< 1 Bassekabaka 1 >

1 Awo kabaka Dawudi bwe yali akaddiye nnyo, nga ne bwe bamubikka takyabuguma,
[達味年老]達味王年紀已老,雖然蓋著許多被褥,仍然不覺溫暖。
2 abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.”
於是他的臣僕對他說:「讓人為我主大王找一個年輕少女來,服侍大王,照料大王,睡在大王懷裏,溫暖我主大王。」
3 Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.
他們就在以色列全境,尋找美麗的少女;找著了一個叔能女子阿彼沙格,便領她到君王那裏。
4 Omuwala oyo yali mulungi nnyo; n’ajjanjabanga kabaka era n’amuweerezanga, naye kabaka teyamumanya.
這少女非常美麗,她就照料服侍君王,君王卻沒有認識她。阿多尼雅的野心
5 Awo Adoniya mutabani wa Dawudi gwe yazaala mu Kaggisi ne yeegulumiza ng’ayogera nti, “Nze ndiba kabaka.” Ne yeetegekera amagaali n’abeebagala embalaasi, n’abasajja amakumi ataano ab’ebigere okuddukiranga mu maaso ge.
那時,哈基特的兒子阿多尼雅自尊自大說:「我必要作主! 」他遂為自己預備了車輛與騎兵,有五十人在他面前開道。
6 Kitaawe n’atamunenya ku mubuuza nti, “Lwaki weeyisa bw’otyo?” Adoniya yali alabika bulungi nnyo, nga y’adda ku Abusaalomu.
他的父親一生從未責罵過他說:「你為什麼這樣做﹖」他出生於阿貝沙隆之後,也是個十分英俊的人。
7 Adoniya yateesa ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ne Abiyasaali kabona, ne baamuwagira.
他曾與責魯雅的兒子約阿布和司祭厄貝雅塔爾商議過,他們二人都支持阿多尼雅。
8 Naye Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, ne Nasani nnabbi, ne Simeeyi, ne Leeyi, n’abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala tebaali ku ludda lwa Adoniya.
但是司祭匝多克、約雅達的兒子貝納雅、先知納堂、史米勒依,以及達味的勇士們,都不擁護阿多尼雅。
9 Adoniya n’attira endiga n’ente n’ebyassava awali ejjinja Zokeresi eririraanye Enerogeri, n’ayita baganda be bonna, abaana ba kabaka, n’abakungu bonna aba Yuda,
一天,阿多尼雅在洛格耳泉旁的左赫肋特磐石上,宰殺了牛羊和肥犢,邀請了君王的兒子們─他所有的兄弟,和所有作君王臣僕的猶大人,
10 naye n’atayita Sulemaani muganda we wadde Nasani nnabbi, newaakubadde Benaya, newaakubadde abasajja ba Dawudi ab’amaanyi abalala.
惟獨沒有邀請先知納堂、貝納雅、勇士們和他的兄弟撒羅滿。先知勸立撒羅滿為王。
11 Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi?
納堂對撒羅滿的母親巴特舍巴說:「你沒有聽說:哈基特的兒子阿多尼雅已作了王,而我們的主上達味還不知道嗎﹖
12 Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani.
現在,我給你出個主意,好保全你和你兒子撒羅滿的性命。
13 Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’
你去見達味,對他說:我主大王,你不是曾向你的婢女起誓說:你的兒子撒羅滿必要繼我為王,坐上我的寶座嗎﹖為什麼阿多尼雅卻作了王呢﹖
14 Laba bw’onooba ng’okyayogera ne kabaka, nange nnaayingira ne nkakasa ebigambo byo.”
當米還在那裏與君王說話時,我便隨後進來,證實你的話。」
15 Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza.
巴特舍特於是進了君王的內室。君王年紀已老,叔能女子阿彼沙格正在旁服侍君王。
16 Basuseba n’akka n’afukamirira kabaka. Kabaka n’amubuuza nti, “Nkukolere ki?”
巴特舍特便俯伏叩拜君王。君王問說:「你有什麼事﹖」
17 N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’
巴特舍特答說:「我主,你曾指著上主你的天主向你的婢女起誓說:你的兒子撒羅滿必要繼我為王,坐上我的寶座。
18 Naye kaakano Adoniya alidde obwakabaka, newaakubadde mukama wange kabaka, tokimanyi.
但是,現在阿多尼雅已作了主,而我主大王,你還不知道。
19 Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.
他宰殺了許多牛、肥犢和羊,邀請了君王所有的兒子和厄貝雅塔爾司祭並約阿布元帥,惟獨你的僕人撒羅滿,他沒有邀請。
20 Kaakano mukama wange kabaka, amaaso ga Isirayiri gatunuulidde gwe, okubategeeza anaatuula ku ntebe y’obwakabaka eya mukama wange kabaka, oluvannyuma lwe.
