< 1 Samwiri 18 >

1 Awo Dawudi bwe yamala okwogera ne Sawulo, Yonasaani n’aba bumu ne Dawudi, era n’amwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala.
大衛對掃羅說完了話,約拿單的心與大衛的心深相契合。約拿單愛大衛,如同愛自己的性命。
2 Okuva ku lunaku olwo Sawulo n’atwala Dawudi okubeera naye, n’atamuganya kuddayo mu nnyumba ya kitaawe.
那日掃羅留住大衛,不容他再回父家。
3 Awo Yonasaani n’atta omukago ne Dawudi kubanga yamwagala nnyo nga bwe yali yeeyagala yekka.
約拿單愛大衛如同愛自己的性命,就與他結盟。
4 Yonasaani ne yeeyambulamu ekyambalo kye yali ayambadde n’ekanzu ye, ne yeesumulula n’ekitala kye, n’omutego gwe n’olukoba lwe, n’abiwa Dawudi.
約拿單從身上脫下外袍,給了大衛,又將戰衣、刀、弓、腰帶都給了他。
5 Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.
掃羅無論差遣大衛往何處去,他都做事精明。掃羅就立他作戰士長,眾百姓和掃羅的臣僕無不喜悅。
6 Awo abasajja bwe baali nga bakomawo eka, Dawudi ng’amaze okutta Omufirisuuti, abakazi ne bava mu bibuga byonna ebya Isirayiri nga bayimba era nga bazina, okusisinkana kabaka Sawulo, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga balina ebitaasa n’entongooli.
大衛打死了那非利士人,同眾人回來的時候,婦女們從以色列各城裏出來,歡歡喜喜,打鼓擊磬,歌唱跳舞,迎接掃羅王。
7 Baazinanga ate nga bwe bayimba nti, “Sawulo asse enkumi ze Dawudi n’atta emitwalo gye.”
眾婦女舞蹈唱和,說:「掃羅殺死千千,大衛殺死萬萬。」
8 Sawulo olwawulira ebigambo ebyo n’asunguwala nnyo, era ne kimukola bubi nnyo. N’ayogera nti, “Dawudi bamuwaanye n’emitwalo, nze ne bampaana n’enkumi; kiki ky’ataafune bw’ataalye bwakabaka?”
掃羅甚發怒,不喜悅這話,就說:「將萬萬歸大衛,千千歸我,只剩下王位沒有給他了。」
9 Awo okuva mu kiseera ekyo Sawulo n’akwatirwa Dawudi obuggya.
從這日起,掃羅就怒視大衛。
10 Olunaku olwaddirira omwoyo omubi okuva eri Katonda ne gujja ku Sawulo n’amaanyi mangi, n’ayogera eby’obunnabbi mu lubiri lwe, Dawudi nga bw’akuba entongooli nga bwe yakolanga buli lunaku. Sawulo yalina effumu mu ngalo ze,
次日,從上帝那裏來的惡魔大大降在掃羅身上,他就在家中胡言亂語。大衛照常彈琴,掃羅手裏拿着槍。
11 n’alikasuka, ng’ayogera mu mutima gwe nti, “Kanfumite Dawudi mmukwasize ku kisenge.” Naye Dawudi n’alyewoma emirundi ebiri.
掃羅把槍一掄,心裏說,我要將大衛刺透,釘在牆上。大衛躲避他兩次。
12 Awo Sawulo n’atya Dawudi, kubanga Mukama yali wamu naye, kyokka ng’avudde ku Sawulo.
掃羅懼怕大衛;因為耶和華離開自己,與大衛同在。
13 Sawulo kyeyava aziyiza Dawudi okujja mu maaso ge n’amufuula omuduumizi ow’abasajja olukumi, era olw’omulimu ogwo ne yeeyongera okwatiikirira mu bantu.
所以掃羅使大衛離開自己,立他為千夫長,他就領兵出入。
14 Dawudi n’afuna omukisa mu buli kye yakolanga, kubanga Mukama yali wamu naye.
大衛做事無不精明,耶和華也與他同在。
15 Awo Sawulo bwe yalaba Dawudi ng’afuna emikisa, n’amutya.
掃羅見大衛做事精明,就甚怕他。
16 Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.
但以色列和猶大眾人都愛大衛,因為他領他們出入。
17 Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Nzija kukuwa muwala wange omukulu Merabu, abe mukyala wo, mpeereza n’obuvumu era lwana entalo za Mukama.” Sawulo n’ateesa mu mutima gwe nti, “Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange okumukolako akabi. Ekyo Abafirisuuti be balikikola.”
