< 1 Ebyomumirembe 6 >

1 Batabani ba Leevi baali Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
肋未的兒子:革爾雄、刻哈特和默辣黎。
2 Batabani ba Kokasi ne baba Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
刻哈特的兒子:阿默蘭、依茲哈爾、赫貝龍和烏齊耳。
3 Ate abaana ba Amulaamu baali Alooni, ne Musa ne Miryamu. Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
阿默蘭的子女:亞郎、梅瑟和米黎盎。亞郎的兒子:納達布、阿彼胡、厄肋阿匝爾和依塔瑪爾。
4 Eriyazaali n’azaala Finekaasi, ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;
厄肋阿匝爾生丕乃哈斯,丕乃哈斯生阿彼叔亞,
5 Abisuwa n’azaala Bukki, ate Bukki n’azaala Uzzi;
阿彼叔亞生步克,步克生烏齊,
6 Uzzi n’azaala Zerakiya, ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;
烏齊生則辣希雅,則辣希雅生默辣約特,
7 Merayoosi n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu;
默辣約特生阿瑪黎雅,阿瑪黎雅生阿希突布,
8 Akitubu n’azaala Zadooki, ate Zadooki n’azaala Akimaazi;
阿希突布生匝多克,匝多克生阿希瑪茲,
9 Akimaazi n’azaala Azaliya, ne Azaliya n’azaala Yokanaani;
阿希瑪茲生阿匝璃雅,阿匝黎雅生約哈南,
10 Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
約哈南生阿匝黎雅─他曾在靸羅滿於耶路撒冷建的聖殿內,任司祭職─
11 Azaliya n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu;
阿匝黎雅生阿瑪黎雅,阿瑪黎雅生阿希突布,
12 Akitubu n’azaala Zadooki, ne Zadooki n’azaala Sallumu;
阿希突布生匝多克,匝多克生撒隆,
13 Sallumu n’azaala Kirukiya, ne Kirukiya n’azaala Azaliya;
撒隆生希耳克雅,希耳克雅生阿匝黎雅,
14 Azaliya n’azaala Seraya, ne Seraya n’azaala Yekozadaki;
阿匝黎雅生色辣雅,色辣雅聲約匝達克;
15 Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
約匝達克生上主藉拿步高使猶大與耶路撒冷人充軍時,也被擄去充軍。
16 Batabani ba Leevi baali Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.
[達味前肋未三子的後代]肋未的兒子:革爾雄、刻哈特和默辣黎。
17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu, ne Libuni ne Simeeyi.
以下是革爾雄的兒子的名字:里貝尼和史米。
18 Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
刻哈特的兒子:阿默蘭、依茲哈爾、赫貝龍和烏齊耳。
19 Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
默辣黎的兒子:瑪赫里和慕史:這些人按他們的家族都屬肋未族系。
20 Abaava mu Gerusomu baali Libuni mutabani we, ne Yakasi, ne Zimura,
革爾雄家族:革爾雄的兒子里貝尼,里貝尼的兒子雅哈特,雅喝特的兒子齊瑪,
21 ne Yowa, ne Iddo, ne Zeera, ne Yeyaserayi.
齊瑪的兒子約阿黑,約阿黑的兒子依多,依多的兒子則辣黑,則辣黑的兒子約特賴。
22 Bazzukulu ba Kokasi baali Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
刻哈特的子孫:刻哈特的兒子依茲哈爾,依茲哈爾的兒子科辣黑,科辣黑的兒子阿息爾,
23 Erukaana muzzukulu we, Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
阿息爾的兒子厄耳卡納,厄耳卡納的兒子厄貝雅撒夫,厄貝雅撒夫的兒子阿息爾,
24 Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
阿息爾的兒子塔哈特,塔哈特的兒子烏黎耳,烏黎耳的兒子沙烏耳。
25 Batabani ba Erukaana baali Amasayi ne Akimosi,
厄耳卡納的兒子:阿瑪賽和阿希摩特。
26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi, ne Nakasi,
阿希摩特的兒子厄耳卡納,厄耳卡納的兒子族弗,族弗的兒子托胡,
27 ne Eriyaabu, ne Yerokamu, ne Erukaana ne Samwiri.
