< 1 Ebyomumirembe 3 >
1 Bano be baana Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni: Omuggulanda ye yali Amunoni gwe yazaala mu Akinoamu Omuyezuleeri; owookubiri ye yali Danyeri gwe yazaala mu Abbigayiri Omukalumeeri;
ヘブロンにて生れたるダビデの子等は左のごとし長子はアムノンといひてヱズレル人アヒノアムより生れ其次はダニエルといひてカルメル人アビガルより生る
2 owookusatu ye yali Abusaalomu gwe yazaala mu Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w’e Gesuli; n’owookuna ye yali Adoniya gwe yazaala mu Kaggisi.
その三はアブサロムといひてゲシユルの王タルマイの女マアカの生る子其四はアドニヤといひてハギテの生る子なり
3 Owookutaano ye yali Sefatiya, gwe yazaala mu Abitali n’ow’omukaaga nga ye Isuleyamu gwe yazaala mu Egula.
その五はシバテヤといひてアビタルより生れ其六はイテレアムといひて妻エグラより生る
4 Bano omukaaga Dawudi be yazaalira mu Kebbulooni, gye yafugira emyaka musanvu n’emyezi mukaaga. Dawudi yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu esatu,
この六人ヘブロンにてかれに生れたりダビデ彼處にて王たりし事七年と六箇月またヱルサレムにて王たりし事三十三年
5 era bano be baana be yazaalira eyo: Simeeyi, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani be yazaala mu Besusebba muwala wa Amiyeeri.
ヱルサレムにて生れたるその子等は左のごとしシメア、シヨバブ、ナタン、ソロモンこの四人はアンミエルの女バテシユアより生る
6 N’abalala baali Ibukali, ne Erisaama, ne Erifereti,
またイブハル、エリシヤマ、エリペレテ
7 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
ノガ、ネペグ、ヤピア
8 ne Erisaama, ne Eriyada, ne Erifereti, bonna awamu mwenda.
エリシヤマ、エリアダ、エリペレテの九人
9 Bano bonna be baali batabani ba Dawudi, obutabala batabani be abalala aba bazaana be. Tamali ye yali mwannyinaabwe.
是みなダビデの子なり此外にまた妾等の生る子等あり彼らの姉妹にタマルといふ者あり
10 Mutabani wa Sulemaani yali Lekobowaamu, ne Abiya nga ye mutabani wa Lekobowaamu, ne Asa nga ye mutabani wa Abiya, ne Yekosafaati nga ye mutabani wa Asa,
ソロモンの子はレハベアムその子はアビヤその子はアサその子はヨシヤパテ
11 ne Yolaamu nga ye mutabani wa Yekosafaati, ne Akaziya nga ye mutabani wa Yolaamu, ne Yowaasi nga ye mutabani wa Akaziya,
その子はヨラムその子はアハジアその子はヨアシ
12 Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi, ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya, ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.
その子はアマジヤその子はアザリヤモの子はヨタム
13 Akazi yali mutabani wa Yosamu, ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi, ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.
その子はアハズその子はヒゼキヤその子はマナセ
14 Amoni yali mutabani wa Manase, ne Yosiya nga ye mutabani wa Amoni.
その子はアモンその子はヨシア
15 Batabani ba Yosiya baali Yokanaani omuggulanda, ne Yekoyakimu ye yali owookubiri, ne Zeddekiya nga wa wakusatu, ne Sallumu nga wakuna.
ヨシアの子等は長子はヨハナンその次はヱホヤキムその三はゼデキヤその四はシヤルム
16 Batabani ba Yekoyakimu baali Yekoniya ne Zeddekiya.
ヱホヤキムの子等はその子はヱコニアその子はゼデキヤ
17 Abaddirira mu lulyo lwa Yekoniya omuwambe be ba: Seyalutyeri mutabani we,
俘擄人ヱコニアの子等はその子シヤルテル
18 ne Malukiramu, ne Pedaya, ne Senazzali, ne Yekamiya, ne Kosama ne Nedabiya.
マルキラム、ペダヤ、セナザル、ヱカミア、ホシヤマ、ネダビヤ
19 Batabani ba Pedaya baali Zerubbaberi ne Simeeyi. Batabani ba Zerubbaberi baali Mesullamu ne Kananiya, ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe.
ペダヤの子等はゼルバベルおよびシメイ、ゼルバベルの子等はメシユラムおよびハナニヤその姉妹にシロミテといふ者あり
20 N’abalala abataano be yazaala baali Kasuba, ne Okeri, ne Berekiya, ne Kasadiya ne Yusubukesedi.
またハシユバ、オヘル、ベレキヤ、ハサデヤ、ユサブヘセデの五人あり
21 Batabani ba Kananiya baali Peratiya ne Yesukaya, ne mutabani wa Yesukaya nga ye Lefaya, ne mutabani wa Lefaya nga ye Alunani, ne mutabani wa Alumani nga ye Obadiya, ne mutabani wa Obadiya nga ye Sekaniya.
ハナニヤの子等はベラテヤおよびヱサヤまたレバヤの子等アルナンの子等オバデヤの子等シカニヤの子等あり
22 Ab’olulyo lwa Sekaniya baali Semaaya mutabani we, ng’abazzukulu be ba Kattusi, ne Igali, ne Baliya, ne Neyaliya, ne Safati. Abazzukulu bonna awamu baali mukaaga.
シカニヤの子はシマヤ、シマヤの子等はハツトシ、イガル、バリア、ネアリア、シヤパテの六人
23 Batabani ba Neyaliya baali Eriwenayi, ne Kizukiya, ne Azulikamu, be baana basatu bonna awamu.
ネアリアの子等はエリヨエナイ、ヒゼキヤ、アズリカムの三人
24 Batabani ba Eriwenayi baali Kodaviya, ne Eriyasibu, ne Peraya, ne Akkubu, ne Yokanaani, ne Deraya ne Anami, be baana musanvu.
エリヨエナイの子等はホダヤ、エリアシブ、ペラヤ、アツクブ、ヨハナン、デラヤ、アナニの七人