< 1 Yokaana 2 >

1 Baana bange abaagalwa, ebintu bino mbibawandiikidde mulemenga okukola ekibi. Naye omuntu yenna bw’akolanga ekibi tulina omuwolereza eri Kitaffe, ye Yesu Kristo Omutuukirivu.
My little children, I write these things unto you, that ye may not sin. And if any man sin, we have an advocate with the Father, Jesus Christ the righteous.
2 Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna.
And He is the propitiation for our sins; and not for ours only, but also for the sins of the whole world.
3 Bwe tugondera ebiragiro bye, kye kikakasa nti tumutegeera.
And by this we know that we have known Him, if we keep his commandments.
4 Kyokka oyo agamba nti amutegeera n’atakuuma biragiro bye, aba mulimba, era si wa mazima.
He that saith, I know Him, and keepeth not his commandments, is a liar, and the truth is not in him.
5 Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye.
But whosoever keepeth his word, in him verily is the love of God perfected: and by this we know that we are in Him.
6 Oyo agamba nti ali mu ye, asaana okutambula nga Mukama waffe yennyini bwe yatambula.
He that saith, he abideth in Him, ought himself also so to walk even as He walked.
7 Abaagalwa, sibawandiikira kiragiro kiggya, naye mbawandiikira ekiragiro ekyabaawo edda, kye kyo kye mwawuliranga okuva ku lubereberye.
Brethren, I write not a new commandment unto you, but an old commandment which ye had from the beginning: the old commandment is the word which ye have heard from the beginning:
8 Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.
though I write it again as a new commandment, which is truth in Him and in you: because the darkness is past, and the true light now shineth.
9 Omuntu agamba nti atambulira mu musana, kyokka ate n’akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza.
Now he that saith he is in the light, and hateth his brother, is still in darkness:
10 Naye ayagala owooluganda aba ali mu musana, era talinaawo kimwesittaza.
whereas, he that loveth his brother, abideth in the light, and is in no danger of stumbling.
11 Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
But he, that hateth his brother, is in darkness, and walketh in darkness, and knoweth not where he goeth, because the darkness hath blinded his eyes.
12 Baana bange abaagalwa, mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.
I write unto you, little children, because for his sake your sins are forgiven you:
13 Era nammwe abakulu, mbawandiikidde kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye. Nammwe abavubuka, mbawandiikidde kubanga muwangudde omubi. Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde, kubanga mutegedde Kitaffe.
I write unto you, fathers, because ye have known Him that is from the beginning: and I write unto you, young men, because ye have overcome the wicked one. Yea I have written to you, little children, because ye have known the Father:
14 Mbawandiikidde mmwe abakulu kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka kubanga muli ba maanyi era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
I have written unto you, fathers, because ye have known Him that is from the beginning: and I have written to you, young men, because ye are strong, and the word of God abideth in you, and ye have overcome the wicked one---
15 Temwagalanga nsi, wadde eby’ensi. Kubanga omuntu yenna ayagala ensi taliimu kwagala kwa Kitaffe.
Love not the world, nor the things that are in the world; for if any one love the world to excess, the love of the Father is not in him.
16 Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.
For all that is in the world, the desire of the flesh, and the desire of the eyes, and the pride of life, is not of the Father, but of the world.
17 Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna. (aiōn g165)
And the world passeth away, and the desire of it: but he, that doth the will of God, abideth for ever. (aiōn g165)
18 Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse.
Little children, it is the last time: and as ye have heard that an antichrist will come, there are even now many antichrists, whereby we know that it is the last time.
19 Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.
They went out from us, but they were not of us: for if they had been indeed of us, they would have continued with us; but this was done that they might be made manifest, because all, that are with us, are not indeed of us.
20 Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna.
And ye have an unction from the holy One, and know all.
21 Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula eby’obulimba n’eby’amazima.
I have not therefore written to you, because ye know not the truth; but because ye know it, and that no lie is of the truth.
22 Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana.
Who is a liar, if not he who denieth that Jesus is the Christ? This is the antichrist, that denieth the Father as well as the Son;
23 Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.
for whosoever denieth the Son, hath not the Father: but he that confesseth the Son acknowledgeth the Father also.
24 Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe.
Let that therefore, which ye have heard from the beginning, abide in you: for if that, which ye heard from the beginning, remain in you, ye also will remain in the Son and in the Father.
25 Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
And this is the promise which He hath promised us, even eternal life. (aiōnios g166)
26 Mbawandiikidde bino olw’okubanga waliwo abo ababalimbalimba.
These things have I written unto you concerning those who would seduce you.
27 Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
But the unction, which ye have received from Him, abideth in you; and therefore ye have no need that any should teach you: since this very unction teacheth you concerning all things, and is truth and not falshood; even as that hath taught you, abide in Him.
28 Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.
And now, little children, abide, I say, in Him; that, when He shall appear, we may have confidence, and may not be ashamed before Him at his coming.
29 Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola eby’obutuukirivu ye mwana we.
If ye know that He is righteous, ye know that every one, who practiseth righteousness, is born of Him.

< 1 Yokaana 2 >