托胡的兒子厄里貝雅布,厄里貝雅布的兒子耶洛罕,耶洛罕的兒子厄耳卡納,厄耳卡納的兒子撒慕爾。
28 Batabani ba Samwiri baali Yoweeri omuggulanda we, n’owokubiri nga ye Abiya.
撒慕爾的兒子:長子約厄耳,次子阿彼雅。
29 Bazzukulu ba Merali baali Makuli, ne Libuni, ne Simeeyi, ne Uzza,
默辣黎的子孫:默辣黎的兒子瑪赫里,瑪赫里的兒子里貝尼,里貝尼的兒子史米,史米的兒子烏匝,
30 ne Simeeyi, ne Kaggiya ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.
烏匝的兒子史默亞,史默亞的兒子哈基雅,哈基雅的兒子阿撒雅。[歌詠者的族譜]
31 Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.
自約櫃安放在固定之處以後,達味派定在上主殿內擔任歌詠的人如下:
32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
他們在會幕前執行歌詠的職務,直到撒羅滿在耶路撒冷建立了上主的殿,常輪班執行自己的職務。
33 Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe: Okuva mu Abakokasi; Kemani, omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
任職的人員和他們的子孫如下:由刻哈特子孫中,有約厄耳的兒子赫曼歌詠者;約厄耳是撒慕爾的兒子,
34 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu, muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,
撒慕爾是厄耳卡納的兒子,厄耳卡納的兒子耶洛罕是厄里耳的兒子,厄里耳的兒子,
35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
托亞是族弗的兒子,族弗是厄耳卡納的兒子,
36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
阿瑪賽是厄耳卡納的兒子,厄耳卡納是約厄耳的兒子,約厄耳是阿匝黎雅的兒子,阿匝黎雅是責法尼雅的兒子,
37 muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
責法尼雅是塔哈特的兒子,塔哈特是阿息爾的兒子,阿息爾是厄貝雅撒夫的兒子,厄貝雅撒夫是科辣黑的兒子,
38 muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi, muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
科辣黑是厄貝雅爾的兒子,依茲哈爾是刻哈特的兒子,刻哈特是肋未的兒子,肋未是以色列的兒子。
39 Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati: Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
站在他右邊的,是他的兄弟阿撒夫:阿撒夫是貝勒基雅的兒子,貝勒基雅是史默亞的兒子,
40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya, muzzukulu wa Malukiya,
史默亞是米加耳的兒子,米加耳是巴阿色雅的兒子,巴阿色雅是瑪耳基雅的兒子,
41 muzzukulu wa Esuni, muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
瑪耳基雅是厄特尼的兒子,厄特尼是則辣黑的兒子,則辣黑是阿達雅的兒子,
42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma, muzzukulu wa Simeeyi,
阿達雅是厄堂的兒子,厄堂是齊瑪的兒子,齊瑪是史米的兒子,
43 muzzukulu wa Yakasi, muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
史米是雅哈特的兒子,雅哈特是革爾雄的兒子,革爾雄是肋未的兒子。
44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi, Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi, muzzukulu wa Malluki,
站在左邊的,是他們的兄弟默辣黎的子孫:厄堂,厄堂是克史的兒子,克史是阿貝狄的兒子,阿貝狄是瑪路客的兒子,
45 muzzukulu wa Kasukabiya, muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
瑪路客是哈沙彼雅的兒子,哈沙彼雅是阿瑪責雅的兒子,阿瑪責雅是希耳克雅的兒子,
46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Semeri,
希耳克雅是阿默漆的兒子,阿默漆是巴尼的兒子,巴尼是舍默爾的兒子,
47 muzzukulu wa Makuli, muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali, mutabani wa Leevi.
