< 1 Ebyomumirembe 25 >
1 Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:
2 Ku batabani ba Asafu: Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.
3 Ku batabani ba Yedusuni: Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.
4 Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka: Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi.
5 Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.
6 Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka.
7 Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana.
8 Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka.
9 Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri; akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
10 akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
11 akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
12 akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
13 ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
14 ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
15 ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
16 ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
17 ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
18 ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
19 ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
20 ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
21 ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
22 ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
23 ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
24 ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
25 ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
26 ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
27 ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
28 ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
29 ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
30 ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;
31 ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri.