< 1 Bassekabaka 2 >
1 Dawudi bwe yali anaatera okufa, n’abuulirira mutabani we Sulemaani ng’amukuutira nti,
Le temps de la mort de David approchant, il donna ses commandements à son fils Salomon, et lui dit:
2 “Nze ŋŋenda bonna ab’omu nsi gye bagenda, kale beera n’amaanyi era n’obuvumu,
Je m'en vais par le chemin de toute la terre; fortifie-toi et sois un homme.
3 era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna.
Et garde ce que l'Éternel ton Dieu veut que tu gardes, en marchant dans ses voies, et en gardant ses statuts, ses commandements, ses ordonnances et ses témoignages, selon ce qui est écrit dans la loi de Moïse; afin que tu réussisses dans tout ce que tu feras et dans tout ce que tu entreprendras;
4 Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’
Et que l'Éternel accomplisse la parole qu'il a prononcée à mon égard, en disant: Si tes fils prennent garde à leur voie, pour marcher devant moi dans la vérité, de tout leur cœur et de toute leur âme, alors ta descendance ne sera jamais retranchée du trône d'Israël.
5 “Ate ojjukiranga Yowaabu mutabani wa Zeruyiya kye yankola, bwe yatta abakulu ababiri ab’eggye lya Isirayiri, Abuneeri mutabani wa Neeri ne Amasa mutabani wa Yeseri n’ayiwa omusaayi gwabwe mu biseera eby’emirembe ng’eyali mu lutalo, era omusaayi gwabwe ne gumansukira olukoba lwe olwali mu kiwato n’engatto ze ezaali mu bigere bye.
Au reste, tu sais ce que m'a fait Joab, fils de Tséruja, ce qu'il a fait à deux chefs des armées d'Israël, à Abner, fils de Ner, et à Amasa, fils de Jéther, qu'il a tués, versant dans la paix le sang de la guerre, et ensanglantant du sang de la guerre la ceinture qu'il avait aux reins et les souliers qu'il avait aux pieds.
6 Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe. (Sheol )
Tu agiras selon ta sagesse, et ne laisseras point descendre en paix ses cheveux blancs au Sépulcre. (Sheol )
7 “Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.
Quant aux fils de Barzillaï, le Galaadite, tu useras de bonté à leur égard, et ils seront de ceux qui mangent à ta table; car c'est ainsi qu'ils sont venus vers moi, lorsque je fuyais devant Absalom, ton frère.
8 “Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira Mukama nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’
Et voici, tu as avec toi Shimeï, fils de Guéra, le Benjamite, de Bachurim, qui prononça contre moi des malédictions atroces, le jour que je m'en allais à Mahanaïm; mais il descendit au-devant de moi vers le Jourdain, et je lui jurai par l'Éternel et lui dis: Je ne te ferai pas mourir par l'épée.
9 Kaakano tomubala ng’ataliiko musango. Oli musajja w’amagezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.” (Sheol )
Maintenant donc, tu ne le laisseras point impuni; car tu es sage pour savoir ce que tu lui devras faire; mais tu feras descendre ensanglantés ses cheveux blancs au Sépulcre. (Sheol )
10 Awo Dawudi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi.
Ainsi David s'endormit avec ses pères, et il fut enseveli dans la cité de David.
11 Yafugira Isirayiri yonna emyaka amakumi ana, ng’afugira emyaka musanvu e Kebbulooni, n’emyaka amakumi asatu mu esatu e Yerusaalemi.
Et le temps que David régna sur Israël fut de quarante ans. Il régna sept ans à Hébron, et trente-trois ans à Jérusalem.
12 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Dawudi kitaawe, obwakabaka bwe ne bunywezebwa nnyo.
Et Salomon s'assit sur le trône de David, son père, et son règne fut très affermi.
13 Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.”
Alors Adonija, fils de Hagguith, vint chez Bath-Shéba, mère de Salomon. Et elle dit: Viens-tu pour la paix? Et il répondit: Pour la paix.
14 N’ayogera nate nti, “Nnina kye njagala okukubuulira.” Basuseba n’amuddamu nti, “Kimbuulire.”
Puis il dit: J'ai un mot à te dire. Elle répondit: Parle!
15 Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa Mukama.
