< 1 Samwiri 10 >

1 Awo Samwiri n’addira eccupa ey’amafuta n’agifuka ku mutwe gwa Sawulo, n’amunywegera ng’agamba nti, “Mukama akufuseeko amafuta okufuga abantu be, Isirayiri.
ויקח שמואל את פך השמן ויצק על ראשו וישקהו ויאמר הלוא כי משחך יהוה על נחלתו לנגיד׃
2 Bw’onoova wano leero, onoosisinkana abasajja babiri okumpi n’amalaalo ga Laakeeri, e Zereza ku nsalo ya Benyamini, banaakugamba nti, ‘Endogoyi ze wagenda okunoonya zaalabise. Kitaawo kaakano takyalowooza ku ndogoyi, naye, yeeraliikirira ggwe, nga yeebuuza nti, “Ebya mutabani wange mbikole ntya?”’
בלכתך היום מעמדי ומצאת שני אנשים עם קברת רחל בגבול בנימן בצלצח ואמרו אליך נמצאו האתנות אשר הלכת לבקש והנה נטש אביך את דברי האתנות ודאג לכם לאמר מה אעשה לבני׃
3 “Bw’onoova awo, ne weeyongerayo okutuuka ku mwera gwa Taboli, onoosisinkana abasajja basatu abanaaba bagenda okusisinkana Katonda e Beseri, omu nga yeetisse obubuzi busatu, omulala nga yeetisse emigaati esatu, n’omulala ng’asitudde eccupa y’envinnyo.
וחלפת משם והלאה ובאת עד אלון תבור ומצאוך שם שלשה אנשים עלים אל האלהים בית אל אחד נשא שלשה גדיים ואחד נשא שלשת ככרות לחם ואחד נשא נבל יין׃
4 Banaakulamusa ne bakuwa emigaati ebiri, era gikkirize.
ושאלו לך לשלום ונתנו לך שתי לחם ולקחת מידם׃
5 “Bw’onoova eyo ogenda ku Lusozi lwa Katonda oluliko ekigo eky’Abafirisuuti. Bw’onooba onootera okutuuka ku kibuga, onoosisinkana ekibiina kya bannabbi nga baserengeta okuva mu kifo ekigulumivu nga bakulembeddwamu abakuba entongooli, n’ebitaasa, n’endere, n’ennanga, era nga bawa obunnabbi.
אחר כן תבוא גבעת האלהים אשר שם נצבי פלשתים ויהי כבאך שם העיר ופגעת חבל נביאים ירדים מהבמה ולפניהם נבל ותף וחליל וכנור והמה מתנבאים׃
6 Omwoyo wa Mukama anakukkako mu maanyi, n’owa obunnabbi wamu nabo, era onookyusibwa n’ofuuka omuntu omuggya.
וצלחה עליך רוח יהוה והתנבית עמם ונהפכת לאיש אחר׃
7 Obubonero obwo bwe bunaatuukirira, kola kyonna ky’onoolaba nga kituufu, kubanga Katonda ali wamu naawe.
והיה כי תבאינה האתות האלה לך עשה לך אשר תמצא ידך כי האלהים עמך׃
8 “Serengeta onsookeyo e Girugaali. Nnaakugoberera ne nzija gy’oli okuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, naye oteekwa okunnindako okumala ennaku musanvu okutuusa lwe ndijja gy’oli ne nkutegeeza eky’okukola.”
וירדת לפני הגלגל והנה אנכי ירד אליך להעלות עלות לזבח זבחי שלמים שבעת ימים תוחל עד בואי אליך והודעתי לך את אשר תעשה׃
9 Awo Sawulo bwe yava eri Samwiri, Katonda n’amuwa omutima omuggya, n’obubonero obwo bwonna ne butuukirira ku lunaku olwo.
והיה כהפנתו שכמו ללכת מעם שמואל ויהפך לו אלהים לב אחר ויבאו כל האתות האלה ביום ההוא׃
10 Bwe baatuuka ku lusozi ekibiina kya bannabbi ne kimusisinkana, Omwoyo wa Katonda n’amukkako mu maanyi era n’atandika okuwa obunnabbi wamu nabo.
ויבאו שם הגבעתה והנה חבל נבאים לקראתו ותצלח עליו רוח אלהים ויתנבא בתוכם׃
11 Abaali baamumanya okuva edda n’edda bwe baamulaba ng’awa obunnabbi wamu ne bannabbi, ne bagambagana nti, “Kiki kino ekituuse ku mutabani wa Kiisi? Sawulo naye ali omu ku bannabbi?”
ויהי כל יודעו מאתמול שלשום ויראו והנה עם נבאים נבא ויאמר העם איש אל רעהו מה זה היה לבן קיש הגם שאול בנביאים׃
12 Omu ku batuuze b’ekitundu ekyo n’abuuza nti, “Ye kitaabwe y’ani?” Kyerwava lufuuka olugero nti, “Ne Sawulo ali omu ku bannabbi?”
