< 1 Samwiri 17 >

1 Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanyiza eggye lyabwe e Soko ekya Yuda okulwana. Ne basiisira mu Efusudammimu ekiri wakati wa Soko ne Azeka.
爰にペリシテ人其軍を集めて戰はんとしユダに屬するシヨコにあつまりシヨコとアゼカの間なるバスダミムに陣をとる
2 Sawulo n’Abayisirayiri nabo ne bakuŋŋaana, bo ne basiisira mu kiwonvu Era, ne basimba ennyiriri okulwana n’Abafirisuuti.
サウルとイスラエルの人々集まりてエラの谷に陣をとりペリシテ人にむかひて軍の陣列をたつ
3 Abafirisuuti ne bayimirira ku luuyi olumu olw’olusozi, n’Abayisirayiri ne bayimirira ku luuyi olulala olw’olusozi, nga wakati waabwe waliwo ekiwonvu.
ペリシテ人は此方の山にたちイスラエルは彼方の山にたつ谷は其あひだにあり
4 Mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne muva essajja eddene nga lizira erinnya lyalyo Goliyaasi, ery’e Gaasi, ng’obuwanvu bwalyo lyali mita ssatu n’okusingawo.
時にペリシテ人の陣よりガテのゴリアテと名くる挑戰者いできたる其身の長六キユビト半
5 Lyalina enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe gwalyo, nga lyambadde n’ekizibaawo eky’ekikomo, n’obuzito bwakyo bwali kilo ataano mu musanvu.
首に銅の盔を戴き身に鱗綴の鎧甲を着たり其よろひの銅のおもさは五千シケルなり
6 Lyali lyambadde eby’ebikomo ku magulu gaalyo, nga lirina effumu ery’ekikomo ku kibegabega kyalyo.
また脛には銅の脛當を着け肩の間に銅の矛戟を負ふ
7 N’olunyago lw’effumu lyalyo lwali ng’omuti ogulukirwako engoye, n’omutwe gw’effumu ogw’ekyuma ng’obuzito bwagwo kilo musanvu. Eyasitulanga engabo ye yamukulemberangamu.
其槍の柄は機の梁のごとく槍の鋒刃の鐵は六百シケルなり楯を執る者其前にゆく
8 Awo Goliyaasi n’ayimirira n’aboggolera eggye lya Isirayiri nti, “Lwaki mwetegeka okulwana? Siri Mufirisuuti, ate mmwe temuli baddu ba Sawulo? Mulonde omusajja mu mmwe aserengete gye ndi.
ゴリアテ立てイスラエルの諸行伍によばはり云けるは汝らはなんぞ陣列をなして出きたるや我はペリシテ人にして汝らはサウルの臣下にあらずや汝ら一人をえらみて我ところにくだせ
9 Bw’anannwanyisa n’anzita, kale tunaafuuka baddu bammwe, naye bwe nnaamuwangula ne mutta, munaafuuka baddu baffe era munaatuweerezanga.”
其人もし我とたたかひて我をころすことをえば我ら汝らの臣僕とならんされど若し我かちてこれを殺さば汝ら我らの僕となりて我らに事ふ可し
10 Era Omufirisuuti n’ayongera okwogera nti, “Leero, nsomooza eggye lya Isirayiri! Mumpeeyo omusajja tulwane.”
かくて此ペリシテ人いひけるは我今日イスラエルの諸行伍を挑む一人をいだして我と戰はしめよと
11 Sawulo ne Isirayiri yenna bwe baawulira ebigambo eby’Omufirisuuti, ne bakeŋŋentererwa ne batya nnyo.
サウルおよびイスラエルみなペリシテ人のこの言を聞き驚きて大に懼れたり
12 Dawudi yali mutabani wa Yese Omwefulasi ow’e Besirekemu mu Yuda.
抑ダビデはかのベテレヘムユダのエフラタ人ヱサイとなづくる者の子なり此人八人の子ありしがサウルの世には年邁みてすでに老たり
13 Yese yalina abaana munaana aboobulenzi, era mu biro ebyo ebya Sawulo yali akaddiye nnyo. Batabani ba Yese abakulu abasatu baali bagenze ne Sawulo mu lutalo. Omukulu ye yali Eriyaabu, owookubiri nga ye Abinadaabu, n’owookusatu nga ye Samma.
