид ко Авиафару жерцу: принеси ефуд Господень.
10 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, omuweereza wo awuliridde ddala Sawulo bw’ateekateeka okujja okusaanyaawo ekibuga Keyira ku lwange.
И рече Давид: Господи Боже Израилев, слышав услыша раб Твой, яко ищет Саул приити на Кеиль растлити град мене ради:
11 Abatuuze b’e Keyira balimpaayo gy’ali? Era Sawulo anaaserengeta n’ajja, ng’omuweereza wo bw’awulidde? Ayi Mukama, Katonda wa Isirayiri, nkwegayiridde, tegeeza omuweereza wo.” Mukama n’amugamba nti, “Aliserengeta.”
аще заключится? И ныне аще снидет Саул, якоже слыша раб Твой? Господи Боже Израилев, возвести рабу Твоему. И рече Господь: заключится.
12 Dawudi n’addamu n’abuuza nti, “Abasajja b’e Keyira balimpaayo nze n’abasajja bange eri Sawulo?” Mukama n’amuddamu nti, “Balibawaayo gy’ali.”
И рече Давид: аще предадят мя иже в Кеиле, и мужы моя в руки Саули? И рече Господь: предадят.
13 Awo Dawudi n’abasajja be, abawera nga lukaaga ne bava e Keyira, ne batambulatambulanga wano ne wali nga tebalina kifo kyankalakkalira. Sawulo bwe yategeezebwa nga Dawudi adduse okuva mu Keyira, n’atagendayo.
И воста Давид и мужие его с ним, яко четыреста, и изыдоша из Кеилы, и идоша, аможе хотяху. И возвестиша Саулу, яко угонзе Давид из Кеилы: и остави ити.
14 Dawudi n’abeera mu bifo eby’eddungu, mu nsi ey’ensozi mu ddungu ery’e Zifu. Sawulo n’anoonyanga Dawudi buli lunaku, naye Katonda n’atamuwaayo mu mukono gwe.
И седе Давид в Масереме в пустыни во узинах, и седяше в пустыни на горе Зиф, в земли знойне: и искаше его Саул во вся дни, и не предаде его Бог в руце его.
15 Dawudi ng’ali mu ddungu ery’e Zifu mu kibira ky’e Kolesi, n’ategeera nga Sawulo amunoonya okumutta.
И виде Давид, яко исходит Саул искати его: и Давид бяше на горе знойне, в дубраве Зиф.
16 Awo Yonasaani mutabani wa Sawulo n’agenda eri Dawudi mu kibira, Kolesi, okumugumya mu Mukama.
И воста Ионафан сын Саулов и иде к Давиду в дубраву, и утверди руце его во Господе,
17 N’amugamba nti, “Totya, kubanga kitange Sawulo talikukola kabi n’akamu. Gwe oliba kabaka wa Isirayiri, nze ne mbeera omumyuka wo, era n’ekyo kitange akimanyi.”
и рече к нему: не бойся, яко не имать обрести тебе рука отца моего Саула, и ты имаши царствовати во Израили, и аз буду по тебе другий, и Саул отец мой уведа тако.
18 Awo bombi ne bakola endagaano mu maaso ga Mukama, n’oluvannyuma Yonasaani n’addayo ewuwe, Dawudi n’asigala mu kibira.
И положиста оба завет пред Господем: и седяше Давид в дубраве, а Ионафан отиде в дом свой.
19 Awo ab’e Zifu ne bambuka eri Sawulo e Gibea ne bamutegeeza nti, “Okimanyi nga Dawudi yeekwese mu ffe mu kibira ky’e Kolesi, ku lusozi Kakira oluli ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni?
И изыдоша Зифее от знойныя земли к Саулу на холм, глаголюще: не се ли Давид скрыся у нас в Мессаре во узинах в дубраве на холме Ехелатсте, иже одесную Иесемона?
20 Kaakano, ayi kabaka, serengeta mu bbanga lyonna ly’onoosiima, tujja kumuwaayo gy’oli.”
И ныне все еже по души цареве ко исхождению, да снидет (убо) к нам: заключиша бо его в руки царевы.
21 Sawulo n’abaddamu nti, “Mukama abawe omukisa, olw’okunkwatirwa ekisa.
И рече им Саул: благословени вы Господеви, яко поболесте о мне:
22 Mugende mweyongere okwetegereza, mumanye, mulabe n’ebifo gy’atera okutambulira, n’abamulabayo, kubanga bantegeeza nti mujagujagu nnyo.
идите ныне, и уготовите еще, и познайте место его, идеже будет нога его вскоре, тамо идеже ресте, да не како прехитрит:
23 Noolwekyo munoonye mu bifo mwe yeekweka munkomezeewo amawulire amakakafu. Bw’anaabeera mu kitundu ekyo eky’ensi nnaagenda nammwe munoonye mu bika byonna ebya Yuda.”
и видите и уразумейте о всех местех, идеже той крыется, и возвратитеся ко мне на готово, и иду с вами: и будет, аще есть на земли, изыскати имам его во всех тысящах Иудиных.
24 Awo ne bagolokoka ne bakulemberamu Sawulo ne bagenda e Zifu. Mu biro ebyo Dawudi n’abasajja be baali mu ddungu ery’e Mawoni mu Alaba ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yesimoni.
И восташа Зифее, и идоша пред Саулом: Давид же и мужие его бяху в пустыни Маон к западу одесную Иесемона.
25 Awo Sawulo n’abasajja be ne bagenda okumunoonya. Dawudi n’akiwulira, kyeyava aserengeta awali olwazi mu ddungu ery’e Mawoni n’abeera eyo. Sawulo bwe yakiwulira n’agenda mu ddungu ery’e Mawoni okumunoonya.
И иде Саул и мужие его искати Давида. И возвестиша Давиду, и сниде ко каменю иже в пустыни Маон. И услыша Саул, и погна вслед Давида в пустыню Маон.
26 Sawulo n’ayambukira ku luuyi olumu olw’olusozi, Dawudi ne basajja be ne bambukira ku luuyi olulala, nga banguwa okudduka Sawulo. Naye Sawulo ne basajja be bwe baali nga banaatera okuzingiza Dawudi n’abasajja be,
И идяше Саул и мужие его от страны горы отсюду, Давид же бе и мужие его от страны горы отюнуду: и бе Давид укрываяся ити от лица Сауля, а Саул и мужие его ополчишася на Давида и на мужы его яти их.
27 ne wajja omubaka eri Sawulo ng’agamba nti, “Yanguwako! Abafirisuuti balumbye ensi.”
И прииде вестник к Саулу глаголя: потщися и иди, яко нападоша иноплеменницы на землю твою.
28 Awo Sawulo n’alekayo okunoonya Dawudi, n’agenda okulwanyisa Abafirisuuti. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Serakammalekosi.
И возвратися Саул не гнати вслед Давида, и иде противу иноплеменником: сего ради наречеся место оно Камень Разделенный.
29 Awo Dawudi n’avaayo n’agenda n’abeera mu bifo ebya Engedi.
И воста Давид оттуду и седе во узинах Енгадди.