我主大王,現在全以色列人的眼望著你,等待你通告他們,誰要坐上我主大王的寶座,繼承大王。
21 Bw’otookole bw’otyo, awo olulituuka, mukama wange kabaka bw’olyebakira awamu ne bajjajjaabo, nze ne mutabani wange Sulemaani tuliyitibwa babi.”
不然,將來我主大王同自己的祖先長眠之後,我和我的兒子撒羅滿必被列為罪犯。」
22 Awo bwe yali akyayogera ne kabaka, Nasani nnabbi n’ayingira.
正當她同君王談話時,納堂先知進來了。
23 Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
有人稟告君王說:「納堂先知來了。」他來到君王面前,便俯首至地,向君王下拜。
24 Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo?
納堂說:「我主大王,想必你說過,阿多尼雅必要繼我為王,坐上我的寶座
25 Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’
因為他今天下去,宰殺了許多牛、肥犢和羊,邀請了君王所有的兒子和軍官,以及厄貝雅塔爾司祭;他們在他面前吃喝,呼喊說:阿多尼雅王萬歲!
26 Naye nze omuddu wo, ne Zadooki kabona, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada n’omuddu wo Sulemaani, tatuyise.
至於你的僕人我、匝多克司祭、約雅達的兒子貝納雅,以及你的兒子撒羅滿,他都沒有邀請。
27 Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”
如果這事是出於我主大王,難道你會不通告你的僕人,誰要坐上我主大王的寶座,繼承大王嗎﹖」
28 Awo Kabaka Dawudi n’addamu nti, “Muyite Basuseba.” Basuseba n’ajja awali kabaka n’ayimirira mu maaso ge.
韃味回答說:「快給我召巴特,舍巴來! 」她便進來立在君王面前。
29 Awo kabaka n’alayira ng’ayogera nti, “Nga Mukama bw’ali omulamu eyannunula mu buli kabi konna;
君王起誓說:「救我脫離各種患難的上主永在!
30 era nga bwe nakulayirira mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isirayiri, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka mu kifo kyange.”
我既然曾指著上主以色列的天主向你起誓說:你的兒子撒羅滿必要繼我為王,代我坐上我的寶座:今天我就要這樣作。」
31 Awo Basuseba n’avuunama ku ttaka mu maaso ga kabaka ng’agamba nti, “Mukama wange Kabaka Dawudi awangaale emirembe gyonna!”
巴特舍巴遂俯伏在地,叩拜君王說:「願我主大王韃味萬歲! 」撒羅滿登極為王
32 Kabaka Dawudi n’ayogera nti, “Muyite Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada bayingire.” Bwe bajja mu maaso ga kabaka,
韃味王接著說:「將司祭匝多克、先知納堂、約雅韃的兒子貝納雅,給我召來。」他們都來到君王面前。
33 n’abagamba nti, “Mutwale abaweereza ba mukama wammwe, mwebagaze Sulemaani mutabani wange ennyumbu yange, mumuserengese e Gikoni.
君王對他們說:「率領你們主子的僕人,立刻叫我兒撒羅滿騎上我自己的騾子,護送他下到基紅去。
34 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukireko eyo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Mufuuwe ekkondeere era muleekaane nti, ‘Kabaka Sulemaani awangaale.’
司祭匝多克和先知納堂要在那裏給他傅油,立他為以色列王。你們要吹號歡呼說:撒羅滿王萬歲!
35 Mwambuke naye, atuule ku ntebe yange ey’obwakabaka era afuge mu kifo kyange. Mmufudde omukulembeze wa Isirayiri ne Yuda.”
以後,你們跟他上來,他要來坐在我的寶座,繼位為王,因為我已欽定他作以色列和猶大的領袖。」
36 Benaya mutabani wa Yekoyaada n’addamu kabaka nti, “Amiina! Mukama Katonda wa mukama wange kabaka akituukirize.
約雅達的兒子貝納雅回答君王說:「但願如此! 願我主大王的上主天主,如此照准!
37 Mukama nga bwe yabeeranga ne mukama wange kabaka, abeere ne Sulemaani okufuula entebe ye ey’obwakabaka ey’ekitiibwa n’okusinga entebe ey’obwakabaka eya mukama wange Kabaka Dawudi!”
上主如何與我主大王同在,也願他與撒羅滿同在! 使他的王位高於我主君王達味的王位。」
38 Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni.
於是司祭匝多克、先知納堂、約雅達的兒子貝納雅、革勒提人和培肋提人下去,叫撒羅滿騎上達味王的騾子,護送他到了基紅。
39 Zadooki kabona n’aggya ejjembe ery’amafuta mu weema, n’afuka amafuta ku Sulemaani. Awo ne bafuuwa ekkondeere, abantu bonna ne baleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Kabaka Sulemaani awangaale.”