ヱサイの長子三人ゆきてサウルにしたがひて戰爭にいづ其戰にいでし三人の子の名は長をエリアブといひ次をアビナダブといひ第三をシヤンマといふ
14 Dawudi ye yali omuto. Abasatu ne bagenda ne Sawulo,
ダビデは季子にして其兄三人はサウルにしたがへり
15 naye Dawudi n’addiŋŋananga ng’ava mu kulunda endiga za kitaawe e Besirekemu, ng’agenda ewa Sawulo.
ダビデはサウルに往來してベテレヘムにて其父の羊を牧ふ
16 Omufirisuuti n’amala ennaku amakumi ana ng’asoomooza Abayisirayiri enkya n’akawungeezi.
彼ペリシテ人四十日のあひだ朝夕近づきて前にたてり
17 Yese n’agamba mutabani we Dawudi nti, “Kwata ekkilo zino amakumi abiri ez’eŋŋaano ensiike n’emigaati gino ekkumi, oyanguwe okubitwalira baganda bo mu lusiisira lwabwe.
時にヱサイ其子ダビデにいひけるは今汝の兄のために此烘麥一斗と此十のパンを取りて陣營にをる兄のところにいそぎゆけ
18 Ate ne bino ebitole ekkumi eby’amata (kiizi) bitwalire omuduumizi w’ekibinja kyabwe. Olabe baganda bo nga bwe bali okomyewo obubaka obunaatugumya.
また此十の乾酪をとりて其千夫の長におくり兄の安否を視て其返事をもちきたれと
19 Bali ne Sawulo n’abasajja ba Isirayiri bonna mu kiwonvu Era, balwana n’Abafirisuuti.”
サウルと彼等およびイスラエルの人は皆ペリシテ人とたたかひてエラの谷にありき
20 Enkeera Dawudi n’agolokoka mu makya nnyo, endiga n’azirekera omusumba, n’ateekateeka ebintu bye yali atwala, n’agenda nga Yese bwe yamulagira. We yatuukira mu lusiisira, ng’eggye ligenda mu ddwaniro nga lirangirira olutalo.
ダビデ朝夙くおきて羊をひとりの牧者にあづけヱサイの命ぜしごとく携へゆきて車營にいたるに軍勢いでて行伍をなし鯨波をあげたり
21 Isirayiri n’Abafirisuuti baali basimbye ennyiriri, buli ggye nga lyolekedde linnaalyo.
しかしてイスラエルとペリシテ人陣列をたてて行伍を行伍に相むかはせたり
22 Dawudi n’alekera omukuumi w’ebikozesebwa ebintu bye, n’adduka n’agenda eri eggye, n’alamusa ku baganda be.
ダビデ其荷をおろして荷をまもる者の手にわたし行伍の中にはせゆきて兄の安否を問ふ
23 Awo bwe yali ng’aky’anyumya nabo, Goliyaasi, Omufirisuuti omuzira ow’e Gaasi, ne yeesowolayo okuva mu ggye ly’Abafirisuuti n’asoomooza Abayisirayiri mu bigambo bye bimu bye yayogeranga. Dawudi n’amuwulira.
ダビデ彼等と倶に語れる時視よペリシテ人の行伍よりガテのペリシテのゴリアテとなづくる彼の挑戰者のぼりきたり前のことばのごとく言しかばダビデ之を聞けり
24 Awo Abayisirayiri bwe baalaba omusajja ne batya ne bamudduka mu kutya okw’ekitalo.
イスラエルの人其人を見て皆逃て之をはなれ痛く懼れたり
25 Ne bagamba nti, “Mulaba omusajja oyo avuddeyo? Mazima, azze okusoomooza Isirayiri. Omuntu alimutta, kabaka alimugaggawaza era alimuwa muwala we okumuwasa, era n’ennyumba ya kitaawe eneebanga ya ddembe mu Isirayiri.”
