< 1 Ebyomumirembe 27 >

1 Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
ובני ישראל למספרם ראשי האבות ושרי האלפים והמאות ושטריהם המשרתים את המלך לכל דבר המחלקות הבאה והיצאת חדש בחדש לכל חדשי השנה המחלקת האחת עשרים וארבעה אלף׃
2 Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
על המחלקת הראשונה לחדש הראשון ישבעם בן זבדיאל ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
3 Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka
מן בני פרץ הראש לכל שרי הצבאות לחדש הראשון׃
4 Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.
ועל מחלקת החדש השני דודי האחוחי ומחלקתו ומקלות הנגיד ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
5 Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
שר הצבא השלישי לחדש השלישי בניהו בן יהוידע הכהן ראש ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
6 Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.
הוא בניהו גבור השלשים ועל השלשים ומחלקתו עמיזבד בנו׃
7 Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
הרביעי לחדש הרביעי עשה אל אחי יואב וזבדיה בנו אחריו ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
8 Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
החמישי לחדש החמישי השר שמהות היזרח ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
9 Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
הששי לחדש הששי עירא בן עקש התקועי ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
10 Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
השביעי לחדש השביעי חלץ הפלוני מן בני אפרים ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
11 Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
השמיני לחדש השמיני סבכי החשתי לזרחי ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
12 Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
התשיעי לחדש התשיעי אביעזר הענתתי לבנימיני ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
13 Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
העשירי לחדש העשירי מהרי הנטופתי לזרחי ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
14 Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
עשתי עשר לעשתי עשר החדש בניה הפרעתוני מן בני אפרים ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
15 Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.
השנים עשר לשנים עשר החדש חלדי הנטופתי לעתניאל ועל מחלקתו עשרים וארבעה אלף׃
16 Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali: eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli; eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;
ועל שבטי ישראל לראובני נגיד אליעזר בן זכרי לשמעוני שפטיהו בן מעכה׃
17 eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri; eyafuganga Alooni yali Zadooki;
ללוי חשביה בן קמואל לאהרן צדוק׃
18 eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi; eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;
ליהודה אליהו מאחי דויד ליששכר עמרי בן מיכאל׃
19 eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya; eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri;
לזבולן ישמעיהו בן עבדיהו לנפתלי ירימות בן עזריאל׃
20 eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya; eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;
לבני אפרים הושע בן עזזיהו לחצי שבט מנשה יואל בן פדיהו׃
21 eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya; eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri;
לחצי המנשה גלעדה ידו בן זכריהו לבנימן יעשיאל בן אבנר׃
22 n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu. Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri.
לדן עזראל בן ירחם אלה שרי שבטי ישראל׃
23 Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu.
ולא נשא דויד מספרם למבן עשרים שנה ולמטה כי אמר יהוה להרבות את ישראל ככוכבי השמים׃
24 Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.
יואב בן צרויה החל למנות ולא כלה ויהי בזאת קצף על ישראל ולא עלה המספר במספר דברי הימים למלך דויד׃
25 Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka, ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.
ועל אצרות המלך עזמות בן עדיאל ועל האצרות בשדה בערים ובכפרים ובמגדלות יהונתן בן עזיהו׃
26 Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.
ועל עשי מלאכת השדה לעבדת האדמה עזרי בן כלוב׃
27 Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu, ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge.
ועל הכרמים שמעי הרמתי ועל שבכרמים לאצרות היין זבדי השפמי׃
28 Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba; ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta.
ועל הזיתים והשקמים אשר בשפלה בעל חנן הגדרי ועל אצרות השמן יועש׃
29 Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni, ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.
ועל הבקר הרעים בשרון שטרי השרוני ועל הבקר בעמקים שפט בן עדלי׃
30 Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira, ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi.
ועל הגמלים אוביל הישמעלי ועל האתנות יחדיהו המרנתי׃
31 Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga. Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.
ועל הצאן יזיז ההגרי כל אלה שרי הרכוש אשר למלך דויד׃
32 Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi, ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.
ויהונתן דוד דויד יועץ איש מבין וסופר הוא ויחיאל בן חכמוני עם בני המלך׃
33 Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka, ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.
ואחיתפל יועץ למלך וחושי הארכי רע המלך׃
34 Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi. Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.
ואחרי אחיתפל יהוידע בן בניהו ואביתר ושר צבא למלך יואב׃

< 1 Ebyomumirembe 27 >