< 1 Ebyomumirembe 4 >

1 Bazzukulu ba Yuda abalala baali Pereezi, ne Kezulooni, ne Kalumi, ne Kuuli ne Sobali.
Filii Iuda: Phares, Hesron, et Charmi, et Hur, et Sobal.
2 Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
Raia vero filius Sobal genuit Iahath, de quo nati sunt Ahumai, et Laad. Hæ cognationes Sarathi.
3 Ne bano, be baali baganda ba Etamu, ne Yezuleeri, ne Isuma, ne Idubasi, ne mwannyinaabwe nga ye Kazzereruponi.
Ista quoque stirps Etam: Iezrahel, et Iesema, et Iedebos. Nomen quoque sororis eorum, Asalelphuni.
4 Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa. Bano be baali abazzukulu ba Kuuli, ng’omuzzukulu omukulu mu luggya ye Efulaasa, omukulembeze wa Besirekemu.
Phanuel autem pater Gedor, et Ezer pater Hosa. Isti sunt filii Hur primogeniti Ephratha patris Bethlehem.
5 Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
Assur vero patri Thecuæ erant duæ uxores, Halaa, et Naara.
6 Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
Peperit autem ei Naara, Oozam, et Hepher, et Themani, et Ahasthari. Isti sunt filii Naara.
7 Keera n’amuzaalira Zeresi, ne Izukali, ne Esumani
Porro filii Halaa, Sereth, Isaar, et Ethnan.
8 ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.
Cos autem genuit Anob, et Soboba, et cognationem Aharehel filii Arum.
9 Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.”
Fuit autem Iabes inclytus præ fratribus suis, et mater eius vocavit nomen illius Iabes, dicens: Quia peperi eum in dolore.
10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.
Invocavit vero Iabes Deum Israel, dicens: Si benedicens benedixeris mihi, et dilataveris terminos meos, et fuerit manus tua mecum, et feceris me a malitia non opprimi. Et præstitit Deus quæ precatus est.
11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni.
Caleb autem frater Sua genuit Mahir, qui fuit pater Esthon.
12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.
Porro Esthon genuit Bethrapha, et Phesse, et Tehinna patrem urbis Naas: hi sunt viri Recha.
13 Batabani ba Kenazi baali Osuniyeri ne Seraya. Batabani ba Osuniyeri baali Kasasi ne Myonosaayi.
Filii autem Cenez, Othoniel, et Saraia. Porro filii Othoniel, Hathath, et Maonathi.
14 Myonosaayi n’azaala Ofula. Ate Seraya n’azaala Yowaabu, ne Yowaabu ye yali jjajja wa Gekalasimu abaalinga abaweesi.
Maonathi genuit Ophra, Saraia autem genuit Ioab patrem Vallis artificum: ibi quippe artifices erant.
15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali Iru, ne Era ne Naamu. Ne Era n’azaala Kenazi.
Filii vero Caleb filii Iephone, Hir, et Ela, et Naham. Filii quoque Ela: Cenez.
16 Batabani ba Yekalereri baali Zifu, ne Zifa, ne Tiriya ne Asaleri.
Filii quoque Ialeleel: Ziph, et Zipha, Thiria, et Asrael.
17 Batabani ba Ezula baali Yeseri, ne Meredi, ne Eferi, ne Yaloni. Omu ku bakyala ba Meredi ye yali Bisiya muwala wa Falaawo, era n’amuzaalira Miryamu, ne Sammayi, ne Isuba eyazaala Esutemoa.
Et filii Ezra, Iether, et Mered, et Epher, et Ialon, genuitque Mariam, et Sammai, et Iesba patrem Esthamo.
18 Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza. Omukyala we Omuyudaaya yamuzaalira Yeredi kitaawe wa Gedoli, ne Keberi kitaawe wa Soko, ne Yekusyeri kitaawe wa Zanona.
Uxor quoque eius Iudaia, peperit Iared patrem Gedor, et Heber patrem Socho, et Icuthiel patrem Zanoe. Hi autem filii Bethiæ filiæ Pharaonis, quam accepit Mered,
19 Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu era be baali ekika kya Keyira Omugalumi ne Esutemoa Omumaakasi.
et filii uxoris Odaiæ sororis Naham patris Ceila Garmi, et Esthamo, qui fuit de Machathi.