イスラエルの人いひけるは汝らこののぼり來る人を見しや誠にイスラエルを挑んとて上りきたるなり彼をころす人は王大なる富を以てこれをとまし其女子をこれにあたへて其父の家にはイスラエルの中にて租税をまぬかれしめん
26 Awo Dawudi n’abuuza abasajja abaali bamuyimiridde okumpi nti, “Kiki ekirikolerwa omuntu alitta Omufirisuuti oyo, n’aggya obuswavu buno ku Isirayiri? Omufirisuuti oyo atali mukomole yeeyita ani okusoomooza eggye lya Katonda omulamu?”
ダビデ其傍にたてる人々にかたりていひけるは此ペリシテ人をころしイスラエルの耻辱を雪ぐ人には如何なることをなすや此割禮なきペリシテ人は誰なればか活る神の軍を搦む
27 Ne bamuddiramu ebigambo bye bimu nti, “Bw’atyo bw’anaakolebwa omuntu anaamutta.”
民まへのごとく答へていひけるはかれを殺す人には斯のごとくせらるべしと
28 Awo Eriyaabu, muganda wa Dawudi mukulu waabwe bwe yamuwulira ng’ayogera n’abasajja, obusungu ne bumukwata, n’amubuuza nti, “Kiki ekyakuleese wano? Ani gwe walekedde endiga ezo entono ku ttale? Mmanyi amalala go n’ekyejo ky’olina mu mutima, waserengese kulaba bulabi lutalo.”
兄エリアブ、ダビデが人々とかたるを聞しかばエリアブ、ダビデにむかひて怒りを發しいひけるは汝なにのために此に下りしや彼の野にあるわづかの羊を誰にあづけしや我汝の傲慢と惡き心を知る其は汝戰爭を見んとて下ればなり
29 Dawudi n’ayogera nti, “Kaakano nkoze ki? Siyinza kubaako kye mbuuza? Mbuuzizza bubuuza.”
ダビデいひけるは我今なにをなしたるや只一言にあらずやと
30 N’akyuka n’abuuza omuntu omulala ekibuuzo kye kimu, mu ngeri y’emu abasajja ne bamutegeeza ebigambo bye bimu nga bali abaasoose.
又ふりむきて他の人にむかひ前のごとく語れるに民まへのごとく答たり
31 Ebigambo Dawudi bye yayogera byawulirwa ne bituusibwa eri Sawulo; Sawulo n’amutumya.
人々ダビデが語れる言をききてこれをサウルのまへにつげければサウルかれを召す
32 Awo Dawudi n’agamba Sawulo nti, “Waleme kubaawo muntu n’omu aggwaamu mwoyo olw’Omufirisuuti oyo. Omuweereza wo anaagenda n’amulwanyisa.”
ダビデ、サウルにいひけるは人々かれがために氣をおとすべからず僕ゆきてかのペリシテ人とたたかはん
33 Sawulo n’amuddamu nti, “Toyinza kugenda kulwana na Mufirisuuti oyo; kubanga oli mulenzi bulenzi, songa ye abadde mulwanyi okuva mu buvubuka bwe.”
サウル、ダビデにいひけるは汝はかのペリシテ人をむかへてたたかふに勝ず其は汝は少年なるにかれは若き時よりの戰士なればなり
34 Naye Dawudi n’addamu Sawulo nti, “Omuweereza wo amaze ebbanga ng’alunda endiga za kitaawe, era bwe waabangawo empologoma oba eddubu eyajjanga n’etwala omwana gw’endiga okuva mu kisibo,
ダビデ、サウルにいひけるは僕さきに父の羊を牧るに獅子と熊と來りて其群の羔を取たれば
35 nagigobereranga, ne ngikuba, ne mponya omwana gw’endiga nga nguggya mu kamwa k’ensolo eyo. Bwe yankyukiranga n’eyagala okunzita, nga ngikwata oluba ne ngikuba ne ngitta.
其後をおひて之を搏ち羔を其口より援ひいだせりしかして其獣我に猛りかかりたれば其鬚をとらへてこれを撃ちころせり
36 Omuweereza wo yattako ku mpologoma n’eddubu. Omufirisuuti ono atali mukomole anaaba ng’emu ku zo, kubanga asoomozezza eggye lya Katonda omulamu.”
