< 1 Bassekabaka 21 >
1 Awo ebyo bwe byaggwa, ne wabaawo ensonga ekwata ku nnimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu, eyali eriraanye olubiri lwa Akabu kabaka wa Samaliya.
Después de estas cosas, aconteció que Nabot jezreelita tenía un viñedo en Jezreel, junto al palacio de Acab, rey de Samaria.
2 Awo Akabu n’agamba Nabosi nti, “Mpa ennimiro yo ey’emizabbibu nnimiremu enva, nga bw’eriraanye olubiri lwange. Mu kifo kyayo nzija kukuwaamu ennimiro ey’emizabbibu endala, oba bw’onoosiima, nnaakusasulamu omuwendo ogugigyamu.”
Y Acab habló a Nabot: Dame tu viñedo para que me sirva como huerto, porque está junto a mi casa. Te daré un viñedo mejor que éste por él, o si te parece mejor, te lo compraré.
3 Nabosi n’amuddamu nti, “Kikafuuwe, nze okukuwa obusika bwa bajjajjange.”
Pero Nabot dijo a Acab: ¡Guárdeme Yavé de darte la herencia de mis antepasados!
4 Awo Akabu n’addayo eka ng’annyogoze nnyo era nga munyiivu kubanga Nabosi Omuyezuleeri yamugamba nti, “Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange.” N’agalamira ku kitanda kye nga yeesooza, n’agaana n’okulya.
Acab fue a su casa decaído y enfadado a causa de las palabras que Nabot jezreelita le habló, pues él le dijo: ¡No te daré la herencia de mis antepasados! Y se acostó en su cama, volvió su rostro y no quiso comer pan.
5 Naye Yezeberi mukazi we n’ayingira, n’amubuuza nti, “Lwaki onnyogoze nnyo bw’otyo n’okulya n’otalya?”
Su esposa Jezabel fue a él y le preguntó: ¿Por qué está tan decaído tu espíritu y no comes pan?
6 N’amuddamu nti, “Kubanga ŋŋambye Nabosi Omuyezuleeri antunze ennimiro ye ey’emizabbibu, oba bw’anaasiima muwaanyiseemu ennimiro endala. Naye agambye nti, ‘Sijja kukuwa nnimiro yange ey’emizabbibu.’”
Y él le respondió: Porque hablé con Nabot jezreelita, y le dije: Véndeme tu viñedo, o si te parece mejor, te daré otro viñedo por él. Y me contestó: No te venderé mi viñedo.
7 Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.”
Y su esposa Jezabel le preguntó: ¿Eres tú ahora rey de Israel? ¡Levántate, come pan y alégrese tu corazón! ¡Yo te daré el viñedo de Nabot jezreelita!
8 Awo Yezeberi n’awandiika amabaluwa mu linnya lya Akabu, n’agassaako akabonero ke, era n’agaweereza eri abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga kya Nabosi.
Entonces ella escribió cartas en nombre de Acab, las selló con el anillo de él y las envió a los ancianos y nobles que vivían con Nabot en su ciudad.
9 Mu bbaluwa ezo n’awandiika nti, “Mulangirire okusiiba, mutuuze Nabosi mu kifo abantu bonna we bamulengerera,
Y en las cartas dijo: Proclamen ayuno y busquen que Nabot se siente frente al pueblo,
10 era mutuuze abasajja babiri okumwolekera bamuwaayirize nti akolimidde Katonda ne kabaka. Oluvannyuma mumutwale ebweru mumukube amayinja, mumutte.”
que dos hombres perversos se sienten frente a él y testifiquen contra él: ¡Maldijiste a ʼElohim y al rey! Sáquenlo y apedréenlo hasta que muera.
11 Awo abakadde n’abakungu abaabeeranga mu kibuga ekyo ne bakola nga Yezeberi bwe yalagira mu mabaluwa ge yabawandiikira.
Los hombres de la ciudad, es decir, los ancianos y los nobles que vivían en su ciudad, hicieron tal como Jezabel les ordenó, conforme a lo escrito en las cartas que ella les envió.
12 Ne balangirira okusiiba era ne batuuza Nabosi mu kifo w’alabikira obulungi mu bantu.
Proclamaron un ayuno y sentaron a Nabot frente al pueblo.
13 Abasajja babiri ne bajja ne batuula okumwolekera ne bamuwaayiriza mu maaso g’abantu nga bagamba nti, “Nabosi yakolimidde Katonda ne kabaka.” Awo abantu ne bamutwala ebweru w’ekibuga ne bamukuba amayinja ne bamutta.
Los dos hombres perversos entraron, se sentaron frente a él y dieron testimonio contra Nabot delante del pueblo: ¡Nabot maldijo a ʼElohim y al rey! Y ellos lo llevaron fuera de la ciudad y lo lapidaron hasta que murió.
