< 1 Abakkolinso 16 >

1 Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya.
성도를 위하는 연보에 대하여는 내가 갈라디아 교회들에게 명한 것같이 너희도 그렇게 하라
2 Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
매주일 첫날에 너희 각 사람이 이(利)를 얻은 대로 저축하여 두어서 내가 갈 때에 연보를 하지 않게 하라
3 Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi.
내가 이를 때에 너희의 인정한 사람에게 편지를 주어 너희의 은혜를 예루살렘으로 가지고 가게 하리니
4 Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
만일 나도 가는 것이 합당하면 저희가 나와 함께 가리라
5 Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono.
내가 마게도냐를 지날 터이니 마게도냐를 지난 후에 너희에게 나아가서
6 Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga.
혹 너희와 함께 머물며 과동(過冬)할 듯도 하니 이는 너희가 나를 나의 갈 곳으로 보내어 주게 하려 함이라
7 Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima.
이제는 지나는 길에 너희 보기를 원치 하니하노니 이는 주께서 만일 허락하시면 얼마 동안 너희와 함께 유하기를 바람이라
8 Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote.
내가 오순절까지 에베소에 유하려 함은
9 Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
내게 광대하고 공효(功效)를 이루는 문(門)이 열리고 대적하는 자가 많음이니라
10 Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze.
디모데가 이르거든 너희는 조심하여 저로 두려움이 없이 너희 가운데 있게 하라 이는 저도 나와 같이 주의 일을 힘쓰는 자임이니라
11 Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
그러므로 누구든지 저를 멸시하지 말고 평안히 보내어 내게로 오게하라 나는 저가 형제들과 함께 오기를 기다리노라
12 Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
형제 아볼로에 대하여는 저더러 형제들과 함께 너희에게 가라고 내가 많이 권하되 지금은 갈 뜻이 일절 없으나 기회가 있으면 가리라
13 Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.
깨어 믿음에 굳게 서서 남자답게 강건하여라!
14 Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
너희 모든 일을 사랑으로 행하라!
15 Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba
형제들아 스데바나의 집은 곧 아가야의 첫 열매요 또 성도 섬기기로 작정한 줄을 너희가 아는지라 내가 너희를 권하노니
16 muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo.
이 같은 자들과 또 함께 일하며 수고하는 모든 자에게 복종하라
17 Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe.
내가 스데바나와, 브드나도와, 아가이고의 온 것을 기뻐하노니 저희가 너희의 부족한 것을 보충하였음이니라
18 Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.
저희가 나와 너희 마음을 시원케 하였으니 그러므로 너희는 이런 자들을 알아 주라
19 Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza. Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
아시아의 교회들이 너희에게 문안하고 아굴라와, 브리스가와 및 그 집에 있는 교회가 주 안에서 너희에게 간절히 문안하고
20 Era abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.
모든 형제도 너희에게 문안하니 너희는 거룩하게 입맞춤으로 서로 문안하라
21 Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.
나 바울은 친필로 너희에게 문안하노니
22 Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!
만일 누구든지 주를 사랑하지 아니하거든 저주를 받을지어다 주께서 임하시느니라
23 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
주 예수 그리스도의 은혜가 너희와 함께 하고
24 Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.
나의 사랑이 그리스도 예수의 안에서 너희 무리와 함께 할지어다

< 1 Abakkolinso 16 >