僕は旣に獅子と熊とを殺せり此割禮なきペリシテ人活る神の軍をいどみたれば亦かの獣の一のごとくなるべし
37 Dawudi n’ayogera nti, “Mukama eyamponya enjala z’empologoma n’enjala z’eddubu, alimponya ne mu mukono gw’Omufirisuuti oyo.” Awo Sawulo n’agamba Dawudi nti, “Genda, era Mukama abeere naawe.”
ダビデまたいひけるはヱホバ我を獅子の爪と熊の爪より援ひいだしたまひたれば此ペリシテ人の手よりも援ひいだしたまはんとサウル、ダビデにいふ往けねがはくはヱホバ汝とともにいませ
38 Sawulo n’ayambaza Dawudi ebyambalo bye eby’olutalo; n’amuwa ekizibaawo eky’ekikomo, n’amuteeka n’enkuufiira ey’ekikomo ku mutwe.
是においてサウルおのれの戎衣をダビデに衣せ銅の盔を其首にかむらせ亦鱗綴の鎧をこれにきせたり
39 Dawudi ne yeesiba ekitala kya Sawulo ku kyambalo, n’agezaako okutambula, naye n’alemererwa, kubanga yali tabimanyidde. Awo n’agamba Sawulo nti, “Siisobole kugenda na bino kubanga sibimanyidde.” N’abyeyambulamu.
ダビデ戎衣のうへに劍を佩て往かんことを試む未だ驗せしことなければなりしかしてダビデ、サウルにいひけるは我いまだ驗せしことなければ是を衣ては往くあたはずと
40 N’akwata omuggo mu mukono gwe, n’alonda n’amayinja amaweweevu ataano mu kagga, n’agateeka mu nsawo ye ey’omusumba. N’addira n’envuumuulo ye mu mukono gwe n’asemberera Omufirisuuti.
ダビデこれを脱ぎすて手に杖をとり谿間より五の光滑なる石を拾ひて之を其持てる牧羊者の具なる袋に容れ手に投石索を執りて彼ペリシテ人にちかづく
41 Awo Omufirisuuti n’omusajja eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nga yamukulembeddemu, ne basemberera Dawudi.
ペリシテ人進みきてダビデに近づけり楯を執るもの其まへにあり
42 Omufirisuuti n’atunuulira Dawudi n’amunyooma kubanga yali mulenzi bulenzi, ng’alabika bulungi ate n’amaaso ge nga malungi.
ペリシテ人環視てダビデを見て之を藐視る其は少くして赤くまた美しき貌なればなり
43 N’agamba Dawudi nti, “Ndi mbwa olyoke ojje gye ndi n’emiggo?” Omufirisuuti n’akolimira Dawudi nga bwakoowoola balubaale be.
ペリシテ人ダビデにいひけるは汝杖を持てきたる我豈犬ならんやとペリシテ人其神の名をもってダビデを呪詛ふ
44 Omufirisuuti n’agamba Dawudi nti, “Sembera wano, omubiri gwo nnaagugabira ennyonyi ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko.”
しかしてペリシテ人ダビデにいひけるは我がもとに來れ汝の肉を空の鳥と野の獣にあたへんと
45 Naye Dawudi n’agamba Omufirisuuti nti, “Ojja gye ndi n’ekitala n’effumu, naye nze nzija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye, Katonda w’eggye lya Isirayiri gw’osoomooza.
ダビデ、ペリシテ人にいひけるは汝は劍と槍と矛戟をもて我にきたる然ど我は萬軍のヱホバの名すなはち汝が搦みたるイスラエルの軍の神の名をもて汝にゆく
46 Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri.
今日ヱホバ汝をわが手に付したまはんわれ汝をうちて汝の首級を取りペリシテ人の軍勢の尸體を今日空の鳥と地の野獣にあたへて全地をしてイスラエルに神あることをしらしめん
47 Abo bonna abakuŋŋaanye wano banaategeera nga Mukama talokola na kitala wadde effumu, kubanga olutalo, lwa Mukama era mwenna agenda kubawaayo mu mukono gwaffe.”