舍默爾是瑪赫里的兒子,瑪赫里是慕史的兒子,慕史是默辣黎的兒子,默辣黎是肋未的兒子。[肋未人和亞郎子孫的職務]
48 Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
他們的兄弟肋未人擔任天主聖殿帳幕裏一切職務。
49 Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
亞郎和他得子孫,在全燔祭壇和香壇上焚燒祭獻,從事至壽所內的各種工作,為以色列人獻贖罪祭,全照天主的僕人梅瑟所命的行事。
50 Bano be baava mu nda ya Alooni: mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi, muzzukulu we Abisuwa,
亞郎的子孫:亞郎的兒子厄肋阿匝爾,厄肋阿匝爾的兒子丕乃哈斯,丕乃哈斯的兒子阿彼叔亞,
51 muzzukulu we Bukki, muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
阿彼叔亞的兒子步克,步克的兒子烏齊,烏齊的兒子則辣希雅,
52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya, muzzukulu we Akitubu,
則辣希雅的兒子默辣約特,默辣約特的兒子阿瑪黎雅,阿瑪黎雅的兒子阿希突布,
53 muzzukulu we Zadooki, ne muzzukulu we Akimaazi.
阿希突布的兒子匝多克,匝多克的兒子阿希瑪茲。[司祭城和肋未城]
54 Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
以下是他們在各地域內居留的地方:亞郎的子孫:刻哈特的家族中了籤,
55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde,
分得了猶大境內的赫貝龍和城郊的牧場;
56 naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune.
但屬城的田地和村莊分給了耶孚乃的兒子加肋布。
57 Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo,
分給亞郎子孫的,是赫貝龍避難城,此外尚有里貝納和四郊,雅提爾及厄市特摩和四郊,
58 Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo,
希肋次和四郊,德彼爾和四郊,
59 Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
阿商和四郊,猶他和四郊,貝特舍默士和四郊。
60 Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
由本雅明支派分給的,是基貝紅和四郊,革巴和四郊,阿肋默特和四郊,阿納托特和四郊:所分得的城,共十三座及四郊。
61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
刻哈特其餘的子孫,按家族,由厄弗辣因支派、丹支派和默納協支派,抽得了十座城。
62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
革爾雄的子孫,按家族,由依撒加爾支派、阿協爾支派、納斐塔里支派和在巴商的默納協支派,抽得了十三座城。
63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
默辣黎的子孫,按家族由勒烏本支派、加得支派和則步隆支派抽得十二座城。
64 Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
以色列子孫將這些城和城外四郊,劃給了肋未人,
65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
並以抽籤方式,由猶大子孫支派、西默盎子孫支派和本雅明子孫支派,劃給了他們上述得城市。
66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
刻哈特子孫的一些家族,由厄弗辣因支派抽得了一些城。
67 Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri,
分給他們的是:在厄弗辣因山地的避難城舍根和四郊,革則爾和四郊,
68 ne Yokumyamu, ne Besukolooni,
約刻罕和四郊,貝特曷龍和四郊,
69 ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
阿雅隆和四郊,加特黎孟和四郊。
70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
至於由默納協半支派抽得的阿乃爾和四郊以及彼耳漢和四郊,歸於刻哈特其餘子孫的家族。
71 Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
革爾雄子孫按家族,由默納協半支派,抽得了巴商的哥藍和四郊,阿市塔洛特和四郊;
72 Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi
由依加爾支派抽得了克史雍和四郊,多貝辣特和四郊,
73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
辣摩特和四郊,恩加寧和四郊;
74 okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni,
由阿協爾支派抽得了瑪沙耳和四郊,阿貝冬和四郊,
75 Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
胡科克和四郊,勒革布和四郊;
76 n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
由納斐塔里支派抽得了加里肋亞的刻德士和四郊,哈孟和四郊,克黎雅塔和四郊。
77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
默辣黎其餘的子孫,由則步隆支派抽得了約刻乃罕和四郊,卡爾達和四郊,黎孟和四郊,塔波爾和四郊;
78 okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza,
在約旦河對岸,耶里哥對面,即約但河東岸,由勒烏本支派抽得了曠野中的貝責爾和四郊,雅哈茲和四郊,
79 Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
刻德摩特和四郊,默法阿特和四郊;
80 n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu,
由加得支派抽得了基肋阿得的辣摩特和四郊,瑪哈納殷和四郊,
81 Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.
赫市朋和四郊,雅則爾和四郊。

< 1 Ebyomumirembe 6 >