掃羅對大衛說:「我將大女兒米拉給你為妻,只要你為我奮勇,為耶和華爭戰。」掃羅心裏說:「我不好親手害他,要藉非利士人的手害他。」
18 Naye Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Nze ani, n’ennyumba ye waffe be baani, era n’ekika kya kitange kye kiki mu Isirayiri, nze okuba mukoddomi wa kabaka?”
大衛對掃羅說:「我是誰,我是甚麼出身,我父家在以色列中是何等的家,豈敢作王的女婿呢?」
19 Naye ekiseera bwe kyatuuka omuwala wa Sawulo Merabu okuweebwa Dawudi, ne bamuwa Aduliyeri Omumekolasi okumuwasa.
掃羅的女兒米拉到了當給大衛的時候,掃羅卻給了米何拉人亞得列為妻。
20 Awo muwala wa Sawulo omulala Mikali yali ayagala Dawudi, era Sawulo bwe yakiwulira, n’akisanyukira.
掃羅的次女米甲愛大衛。有人告訴掃羅,掃羅就喜悅。
21 Sawulo n’alowooza mu mutima gwe nti, “Nzija kumumuwa afuuke omutego, omukono gw’Abafirisuuti gulyoke gumuzikirize.” Sawulo kyeyava agamba Dawudi nti, “Kaakano ofunye omukisa ogwokubiri okuba mukoddomi wange.”
掃羅心裏說:「我將這女兒給大衛,作他的網羅,好藉非利士人的手害他。」所以掃羅對大衛說:「你今日可以第二次作我的女婿。」
22 Awo Sawulo n’alagira abaweereza be nti, “Mwogere ne Dawudi kyama mumugambe nti, ‘Laba, kabaka akusanyukira, ate n’abaweereza be bonna bakwagala, noolwekyo beera mukoddomi wa kabaka.’”
掃羅吩咐臣僕說:「你們暗中對大衛說:『王喜悅你,王的臣僕也都喜愛你,所以你當作王的女婿。』」
23 Ebigambo ebyo ne babitegeeza Dawudi. Naye Dawudi n’ayogera nti, “Mulowooza nga kintu kitono okubeera mukoddomi wa kabaka? Nze ndi musajja mwavu atamanyiddwa nnyo.”
掃羅的臣僕就照這話說給大衛聽。大衛說:「你們以為作王的女婿是一件小事嗎?我是貧窮卑微的人。」
24 Abaweereza ba Sawulo ne bamutuusaako ebigambo bya Dawudi.
掃羅的臣僕回奏說,大衛所說的如此如此。
25 Sawulo n’addamu nti, “Mugambe Dawudi nti, ‘Tewali kirala kabaka ky’ayagala okuggyako ebikuta by’Abafirisuuti kikumi okwesasuza ku balabe be, n’oluvannyuma onoowasa muwala we.’” Sawulo yali ayagala Dawudi attibwe Abafirisuuti.
掃羅說:「你們要對大衛這樣說:『王不要甚麼聘禮,只要一百非利士人的陽皮,好在王的仇敵身上報仇。』」掃羅的意思要使大衛喪在非利士人的手裏。
26 Awo abaweereza be ne bagenda ne bategeeza Dawudi ebigambo ebyo, Dawudi n’asanyuka nnyo okuba mukoddomi wa kabaka. Awo ekiseera ekiragaane nga tekinnaba na kuyitawo,
掃羅的臣僕將這話告訴大衛,大衛就歡喜作王的女婿。日期還沒有到,
27 Dawudi n’abasajja be ne bagenda ne batta Abafirisuuti ebikumi bibiri. N’aleeta ebikuta byabwe, n’awaayo omuwendo ogutuukiridde eri kabaka, alyoke abeere mukoddomi wa kabaka. Awo Sawulo n’alyoka amuwa muwala we Mikali amuwase.
大衛和跟隨他的人起身前往,殺了二百非利士人,將陽皮滿數交給王,為要作王的女婿。於是掃羅將女兒米甲給大衛為妻。
28 Naye Sawulo bwe yategeera nga Mukama ali wamu ne Dawudi, ate nga ne muwala we Mikali ayagala Dawudi,
掃羅見耶和華與大衛同在,又知道女兒米甲愛大衛,
29 Sawulo ne yeeyongera okumutya, era n’aba mulabe wa Dawudi okuva mu kiseera ekyo.
就更怕大衛,常作大衛的仇敵。
30 Abaduumizi b’Abafirisuuti ne beeyongera okubatabaalanga, era buli lwe baabalumbanga, Dawudi n’awangulanga okusinga n’Abaserikale ba Sawulo abalala bonna. Erinnya lya Dawudi ne lyatiikirira nnyo.
每逢非利士軍長出來打仗,大衛比掃羅的臣僕做事精明,因此他的名被人尊重。

< 1 Samwiri 18 >