< 1 Ebyomumirembe 29 >
1 Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa Mukama Katonda.
大卫王对会众说:“我儿子所罗门是 神特选的,还年幼娇嫩;这工程甚大,因这殿不是为人,乃是为耶和华 神建造的。
2 Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo.
我为我 神的殿已经尽力,预备金子做金器,银子做银器,铜做铜器,铁做铁器,木做木器,还有红玛瑙可镶嵌的宝石,彩石和一切的宝石,并许多汉白玉。
3 Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange;
且因我心中爱慕我 神的殿,就在预备建造圣殿的材料之外,又将我自己积蓄的金银献上,建造我 神的殿,
4 ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe,
就是俄斐金三千他连得、精炼的银子七千他连得,以贴殿墙。
5 n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri Mukama?”
金子做金器,银子做银器,并借匠人的手制造一切。今日有谁乐意将自己献给耶和华呢?”
6 Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa.
于是,众族长和以色列各支派的首领、千夫长、百夫长,并监管王工的官长,都乐意献上。
7 Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda.
他们为 神殿的使用献上金子五千他连得零一万达利克,银子一万他连得,铜一万八千他连得,铁十万他连得。
8 Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya Mukama, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni.
凡有宝石的都交给革顺人耶歇,送入耶和华殿的府库。
9 Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri Mukama. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini.
因这些人诚心乐意献给耶和华,百姓就欢喜,大卫王也大大欢喜。
10 Awo Dawudi n’atendereza Mukama mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti, “Weebazibwe, Ayi Mukama Katonda, Katonda wa jjajjaffe Isirayiri, emirembe n’emirembe.
所以,大卫在会众面前称颂耶和华说:“耶和华—我们的父,以色列的 神是应当称颂,直到永永远远的!
11 Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi, n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda, kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo. Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda, era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
耶和华啊,尊大、能力、荣耀、强胜、威严都是你的;凡天上地下的都是你的;国度也是你的,并且你为至高,为万有之首。
12 Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli, era ggwe ofuga ebintu byonna; omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
丰富尊荣都从你而来,你也治理万物。在你手里有大能大力,使人尊大强盛都出于你。
13 Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
我们的 神啊,现在我们称谢你,赞美你荣耀之名!
14 “Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.
“我算什么,我的民算什么,竟能如此乐意奉献?因为万物都从你而来,我们把从你而得的献给你。
15 Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi.
我们在你面前是客旅,是寄居的,与我们列祖一样。我们在世的日子如影儿,不能长存。
16 Era Ayi Mukama Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo.
耶和华—我们的 神啊,我们预备这许多材料,要为你的圣名建造殿宇,都是从你而来,都是属你的。
17 Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu.
我的 神啊,我知道你察验人心,喜悦正直;我以正直的心乐意献上这一切物。现在我喜欢见你的民在这里都乐意奉献与你。
18 Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe.
耶和华—我们列祖亚伯拉罕、以撒、以色列的 神啊,求你使你的民常存这样的心思意念,坚定他们的心归向你,
19 Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.”
又求你赐我儿子所罗门诚实的心,遵守你的命令、法度、律例,成就这一切的事,用我所预备的建造殿宇。”
20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “Mukama Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga Mukama ne kabaka.
大卫对全会众说:“你们应当称颂耶和华—你们的 神。”于是会众称颂耶和华—他们列祖的 神,低头拜耶和华与王。
21 Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna.
次日,他们向耶和华献平安祭和燔祭,就是献公牛一千只,公绵羊一千只,羊羔一千只,并同献的奠祭;又为以色列众人献许多的祭。那日,他们在耶和华面前吃喝,大大欢乐。
22 Ne baliira era ne banywera mu maaso ga Mukama nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo. Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga Mukama okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona.
他们奉耶和华的命再膏大卫的儿子所罗门作王,又膏撒督作祭司。
23 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Mukama nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera.
于是所罗门坐在耶和华所赐的位上,接续他父亲大卫作王,万事亨通;以色列众人也都听从他。
24 Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani.
众首领和勇士,并大卫王的众子,都顺服所罗门王。
25 Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri.
耶和华使所罗门在以色列众人眼前甚为尊大,极其威严,胜过在他以前的以色列王。
26 Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna.
耶西的儿子大卫作以色列众人的王,
27 Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi.
作王共四十年:在希伯 作王七年,在耶路撒冷作王三十三年。
28 N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira.
他年纪老迈,日子满足,享受丰富、尊荣,就死了。他儿子所罗门接续他作王。
29 Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi,
大卫王始终的事都写在先见撒母耳的书上和先知拿单并先见迦得的书上。
30 era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.
他的国事和他的勇力,以及他和以色列并列国所经过的事都写在这书上。