14 Ne batumira Yezeberi nti, “Nabosi akubiddwa amayinja era afudde.”
Luego enviaron a decir a Jezabel: Nabot fue apedreado y murió.
15 Amangwago Yezeberi bwe yawulira nti Nabosi yakubibwa amayinja era n’afa, n’agamba Akabu nti, “Golokoka otwale ennimiro ey’emizabbibu eya Nabosi Omuyezuleeri gye yagaana okukuguza, kubanga takyali mulamu, mufu.”
Sucedió que cuando Jezabel oyó que Nabot fue apedreado y murió, ella dijo a Acab: Levántate y toma posesión del viñedo de Nabot jezreelita, quien se negó a vendértelo, porque Nabot ya no vive, pues murió.
16 Akabu bwe yawulira nti Nabosi afudde n’agolokoka n’aserengeta okutwala ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.
Sucedió que cuando Acab oyó que Nabot murió, se levantó para bajar al viñedo de Nabot jezreelita y tomar posesión de él.
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti,
Y la Palabra de Yavé llegó a Elías tisbita:
18 “Serengeta eri Akabu kabaka wa Isirayiri afugira mu Samaliya, kubanga laba ali mu nnimiro ey’emizabbibu eya Nabosi era agenze okugitwala.
Levántate, baja a encontrarte con Acab, rey de Israel, que está en Samaria. Mira, está en el viñedo de Nabot, a donde bajó para tomar posesión de él.
19 Mugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Tosse omusajja n’okutwala n’otwala obugagga bwe?’ Olyoke omugambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Mu kifo embwa wezikombedde omusaayi gwa Nabosi, embwa mwezirikombera ogugwo.’”
Y le dirás: Yavé dice: ¿Asesinaste y también tomas posesión? Y le dirás: Yavé dice: En el mismo sitio donde los perros lamieron la sangre de Nabot, los perros también lamerán tu sangre.
20 Akabu n’agamba Eriya nti, “Onsanze, ggwe omulabe wange!” N’amuddamu nti, “Nkusanze, kubanga weewaddeyo okukola ebibi mu maaso ga Mukama.
Acab preguntó a Elías: ¿Me hallaste, enemigo mío? Y él respondió: Te hallé, porque te vendiste para hacer el mal ante Yavé.
21 Mukama agamba nti, ‘Laba ndikuleetako akabi, ndimalawo ennyumba yo yonna, era ndiggya ku Akabu buli musajja yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu.
Ciertamente, Yo traigo el mal sobre ti. Te barreré por completo y destruiré a todo varón de Acab en Israel, tanto al esclavo como al libre.
22 Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’
Será tu casa como la casa de Jeroboam, hijo de Nabat, y como la casa de Baasa, hijo de Ahías, por la rebelión con que me provocaste a ira y estimulaste a pecar a Israel.
23 “Ate era n’eri Yezeberi Mukama bw’ati bw’agamba nti, ‘Embwa ziririira Yezeberi okuliraana bbugwe w’e Yezuleeri.
Yavé también habló de Jezabel: ¡Los perros comerán a Jezabel en el muro de Jezreel!
24 Embwa ziririira omuntu yenna owa Akabu alifiira mu kibuga, ate ennyonyi zirye abo bonna abalifiira ku ttale.’”
Al que muera de [la casa de] Acab en la ciudad, lo comerán los perros, y al que muera en el campo, lo comerán las aves del cielo.
25 Tewali musajja eyafaanana nga Akabu, eyeewaayo okukola ebibi mu maaso ga Mukama ng’awalirizibwa mukazi we Yezeberi.
Ciertamente no hubo ninguno como Acab que se vendió para hacer el mal ante Yavé, incitado por su esposa Jezabel.
26 Yakola eby’ekivve ng’agoberera ebifaananyi bya bakatonda, ng’Abamoli be yagoba mu maaso g’abantu ba Isirayiri bwe baakolanga.
Procedió de manera repugnante a seguir tras los ídolos, conforme a todo lo que hacían los amorreos, a los cuales Yavé desposeyó delante de los hijos de Israel.
27 Awo Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ayuza engoye ze, n’ayambala ebibukutu n’okusiiba n’asiiba. N’agalamira mu bibukutu, era n’atambula nga yeewombeese.
Sucedió que cuando Acab oyó estas palabras, rasgó sus ropas, puso ropa áspera sobre su cuerpo, ayunó, se acostó con la ropa áspera y anduvo afligido.
28 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nti,
Y la Palabra de Yavé llegó a Elías tisbita:
29 “Olabye Akabu bwe yeewombeese mu maaso gange? Olw’okubanga yeewombeese mu maaso gange, sirireeta kabi ako mu mirembe gye, naye ndikaleeta mu nnyumba ye mu mirembe gya mutabani we.”
¿Viste cómo Acab se humilló delante de Mí? Por cuanto se humilló, no traeré el mal en sus días. El mal sobre su casa lo traeré en los días de su hijo.