Et il dit: Tu sais bien que le royaume m'appartenait, et que tout Israël s'attendait à ce que je régnasse; mais la royauté a été transférée, et elle est échue à mon frère, parce que l'Éternel la lui a donnée.
16 Kaakano nkusaba ekigambo kimu, era tokinnyima.” Basuseba n’amugamba nti, “Kyogere.”
Maintenant donc j'ai une demande à te faire; ne me la refuse pas. Et elle lui dit: Parle!
17 Adoniya n’ayogera nti, “Nkwegayiridde gamba Sulemaani kabaka ampe Abisaagi Omusunammu okuba mukyala wange, kubanga kabaka anaakuwuliriza.”
Et il dit: Je te prie, dis au roi Salomon (car il ne te refusera pas), qu'il me donne pour femme Abishag, la Sunamite.
18 Basuseba n’addamu nti, “Kale, nnaakwogererayo eri Kabaka.”
Bath-Shéba répondit: Bien; je parlerai pour toi au roi.
19 Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko, n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.
Et Bath-Shéba alla vers le roi Salomon, afin de lui parler pour Adonija. Et le roi, se levant, vint au-devant d'elle et se prosterna devant elle; puis il s'assit sur son trône, et fit mettre un siège pour la mère du roi; et elle s'assit à sa droite.
20 Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.” Kabaka n’amuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.”
Et elle dit: J'ai une petite demande à te faire; ne me la refuse pas. Et le roi lui répondit: Fais-la, ma mère; car je ne te la refuserai pas.
21 N’ayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.”
Et elle dit: Qu'on donne Abishag, la Sunamite, pour femme à Adonija, ton frère.
22 Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”
Mais le roi Salomon répondit et dit à sa mère: Et pourquoi demandes-tu Abishag, la Sunamite, pour Adonija? Demande donc le royaume pour lui, car il est mon frère aîné; pour lui, et pour Abiathar, le sacrificateur, et pour Joab, fils de Tséruja!
23 Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye!
Alors le roi Salomon jura par l'Éternel, en disant: Que Dieu me traite dans toute sa rigueur, si Adonija n'a dit cette parole contre sa propre vie!
24 Kale nga Mukama bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!”
Et maintenant, l'Éternel est vivant, qui m'a établi et fait asseoir sur le trône de David, mon père, et qui a établi ma maison comme il l'avait dit! Certainement Adonija sera mis à mort aujourd'hui.
25 Awo Kabaka Sulemaani n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada okutta Adoniya, era Adoniya n’attibwa.
Et le roi Salomon donna commission à Bénaja, fils de Jéhojada, qui se jeta sur lui; et il mourut.
26 Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.”
Puis le roi dit à Abiathar, le sacrificateur: Va-t'en à Anathoth, dans ta possession; car tu mérites la mort; toutefois je ne te ferai pas mourir aujourd'hui; car tu as porté l'arche du Seigneur l'Éternel devant David, mon père, et tu as eu part à toutes les afflictions de mon père.
27 Awo Sulemaani n’agoba Abiyasaali ku bwakabona bwa Mukama, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri.
Ainsi Salomon chassa Abiathar, afin qu'il ne fût plus sacrificateur de l'Éternel; et cela, pour accomplir la parole de l'Éternel, qu'il avait prononcée à Silo contre la maison d'Héli.
28 Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya Mukama, n’akwata ku mayembe g’ekyoto.
Cette nouvelle étant parvenue à Joab (qui s'était révolté pour suivre Adonija, bien qu'il ne se fût point révolté pour suivre Absalom), il s'enfuit au tabernacle de l'Éternel, et il saisit les cornes de l'autel.
29 Bwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya Mukama, era nti ali ku kyoto, n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.”
Et on vint dire au roi Salomon: Joab s'est enfui au tabernacle de l'Éternel, et le voilà près de l'autel. Alors Salomon envoya Bénaja, fils de Jéhojada, et lui dit: Va, jette-toi sur lui.
30 Benaya n’agenda mu weema ya Mukama, n’agamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye n’addamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya n’azzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu.
Bénaja vint donc au tabernacle de l'Éternel, et il lui dit: Ainsi a dit le roi: Sors de là! Et il dit: Non; mais je mourrai ici. Et Bénaja fit rapport au roi, et dit: Joab m'a parlé ainsi, et il m'a ainsi répondu.
