< 1 Abakkolinso 2 >
1 Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli.
형제들아 내가 너희에게 나아가 하나님의 증거를 전할 때에 말과 지혜의 아름다운 것으로 아니하였나니
2 Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.
내가 너희 중에서 예수 그리스도와 그의 십자가에 못 박히신 것 외에는 아무 것도 알지 아니하기로 작정하였음이라
3 Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo.
내가 너희 가운데 거할 때에 약하며 두려워하며 심히 떨었노라
4 Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu,
내 말과 내 전도함이 지혜의 권하는 말로 하지 아니하고 다만 성령의 나타남과 능력으로 하여
5 okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.
너희 믿음이 사람의 지혜에 있지 아니하고 다만 하나님의 능력에 있게 하려 하였노라
6 Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. (aiōn )
그러나 우리가 온전한 자들 중에서 지혜를 말하노니 이는 이 세상의 지혜가 아니요 또 이 세상의 없어질 관원의 지혜도 아니요 (aiōn )
7 Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (aiōn )
오직 비밀한 가운데 있는 하나님의 지혜를 말하는 것이니 곧 감취었던 것인데 하나님이 우리의 영광을 위하사 만세 전에 미리 정하신 것이라 (aiōn )
8 tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (aiōn )
이 지혜는 이 세대의 관원이 하나도 알지 못하였나니 만일 알았더면 영광의 주를 십자가에 못 박지 아니 하였으리라 (aiōn )
9 Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, n’okutu bye kutawulirangako, n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”
기록된 바 하나님이 자기를 사랑하는 자들을 위하여 예비하신 모든 것은 눈으로 보지 못하고 귀로도 듣지 못하고 사람의 마음으로도 생각지 못하였다 함과 같으니라
10 Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda.
오직 하나님이 성령으로 이것을 우리에게 보이셨으니 성령은 모든 것 곧 하나님의 깊은 것이라도 통달하시느니라
11 Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda.
사람의 사정을 사람의 속에 있는 영 외에는 누가 알리요 이와 같이 하나님의 사정도 하나님의 영 외에는 아무도 알지 못하느니라
12 Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa,
우리가 세상의 영을 받지 아니하고 오직 하나님께로 온 영을 받았으니 이는 우리로 하여금 하나님께서 우리에게 은혜로 주신 것들을 알게 하려 하심이라
13 era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo.
우리가 이것을 말하거니와 사람의 지혜의 가르친 말로 아니하고 오직 성령의 가르치신 것으로 하니 신령한 일은 신령한 것으로 분별하느니라
14 Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo.
육에 속한 사람은 하나님의 성령의 일을 받지 아니하나니 저희에게는 미련하게 보임이요 또 깨닫지도 못하나니 이런 일은 영적으로라야 분변함이니라
15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.
신령한 자는 모든 것을 판단하나 자기는 아무에게도 판단을 받지 아니하느니라
16 “Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama, era ani alimulagira? Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”
누가 주의 마음을 알아서 주를 가르치겠느냐 그러나 우리가 그리스도의 마음을 가졌느니라