ויען איש משם ויאמר ומי אביהם על כן היתה למשל הגם שאול בנבאים׃
13 Awo Sawulo bwe yamala okuwa obunnabbi, n’ayambuka mu kifo ekigulumivu.
ויכל מהתנבות ויבא הבמה׃
14 Awo kojja wa Sawulo n’ababuuza ye n’omuweereza nti, “Mubadde wa?” N’addamu nti, “Tubadde tunoonya endogoyi, naye bwe tutaazirabye, ne tugenda eri Samwiri.”
ויאמר דוד שאול אליו ואל נערו אן הלכתם ויאמר לבקש את האתנות ונראה כי אין ונבוא אל שמואל׃
15 Kojja wa Sawulo n’amugamba nti, “Mbuulira Samwiri kye yakugambye.”
ויאמר דוד שאול הגידה נא לי מה אמר לכם שמואל׃
16 Sawulo n’addamu nti, “Yatutegeeza nti endogoyi zaali zirabise.” Naye n’atamubuulira Samwiri bye yamugamba ku by’obwakabaka.
ויאמר שאול אל דודו הגד הגיד לנו כי נמצאו האתנות ואת דבר המלוכה לא הגיד לו אשר אמר שמואל׃
17 Samwiri n’ayita abantu ba Isirayiri bakuŋŋaanire eri Mukama e Mizupa.
ויצעק שמואל את העם אל יהוה המצפה׃
18 N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Naggya Isirayiri mu Misiri, ne mbalokola okuva mu mukono gw’Abamisiri, ne mu mukono gw’obwakabaka bwonna obwabajooganga.
ויאמר אל בני ישראל כה אמר יהוה אלהי ישראל אנכי העליתי את ישראל ממצרים ואציל אתכם מיד מצרים ומיד כל הממלכות הלחצים אתכם׃
19 Naye kaakano mujeemedde Katonda wammwe eyabalokola okuva mu buyinike bwammwe n’ennaku yammwe, ne mwogera nti, Nedda, tuteerewo kabaka atufuge.’ Kale mweyanjule mu maaso ga Mukama mu bika byammwe ne nnyiriri zammwe nga bwe biri.”
ואתם היום מאסתם את אלהיכם אשר הוא מושיע לכם מכל רעותיכם וצרתיכם ותאמרו לו כי מלך תשים עלינו ועתה התיצבו לפני יהוה לשבטיכם ולאלפיכם׃
20 Awo Samwiri bwe yasembeza ebika byonna ebya Isirayiri okumpi ne we yali, ekika kya Benyamini ne kirondebwa na kalulu.
ויקרב שמואל את כל שבטי ישראל וילכד שבט בנימן׃
21 N’asembeza ekika kya Benyamini, lunyiriri ku lunyiriri, era olunyiriri lwa Materi ne lulondebwa. N’oluvannyuma Sawulo mutabani wa Kiisi n’alondebwa, naye bwe baamunoonya, nga talabika.
ויקרב את שבט בנימן למשפחתו ותלכד משפחת המטרי וילכד שאול בן קיש ויבקשהו ולא נמצא׃
22 Ne beeyongera okwebuuza ku Mukama nti, “Omusajja w’ali wano, atuuse?” Awo Mukama n’abaddamu nti, “Ye, yeekwese mu bitereke.”
וישאלו עוד ביהוה הבא עוד הלם איש ויאמר יהוה הנה הוא נחבא אל הכלים׃
23 Ne badduka ne bagenda ne bamuleeta. Bwe yayimirira mu bantu, n’aba ng’asinga abantu bonna obuwanvu.
וירצו ויקחהו משם ויתיצב בתוך העם ויגבה מכל העם משכמו ומעלה׃
24 Samwiri n’agamba abantu bonna nti, “Mulaba omusajja Mukama gw’alonze? Tewali amwenkana mu bantu bonna.” Abantu ne baddamu n’eddoboozi eddene nti, “Wangaala Kabaka.”
ויאמר שמואל אל כל העם הראיתם אשר בחר בו יהוה כי אין כמהו בכל העם וירעו כל העם ויאמרו יחי המלך׃
25 Samwiri n’annyonnyola abantu ebiragiro n’obulombolombo eby’obwakabaka, n’abiwandiika mu kitabo n’akiteeka mu maaso ga Mukama. Awo Samwiri n’asiibula abantu bonna, buli omu n’addayo ewuwe.
וידבר שמואל אל העם את משפט המלכה ויכתב בספר וינח לפני יהוה וישלח שמואל את כל העם איש לביתו׃
26 Sawulo naye n’addayo ewaabwe mu Gibea, ng’awerekerwako abasajja abazira Katonda be yali akomyeko ku mitima.
וגם שאול הלך לביתו גבעתה וילכו עמו החיל אשר נגע אלהים בלבם׃
27 Naye abamu ku basajja ab’effujjo ne boogera nti, “Omusajja ono ayinza atya okutulokola?” Ne bamunyooma, era ne batamuwa na birabo. Naye Sawulo n’akisirikira n’atabanyega.
ובני בליעל אמרו מה ישענו זה ויבזהו ולא הביאו לו מנחה ויהי כמחריש׃

< 1 Samwiri 10 >