31 Awo kabaka n’alagira Benaya nti, “Kola nga bw’ayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olw’omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga.
Et le roi lui dit: Fais comme il a dit. Jette-toi sur lui, et l'ensevelis; et tu ôteras de dessus moi et de dessus la maison de mon père le sang que Joab a répandu sans cause.
32 Era Mukama alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi.
Et l'Éternel fera retomber son sang sur sa tête; car il s'est jeté sur deux hommes plus justes et meilleurs que lui, et il les a tués avec l'épée, sans que David, mon père, en sût rien: Abner, fils de Ner, chef de l'armée d'Israël, et Amasa, fils de Jéther, chef de l'armée de Juda.
33 Bwe gutyo omusango gw’omusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye ey’obwakabaka, wabeerewo emirembe gya Mukama emirembe gyonna.”
Et leur sang retombera sur la tête de Joab, et sur la tête de sa postérité à toujours; mais il y aura paix de la part de l'Éternel, à toujours, pour David, pour sa postérité, pour sa maison et pour son trône.
34 Awo Benaya mutabani wa Yekoyaada n’ayambuka n’atta Yowaabu, n’aziikibwa mu ttaka lye mu ddungu.
Bénaja, fils de Jéhojada, monta donc, et se jeta sur lui, et le tua; et on l'ensevelit dans sa maison, au désert.
35 Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.
Alors le roi établit Bénaja, fils de Jéhojada, sur l'armée, à la place de Joab; et le sacrificateur Tsadok fut mis par le roi à la place d'Abiathar.
36 Kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna.
Puis le roi envoya appeler Shimeï et lui dit: Bâtis-toi une maison à Jérusalem, et demeures-y, et n'en sors point pour aller de côté ou d'autre.
37 Olunaku lw’olivaayo n’osomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.”
Car sache bien qu'au jour où tu en sortiras et passeras le torrent de Cédron, tu mourras sans rémission: ton sang sera sur ta tête.
38 Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi.
Et Shimeï répondit au roi: Cette parole est bonne; ton serviteur fera tout ce qu'a dit le roi, mon seigneur. Ainsi Shimeï demeura un certain temps à Jérusalem.
39 Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w’e Gaasi. Simeeyi n’ategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.”
Mais il arriva qu'au bout de trois ans, deux serviteurs de Shimeï s'enfuirent vers Akish, fils de Maaca, roi de Gath; et on le rapporta à Shimeï, en disant: Voici, tes serviteurs sont à Gath.
40 Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye n’agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi n’agenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi.
Et Shimeï se leva et sella son âne, et s'en alla à Gath vers Akish, pour chercher ses serviteurs. Shimeï s'en alla donc et ramena de Gath ses serviteurs.
41 Bwe baabuulira Sulemaani nti Simeeyi yava e Yerusaalemi n’agenda e Gaasi era n’akomawo,
Or on rapporta à Salomon que Shimeï était allé de Jérusalem à Gath, et qu'il était de retour.
42 kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza Mukama ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lw’olivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ N’oŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’
Et le roi envoya appeler Shimeï et lui dit: Ne t'avais-je pas fait jurer par l'Éternel, et ne t'avais-je pas protesté, en disant: Sache bien qu'au jour où tu sortiras et où tu iras de côté ou d'autre, tu mourras sans rémission? Et ne me répondis-tu pas: Cette parole est bonne; j'ai entendu?
43 Kale kiki ekyakulobera okwekuuma ekirayiro kya Mukama n’ekiragiro kye nakulagira?”
Pourquoi donc n'as-tu pas gardé le serment de l'Éternel et le commandement que je t'avais donné?
44 Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano Mukama alikusasula olw’obubi bwo.
Et le roi dit à Shimeï: Tu sais tout le mal que tu as fait à David, mon père, et tu en es convaincu dans ton cœur; aussi l'Éternel fait retomber ta méchanceté sur ta tête.
45 Naye kabaka Sulemaani aliweebwa omukisa, ne ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka erinywezebwa mu maaso ga Mukama emirembe gyonna.”
Mais le roi Salomon sera béni, et le trône de David sera affermi devant l'Éternel à jamais.
46 Kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.
Et le roi donna ordre à Bénaja, fils de Jéhojada, qui sortit et se jeta sur lui; et il mourut. Et la royauté fut affermie entre les mains de Salomon.