20 Batabani ba Simoni baali Amunoni, ne Linna, ne Benikanani, ne Tironi. N’ab’ennyumba ya Isi baali Zokesi ne Benizokesi.
Filii quoque Simon, Amnon, et Rinna filius Hanan, et Thilon. Et filii Iesi, Zoheth, et Benzoheth.
21 Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali Eri eyazaala Leka, kitaawe wa Malesa, ate era jjajja w’ebika by’abo abaalukanga linena e Besiyasubeya,
Filii Sela, filii Iuda: Her pater Lecha, et Laada pater Maresa, et cognationes domus operantium byssum in domo iuramenti,
22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda).
et qui stare fecit Solem, virique Mendacii, et Securus, et Incendens, qui principes fuerunt in Moab, et qui reversi sunt in Lahem. Hæc autem verba vetera.
23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
Hi sunt figuli habitantes in Plantationibus, et in Sepibus, apud regem in operibus eius, commoratique sunt ibi.
24 Batabani ba Simyoni baali Nemweri, ne Yanini, ne Yalibu, ne Zeera ne Sawuli.
Filii Simeon: Namuel et Iamin, Iarib, Zara, Saul.
25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
Sellum filius eius, Mapsam filius eius, Masma filius eius.
26 Mutabani wa Misuma yali Kammweri, eyazaala Zakkuli, nga ate jjajja wa Simeeyi.
Filii Masma: Hamuel filius eius, Zachur filius eius, Semei filius eius.
27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda.
Filii Semei sedecim, et filiæ sex: fratres autem eius non habuerunt filios multos, et universa cognatio non potuit adæquare summam filiorum Iuda.
28 Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali,
Habitaverunt autem in Bersabee, et Molada, et Hasarsuhal,
29 ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi,
et in Bala, et in Asom, et in Tholad,
30 ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi,
et in Bathuel, et in Horma, et in Siceleg,
31 ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.
et in Bethmarchaboth, et in Hasarsusim, et in Bethberai, et in Saarim. Hæ civitates eorum usque ad regem David.
32 Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano,
Villæ quoque eorum: Etam, et Aen, Remmon, et Thochen, et Asan, civitates quinque.
33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali. Eyo gye baasenga era ne bakuuma ebyafaayo by’obujjajjabwe.
Et universi viculi eorum per circuitum civitatum istarum usque ad Baal. Hæc est habitatio eorum, et sedium distributio.
34 Mesobabu, ne Yamulaki, ne Yosa mutabani wa Amonya;
Mosobab quoque et Iemlech, et Iosa filius Amasiæ,
35 ne Yoweeri, ne Yeeku mutabani wa Yosibiya, muzzukulu wa Seraya, muzzukulu wa Asyeri.
et Ioel, et Iehu filius Iosabiæ filii Saraiæ filii Asiel,
36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya, ne Asaya, ne Adyeri, ne Yesimyeri, ne Benaya,
et Elioenai, et Iacoba, et Isuhaia, et Asaia, et Adiel, et Ismiel, et Banaia,
37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.
Ziza quoque filius Sephei filii Allon filii Idaia filii Semri filii Samaia.
38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe. Ennyumba zaabwe ne zeeyongera nnyo.
Isti sunt nominati principes in cognationibus suis, et in domo affinitatum suarum multiplicati sunt vehementer.
39 Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe.
Et profecti sunt ut ingrederentur in Gador usque ad Orientem vallis, et ut quærerent pascua gregibus suis.
40 Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
Inveneruntque pascuas uberes, et valde bonas, et terram latissimam et quietam et fertilem, in qua ante habitaverant de stirpe Cham.
41 Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe.
Hi ergo venerunt, quos supra descripsimus nominatim, in diebus Ezechiæ regis Iuda: et percusserunt tabernacula eorum, et habitatores qui inventi fuerant ibi, et deleverunt eos usque in præsentem diem: habitaveruntque pro eis, quoniam uberrimas pascuas ibidem repererunt.
42 Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi.
De filiis quoque Simeon abierunt in montem Seir viri quingenti, habentes principes Phalthiam et Naariam et Raphaiam et Oziel filios Iesi:
43 Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.
et percusserunt reliquias, quæ evadere potuerant, Amalecitarum, et habitaverunt ibi pro eis usque ad diem hanc.

< 1 Ebyomumirembe 4 >