司祭匝多克從會幕裏取過油角來,給撒羅滿傅了油,人們立即吹號,眾百姓一起歡呼說:「撒羅滿王萬歲!」
40 Abantu bonna ne bambuka okumugoberera nga bafuuwa endere, era nga basanyuka essanyu lingi, ettaka n’okwatika ne lyatika olw’oluyoogaano olunene.
以後,所有的人民擁護他上去,吹著笛子,盡情歡喜,以致大地也因他們的歡呼聲而震動了。阿多尼雅的黨羽瓦解
41 Adoniya n’abagenyi be bonna ne bawulira oluyoogaano bwe baali nga bamaliriza okulya. Yowaabu bwe yawulira eddoboozi ly’ekkondeere, n’abuuza nti, “Ekibuga nga kiyoogaana?”
阿多尼雅和他所請的一切客人歡宴剛完,都聽見了這聲音;約阿布一聽見號聲,便問說﹕「為什麼城中這樣鼓譟﹖」
42 Awo bwe yali ng’akyayogera laba, Yonasaani mutabani wa Abiyasaali kabona n’atuuka. Adoniya n’ayogera nti, “Yingira kubanga omusajja omulungi nga ggwe ateekwa kuba ng’aleese mawulire malungi.”
他正說話的時候,司祭厄貝雅塔爾的兒子約納堂來了,阿多尼雅說﹕「進來,你是個英雄好漢,想必帶來了好消息! 」
43 Yonasaani n’addamu nti, “Nedda. Mukama waffe Kabaka Dawudi, obwakabaka abuwadde Sulemaani,
約納堂回答阿多尼雅說﹕「不! 我們的主上達味王已立撒羅滿為王了。
44 era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka.
君王派司祭匝多克、先知納堂、約雅達的兒子貝納雅、革勒提人和培肋提人,護送他下去,叫他騎上了君王的騾子。
45 Zadooki kabona ne Nasani nnabbi bamufukiddeko amafuta e Gikoni, era bambuse okuvaayo nga bajaguza, n’ekibuga kiwuumira ddala. Okwo kwe kuleekaana kwe muwulira.
司祭匝多克和先知納堂已在基紅給他傅了油,立他為王。現在他們正從那裏歡呼上來,震動了全城﹕這就是你們聽到的喧嚷聲。
46 Kaakano Sulemaani atudde ku ntebe ey’obwakabaka.
撒羅滿現已坐上了君王的寶座,
47 N’abakungu ba kabaka bazze okusanyukirako mukama waffe Kabaka Dawudi, nga boogera nti, ‘Katonda wo afuule erinnya lya Sulemaani ekkulu n’okusinga eriryo era n’entebe ye ey’obwakabaka enkulu n’okusinga eyiyo!’ Era Kabaka akutamye ng’asinza ku kitanda kye,
君王的臣僕都來祝賀我們的主上達味王說﹕願你的天主使撒羅滿的名聲比你的名聲更榮耀,使他的王位比你的王位更興隆! 君王就伏在床上下拜,
48 n’agamba nti, ‘Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isirayiri, akkirizza amaaso gange okulaba omusika ku ntebe yange ey’obwakabaka leero.’”
且說﹕上主以色列的天主應受讚美! 因為今天他指派了一個人坐上了我的寶座,我也親自眼看見了。」
49 Abagenyi ba Adoniya bonna olwawulira ebyo ne beekanga nnyo, ne basituka ne basaasaana.
阿多尼雅請來的客人都害了怕,起來各自走了。
50 Adoniya n’aggwaamu amaanyi olwa Sulemaani okulya obwakabaka, era n’agenda ne yeekwata ku mayembe g’ekyoto.
阿多尼雅也害怕撒羅滿,遂起來跑到上主的會幕內,抱住祭壇的角。
51 Awo ne babuulira Sulemaani nti, “Adoniya atidde kabaka Sulemaani era yeekutte ku mayembe g’ekyoto. Agambye nti, ‘Kabaka Sulemaani andayirire leero nti tajja kutta muddu we n’ekitala.’”
有人告訴撒羅滿說﹕「看,阿多尼雅害怕撒羅滿王,抱住祭壇的角說﹕撒羅滿王先得向我起誓﹕決不用刀殺死他的僕人。」
52 Sulemaani n’addamu nti, “Bw’alyeraga okuba omusajja omulungi, tewaliba luviiri lwe na lumu oluligwa wansi; naye bw’alirabikamu ekibi, alifa.”
撒羅滿說:「如果他肯做一個忠義的人,他的一根頭髮也不會落在地上;但如果發現他有什麼不對,必死無疑。」
53 Awo Kabaka Sulemaani n’atuma abasajja, ne baggya Adoniya ku kyoto. N’ajja n’avuunamira kabaka Sulemaani, Sulemaani n’amugamba nti, “Weddireyo ewuwo.”
撒羅滿王遂派人去,叫他從祭壇上下來;他便前來,俯伏在撒羅滿王前。撒羅滿對他說﹕「你回家去罷! 」

< 1 Bassekabaka 1 >