且又この群衆みなヱホバは救ふに劍と槍を用ひたまはざることをしるにいたらん其は戰はヱホバによれば汝らを我らの手にわたしたまはんと
48 Awo Omufirisuuti bwe yali ng’asembera okulumba Dawudi, Dawudi n’adduka mbiro okumusisinkana.
ペリシテ人すなはち立あがり進みちかづきてダビデをむかへしかばダビデいそぎ陣にはせゆきてペリシテ人をむかふ
49 Dawudi n’aggya ejjinja mu nsawo ye n’alivuumuula ne likwasa Omufirisuuti mu kyenyi; n’agwa nga yeevuunise, n’ejjinja nga liyingidde mu kyenyi kye.
ダビデ手を嚢にいれて其中より一つの石をとり投てペリシテ人の顙を撃ければ石其顙に突きいりて俯伏に地にたふれたり
50 Bw’atyo Dawudi n’awangula Omufirisuuti n’envuumuulo n’ejjinja, n’amukuba n’amutta nga Dawudi talina kitala ky’akutte.
かくダビデ投石索と石をもてペリシテ人にかちペリシテ人をうちて之をころせり然どダビデの手には劍なかりしかば
51 Dawudi bwe yamala okutta Omufirisuuti, n’adduka n’amuyimirirako, n’asowola ekitala ky’Omufiisuuti okuva mu kiraato kyakyo, n’amutemako omutwe nakyo. Awo Abafirisuuti bwe baalaba omuzira waabwe ng’afudde ne badduka.
ダビデはしりてペリシテ人の上にのり其劍を取て之を鞘より抜きはなしこれをもて彼をころし其首級を斬りたり爰にペリシテの人々其勇士の死るを見てにげしかば
52 Abasajja ba Isirayiri ne Yuda ne bagolokoka n’okuleekaana okungi ne bagoberera Abafirisuuti okutuuka e Gaasi ne ku miryango gya Ekuloni; abaafa n’abaatuusibwako ebiwundu ne baba bangi mu kkubo okuva e Saalayimu okutuuka e Gaasi n’e Ekuloni.
イスラエルとユダの人おこり喊呼をあげてペリシテ人をおひガテの入口およびエクロンの門にいたるペリシテ人の負傷人シヤライムの路に仆れてガテおよびエクロンにおよぶ
53 Awo Abayisirayiri bwe baakomawo okuva mu kugoberera Abafirisuuti, ne banyaga olusiisira lw’Abafirisuuti.
イスラエルの子孫ペリシテ人をおふてかへり其陣を掠む
54 Dawudi n’asitula omutwe gw’Omufirisuuti n’aguleeta e Yerusaalemi, naye ebyokulwanyisa by’Omufirisuuti n’abiteeka mu weema ye.
ダビデかのペリシテ人の首を取りて之をエルサレムにたづさへきたりしが其甲冑はおのれの天幕におけり
55 Sawulo bwe yalengera Dawudi ng’agenda okulwana n’Omufirisuuti, n’abuuza Abuneeri omuduumizi w’eggye nti, “Abuneeri, oyo omuvubuka mutabani w’ani?” Abuneeri n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu, ayi kabaka, simanyi.”
サウル、ダビデがペリシテ人にむかひて出るを見て軍長アブネルにいひけるはアブネル此少者はたれの子なるやアブネルいひけるは王汝の霊魂は生くわれしらざるなり
56 Kabaka n’ayogera nti, “Genda onoonyereze bazadde b’omuvubuka oyo.”
王いひけるはこの少年はたれの子なるかを尋ねよ
57 Amangu ddala nga Dawudi akomyewo ng’asse Omufirisuuti, Abuneeri n’amutwala mu maaso ga Sawulo, nga Dawudi asitudde omutwe gw’Omufirisuuti mu mukono gwe.
ダビデかのペリシテ人を殺してかへれる時アブネルこれをひきて其ペリシテ人の首級を手にもてるままサウルのまへにつれゆきければ
58 Sawulo n’amubuuza nti, “Muvubuka, oli mwana w’ani?” Dawudi n’amuddamu nti, “Ndi mutabani wa muddu wo Yese Omubesirekemu.”
サウルかれにいひけるは若き人よ汝はたれの子なるやダビデこたへけるは汝の僕ベテレヘム人ヱサイの子なり

< 1 Samwiri 17 >