< 1 Bassekabaka 19 >
1 Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala.
アハブ、イゼベルにエリヤの凡て爲たる事及び其如何に諸の預言者を刀劍にて殺したるかを告しかば
2 Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.”
イゼベル使をエリヤに遣はして言けるは神等斯なし復重て斯なしたまへ我必ず明日の今時分汝の命を彼人々の一人の生命のごとくせんと
3 Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we.
かれ恐れて起ち其生命のために逃げ往てユダに屬するベエルシバに至り少者を其處に遺して
4 Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.”
自ら一日程ほど曠野に入り往て金雀花の下に坐し其身の死んことを求めていふヱホバよ足り今わが生命を取たまへ我はわが父祖よりも善にはあらざるなりと
5 N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka. Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, “Golokoka olye.”
彼金雀花の下に伏して寝りしが天の使彼に捫り興て食へと言ければ
6 N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.
彼見しに其頭の側に炭に燒きたるパンと一瓶の水ありき乃ち食ひ飮て復偃臥たり
7 Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.”
ヱホバの使者復再び來りて彼に捫りていひけるは興て食へ其は途長くして汝勝べからざればなりと
8 Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.
彼興て食ひ且飮み其食の力に仗て四十日四十夜行て神の山ホレブに至る
9 Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?”
彼處にて彼洞穴に入りて其處に宿りしが主の言彼に臨みて彼に言けるはエリヤよ汝此にて何を爲や
10 N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
彼いふ我は萬軍の神ヱホバのために甚だ熱心なり其はイスラエルの子孫汝の契約を棄て汝の壇を毀ち刀劍を以て汝の預言者を殺したればなり惟我一人存るに彼等我生命を取んことを求むと
11 Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.” Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu.
ヱホバ言たまひけるは出てヱホバの前に山の上に立てと茲にヱホバ過ゆきたまふにヱホバのまへに當りて大なる強き風山を裂き岩石を碎しが風の中にはヱホバ在さざりき風の後に地震ありしが地震の中にはヱホバ在さざりき
12 Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa.
又地震の後に火ありしが火の中にはヱホバ在さざりき火の後に靜なる細微き聲ありき
13 Eriya bwe yaliwulira, n’abikka amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku. Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”
エリヤ聞て面を外套に蒙み出て洞穴の口に立ちけるに聲ありて彼に臨みエリヤよ汝此にて何をなすやといふ
14 N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”
かれいふ我は萬軍の神ヱホバの爲に甚だ熱心なり其はイスラエルの子孫汝の契約を棄て汝の壇を毀ち刀劍を以て汝の預言者を殺したればなり惟我一人存れるに彼等我が生命を取んことを求むと
15 Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli,
ヱホバかれに言たまひけるは往て汝の途に返りダマスコの曠野に至り往てハザエルに膏を沃ぎてスリアの王となせ
16 ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo.
又汝ニムシの子エヒウに膏を注ぎてイスラエルの王となすべし又アベルメホラのシヤパテの子エリシヤに膏をそそぎ爾に代りて預言者とならしむべし
17 Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku.
ハザエルの刀劍を逃るる者をばエヒウ殺さんエヒウの刀劍を逃るる者をばエリシヤ殺さん
18 Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”
又我イスラエルの中に七千人を遺さん皆其膝をバアルに跼めず其口を之に接ざる者なりと
19 Awo Eriya n’ava eyo n’asisinkana Erisa mutabani wa Safati ng’alima n’emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye ng’alimisa ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe.
エリヤ彼處よりゆきてシヤパテの子エリシヤに遭ふ彼は十二軛の牛を其前に行しめて己は其第十二の牛と偕にありて耕し居たりエリヤ彼の所にわたりゆきて外套を其上にかけたれば
20 Erisa n’aleka ente ze, n’adduka ng’agoberera Eriya. N’amugamba nti, “Ka nsibule kitange ne mmange, ndyoke ŋŋende naawe.” Eriya n’amugamba nti, “Ddayo, nkukoze ki?”
牛を棄てエリヤの後に趨ゆきて言けるは請ふ我をしてわが父母に接吻せしめよしかるのち我爾にしたがはんとエリヤかれに言けるは行け還れ我爾に何をなしたるやと
21 Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.
エリシヤ彼をはなれて還り一軛の牛をとりて之をころし牛の器具を焚て其肉を煮て民にあたへて食はしめ起て往きエリヤに從ひて之に事へたり