< 1 Bassekabaka 20 >

1 Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo.
Ben Hadad the king of Aram gathered all his army together; and there were thirty-two kings with him, and horses and chariots: and he went up and besieged Samaria, and fought against it.
2 N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti,
He sent messengers to Ahab king of Israel, into the city, and said to him, "Thus says Ben Hadad,
3 ‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi n’abaana bo nabo bange.’”
'Your silver and your gold is mine. Your wives also and your children, even the best, are mine.'"
4 Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.”
The king of Israel answered, "It is according to your saying, my lord, O king. I am yours, and all that I have."
5 Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo.
The messengers came again, and said, "Ben Hadad says, 'I sent indeed to you, saying, "You shall deliver me your silver, and your gold, and your wives, and your children;
6 Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’”
but I will send my servants to you tomorrow about this time, and they shall search your house, and the houses of your servants; and it shall be, that whatever is pleasant in their eyes, they shall put it in their hand, and take it away."'"
7 Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”
Then the king of Israel called all the elders of the land, and said, "Please notice how this man seeks mischief; for he sent to me for my wives, and for my children, and for my silver, and for my gold; and I did not deny him."
8 Abakadde n’abantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.”
All the elders and all the people said to him, "Do not listen, neither consent."
9 Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’”
Therefore he said to the messengers of Ben Hadad, "Tell my lord the king, 'All that you sent for to your servant at the first I will do; but this thing I cannot do.'" The messengers departed, and brought him back the message.
10 Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.”
Ben Hadad sent to him, and said, "The gods do so to me, and more also, if the dust of Samaria shall suffice for handfuls for all the people who follow me."
11 Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’”
The king of Israel answered, "Tell him, 'Do not let him who puts on his armor brag like he who takes it off.'"
12 Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.
It happened, when Ben Hadad heard this message, as he was drinking, he and the kings, in the pavilions, that he said to his servants, "Prepare to attack." They prepared to attack the city.
13 Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’”
Look, a prophet came near to Ahab king of Israel, and said, "Thus says the LORD, 'Have you seen all this great multitude? Look, I will deliver it into your hand this day; and you shall know that I am the LORD.'"
14 Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’” Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?” Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.”
Ahab said, "By whom?" He said, "Thus says the LORD, 'By the young men of the governors of the districts.'" Then he said, "Who shall begin the battle?" He answered, "You."
15 Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri. Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu.
Then he mustered the young men of the governors of the districts, and they were two hundred and thirty-two. After them, he mustered all the people, even all the children of Israel, being seven thousand.
16 Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira.
They went out at noon. But Ben Hadad was drinking himself drunk in the pavilions, he and the kings, the thirty-two kings who helped him.
17 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba. Naye Benikadadi yali atumye ababaka okuketta, ne bamutegeeza nti, “Waliwo abasajja abajja nga bava Samaliya.”
the young men of the governors of the districts went out first; and Ben Hadad sent out, and they told him, saying, "Men are coming out from Samaria."
18 N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.”
He said, "If they have come out for peace, take them alive; or if they have come out for war, take them alive."
19 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga n’eggye libagoberera.
So these went out of the city, the young men of the governors of the districts, and the army which followed them.
20 Buli omu ku bo n’atta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga n’Abayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’awonera ku mbalaasi n’abamu ku basajjabe abeebagala embalaasi.
They each killed his man. The Arameans fled, and Israel pursued them. Ben Hadad the king of Aram escaped on a horse with horsemen.
21 Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.
The king of Israel went out, and struck the horses and chariots, and killed the Arameans with a great slaughter.
22 Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.”
The prophet came near to the king of Israel, and said to him, "Go, strengthen yourself, and mark, and see what you do; for at the return of the year the king of Aram will come up against you."
23 Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi.
The servants of the king of Aram said to him, "Their god is a god of the hills; therefore they were stronger than we. But let us fight against them in the plain, and surely we shall be stronger than they.
24 Kola bw’oti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe eby’okuduumira, osseewo abaduumizi abalala.
Do this thing: take the kings away, every man out of his place, and put captains in their place.
25 Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo.
Muster an army, like the army that you have lost, horse for horse, and chariot for chariot. We will fight against them in the plain, and surely we will be stronger than them." He listened to their voice, and did so.
26 Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri.
It happened at the return of the year, that Ben Hadad mustered the Arameans, and went up to Aphek, to fight against Israel.
27 Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna.
The children of Israel were mustered, and were provisioned, and went against them. The children of Israel camped before them like two little flocks of young goats; but the Arameans filled the country.
28 Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’”
A man of God came near and spoke to the king of Israel, and said, "Thus says the LORD, 'Because the Arameans have said, "The LORD is a god of the hills, but he is not a god of the valleys"; therefore I will deliver all this great multitude into your hand, and you shall know that I am the LORD.'"
29 Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu.
They camped one over against the other seven days. So it was, that in the seventh day the battle was joined; and the children of Israel killed one hundred thousand footmen of the Arameans in one day.
30 Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo. Benikadadi naye nadduka ne yeekweka mu kibuga mu kimu ku bisenge eby’omunda.
But the rest fled to Aphek, into the city; and the wall fell on twenty-seven thousand men who were left. Ben Hadad fled, and came into the city, into an inner room.
31 Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.”
His servants said to him, "See now, we have heard that the kings of the house of Israel are merciful kings. Please let us put sackcloth on our bodies, and ropes on our heads, and go out to the king of Israel. Maybe he will save your life."
32 Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’” Kabaka n’ababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”
So they put sackcloth on their bodies and ropes on their heads, and came to the king of Israel, and said, "Your servant Ben Hadad says, 'Please let me live.'" He said, "Is he still alive? He is my brother."
33 Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye.
Now the men were looking for an omen, and they seized upon it from him, and they said, "Ben Hadad is your brother." Then he said, "Go, bring him." Then Ben Hadad came out to him, and he had him come up into the chariot.
34 Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda.
Ben Hadad said to him, "The cities which my father took from your father I will restore. You shall make streets for yourself in Damascus, as my father made in Samaria." "I," said Ahab, "will let you go with this covenant." So he made a covenant with him, and let him go.
35 Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.
A certain man of the sons of the prophets said to his fellow by the word of the LORD, "Please strike me." The man refused to strike him.
36 Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.
Then he said to him, "Because you have not obeyed the voice of the LORD, look, as soon as you are departed from me, a lion shall kill you." As soon as he was departed from him, a lion found him, and killed him.
37 Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu.
Then he found another man, and said, "Please strike me." The man struck him, smiting and wounding him.
38 Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge.
So the prophet departed, and waited for the king by the way, and disguised himself with his headband over his eyes.
39 Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’
As the king passed by, he cried to the king; and he said, "Your servant went out into the midst of the battle; and look, a man turned aside, and brought a man to me, and said, 'Guard this man. If by any means he be missing, then your life shall be for his life, or else you shall pay a talent of silver.'
40 Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.” Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.”
As your servant was busy here and there, he was gone." The king of Israel said to him, "So your judgment shall be; you yourself have decided it."
41 Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi.
He hurried, and took the headband away from his eyes; and the king of Israel recognized that he was of the prophets.
42 N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’”
He said to him, "Thus says the LORD, 'Because you have let go out of your hand the man whom I had devoted to destruction, therefore your life shall go for his life, and your people for his people.'"
43 Kabaka wa Isirayiri n’alaga mu lubiri lwe e Samaliya ng’aswakidde era nga munyiivu.
The king of Israel went to his house sullen and angry, and came to Samaria.

< 1 Bassekabaka 20 >