< 1 Abakkolinso 1 >
1 Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene owooluganda,
2 tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe;
3 ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.
4 Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu,
5 mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna,
6 era ng’obujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe,
7 muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
8 Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
9 Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okw’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.
10 Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu.
11 Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo.
12 Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.
13 Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?
14 Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo.
15 Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange.
16 Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna.
17 Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.
18 Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.
19 Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi g’abagezi, ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”
20 Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? (aiōn )
21 Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza.
22 Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi,
23 naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru,
24 naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda.
25 Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26 Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa.
27 Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi,
28 era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo,
29 waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30 Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,
31 nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.