< 1 Abakkolinso 2 >

1 Bwe najja gye muli abooluganda sajja gye muli na bumanyirivu mu kwogera wadde amagezi nga nangirira ekyama kya Katonda gye muli.
Κἀγὼ ἐλθὼν πρὸς ὑμᾶς, ἀδελφοί, ἦλθον οὐ καθʼ ὑπεροχὴν λόγου ἢ σοφίας καταγγέλλων ὑμῖν τὸ ⸀μαρτύριοντοῦ θεοῦ.
2 Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.
οὐ γὰρ ἔκρινά ⸂τι εἰδέναι ἐν ὑμῖν εἰ μὴ Ἰησοῦν Χριστὸν καὶ τοῦτον ἐσταυρωμένον·
3 Bwe nnali nammwe nnali munafu, nga ntya era nga nkankana nnyo.
κἀγὼ ἐν ἀσθενείᾳ καὶ ἐν φόβῳ καὶ ἐν τρόμῳ πολλῷ ἐγενόμην πρὸς ὑμᾶς,
4 Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu,
καὶ ὁ λόγος μου καὶ τὸ κήρυγμά μου οὐκ ἐν ⸂πειθοῖ σοφίας ἀλλʼ ἐν ἀποδείξει πνεύματος καὶ δυνάμεως,
5 okukkiriza kwammwe kuleme kuba kw’amagezi ga bantu wabula kwesigame ku maanyi ga Katonda.
ἵνα ἡ πίστις ὑμῶν μὴ ᾖ ἐν σοφίᾳ ἀνθρώπων ἀλλʼ ἐν δυνάμει θεοῦ.
6 Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. (aiōn g165)
Σοφίαν δὲ λαλοῦμεν ἐν τοῖς τελείοις, σοφίαν δὲ οὐ τοῦ αἰῶνος τούτου οὐδὲ τῶν ἀρχόντων τοῦ αἰῶνος τούτου τῶν καταργουμένων· (aiōn g165)
7 Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (aiōn g165)
ἀλλὰ λαλοῦμεν ⸂θεοῦ σοφίαν ἐν μυστηρίῳ, τὴν ἀποκεκρυμμένην, ἣν προώρισεν ὁ θεὸς πρὸ τῶν αἰώνων εἰς δόξαν ἡμῶν· (aiōn g165)
8 tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (aiōn g165)
ἣν οὐδεὶς τῶν ἀρχόντων τοῦ αἰῶνος τούτου ἔγνωκεν, εἰ γὰρ ἔγνωσαν, οὐκ ἂν τὸν κύριον τῆς δόξης ἐσταύρωσαν· (aiōn g165)
9 Naye nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eriiso bye litalabangako, n’okutu bye kutawulirangako, n’omutima gw’omuntu kye gutalowoozangako Katonda bye yategekera abo abamwagala.”
ἀλλὰ καθὼς γέγραπται· Ἃ ὀφθαλμὸς οὐκ εἶδεν καὶ οὖς οὐκ ἤκουσεν καὶ ἐπὶ καρδίαν ἀνθρώπου οὐκ ἀνέβη, ⸀ὅσαἡτοίμασεν ὁ θεὸς τοῖς ἀγαπῶσιν αὐτόν.
10 Naye ffe Katonda yabitubikkulira mu Mwoyo, kubanga Omwoyo anoonyereza ebintu byonna, n’eby’omunda ennyo ebya Katonda.
ἡμῖν ⸀γὰρ⸂ἀπεκάλυψεν ὁ θεὸς διὰ τοῦ ⸀πνεύματος τὸ γὰρ πνεῦμα πάντα ἐραυνᾷ, καὶ τὰ βάθη τοῦ θεοῦ.
11 Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda.
τίς γὰρ οἶδεν ἀνθρώπων τὰ τοῦ ἀνθρώπου εἰ μὴ τὸ πνεῦμα τοῦ ἀνθρώπου τὸ ἐν αὐτῷ; οὕτως καὶ τὰ τοῦ θεοῦ οὐδεὶς ⸀ἔγνωκενεἰ μὴ τὸ πνεῦμα τοῦ θεοῦ.
12 Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa,
ἡμεῖς δὲ οὐ τὸ πνεῦμα τοῦ κόσμου ἐλάβομεν ἀλλὰ τὸ πνεῦμα τὸ ἐκ τοῦ θεοῦ, ἵνα εἰδῶμεν τὰ ὑπὸ τοῦ θεοῦ χαρισθέντα ἡμῖν·
13 era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’eby’Omwoyo.
ἃ καὶ λαλοῦμεν οὐκ ἐν διδακτοῖς ἀνθρωπίνης σοφίας λόγοις, ἀλλʼ ἐν διδακτοῖς ⸀πνεύματος πνευματικοῖς πνευματικὰ συγκρίνοντες.
14 Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo.
Ψυχικὸς δὲ ἄνθρωπος οὐ δέχεται τὰ τοῦ πνεύματος τοῦ θεοῦ, μωρία γὰρ αὐτῷ ἐστίν, καὶ οὐ δύναται γνῶναι, ὅτι πνευματικῶς ἀνακρίνεται·
15 Naye omuntu ow’Omwoyo akebera ebintu byonna, naye tewali n’omu amukebera.
ὁ δὲ πνευματικὸς ἀνακρίνει ⸀τὰπάντα, αὐτὸς δὲ ὑπʼ οὐδενὸς ἀνακρίνεται.
16 “Kubanga ani eyali ategedde okulowooza kwa Mukama, era ani alimulagira? Kyokka ffe tulina endowooza ya Kristo.”
τίς γὰρ ἔγνω νοῦν κυρίου, ὃς συμβιβάσει αὐτόν; ἡμεῖς δὲ νοῦν Χριστοῦ ἔχομεν.

< 1 Abakkolinso 2 >