< 1 Abakkolinso 8 >

1 Kale ku nsonga ey’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala: tumanyi nti byonna tubitegeera. Naye okwerowooza nti tumanyi kuleeta okwekuluntaza naye okwagala kuzimba.
Now concerning things sacrificed to idols: We know that we all have knowledge. Knowledge puffs up, but love builds up.
2 Omuntu alowooza nti amanyi, aba alaga nga bw’atannamanya era nga bwe kimugwanira okumanya.
But if anyone thinks that he knows anything, he does not yet know as he ought to know.
3 Naye oyo ayagala Katonda amanyibwa Katonda.
But anyone who loves God is known by him.
4 Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala.
Therefore concerning the eating of things sacrificed to idols, we know that no idol is anything in the world, and that there is no other God but one.
5 Waliwo abayitibwa bakatonda abali mu ggulu ne ku nsi newaakubadde nga waliwo bakatonda bangi n’abaami bangi.
For though there are things that are called “gods”, whether in the heavens or on earth—as there are many “gods” and many “lords”—
6 Kyokka ffe tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, ye Kitaffe, era ye yatonda ebintu byonna, era naffe tuli mu ye, era nga waliwo Mukama omu ye Yesu Kristo, ebintu byonna mwe byayita okutondebwa, era mu ye mwe tuyita okufuna obulamu.
yet to us there is one God, the Father, of whom are all things, and we for him; and one Lord, Jesus Christ, through whom are all things, and we live through him.
7 Kyokka kino abamu tebakimanyi. Obulamu bwabwe bwonna bwamanyiira okulowooza nti bakatonda abalala balamu ddala, era nga n’ebiweebwayo ebyo biweebwayo eri bakatonda ddala. Kaakano bwe balya emmere eyo eyonoona emyoyo gyabwe, kuba minafu, beeyonoona bokka.
However, that knowledge is not in all men. But some, with consciousness of an idol until now, eat as of a thing sacrificed to an idol, and their conscience, being weak, is defiled.
8 Naye emmere si yeetuleetera okusiimibwa Katonda. Bwe tutagirya tewaba kye tusubwa, era ne bwe tugirya terina kye twongerako.
But food will not commend us to God. For neither, if we do not eat are we the worse, nor if we eat are we the better.
9 Kyokka mwegendereze bwe muba mukozesa eddembe lyabwe eryo, si kulwa nga mwesittaza abo abanafu mu kukkiriza.
But be careful that by no means does this liberty of yours become a stumbling block to the weak.
10 Kubanga ggwe amanyi, singa omunafu mu kukkiriza akulaba ng’olya mu ssabo lya bakatonda abalala, ekyo tekirimugumya okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala.
For if a man sees you who have knowledge sitting in an idol’s temple, will not his conscience, if he is weak, be emboldened to eat things sacrificed to idols?
11 Kale owooluganda oyo omunafu, Kristo gwe yafiirira, azikirizibwe olw’okumanya kwo!
And through your knowledge, he who is weak perishes, the brother for whose sake Christ died.
12 Noolwekyo bwe mukola ekibi ku booluganda muba muleeta ekiwundu ku mwoyo gwabwe kubanga banafu, era muba mukola kibi eri Kristo.
Thus, sinning against the brothers, and wounding their conscience when it is weak, you sin against Christ.
13 Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange. (aiōn g165)
Therefore, if food causes my brother to stumble, I will eat no meat for this age (aiōn g165), that I do not cause my brother to stumble.

< 1 Abakkolinso 8 >