< 1 Ebyomumirembe 24 >
1 Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti: Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
Quant aux enfants d'Aaron, voici leurs classes: Fils d'Aaron: Nadab, Abihu, Éléazar et Ithamar.
2 Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona.
Mais Nadab et Abihu moururent avant leur père, et ils n'eurent point de fils; et Éléazar et Ithamar exercèrent la sacrificature.
3 Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe.
Or David les distribua, selon leur classement dans leur service, Tsadok d'entre les enfants d'Éléazar, et Achimélec d'entre les enfants d'Ithamar.
4 Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba.
Il se trouva parmi les enfants d'Éléazar plus de chefs que parmi les enfants d'Ithamar, et on les partagea ainsi: pour les enfants d'Éléazar seize chefs de maisons de pères, et pour les enfants d'Ithamar, huit chefs de maisons de pères.
5 Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
On les classa par le sort, les uns avec les autres; car les chefs du sanctuaire et les chefs de la maison de Dieu étaient des enfants d'Éléazar et des enfants d'Ithamar.
6 Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
Shémaja, le scribe, fils de Nathanael, de la tribu de Lévi, les inscrivit devant le roi et les princes, devant Tsadok, le sacrificateur, et Achimélec, fils d'Abiathar, et devant les chefs des pères des sacrificateurs et des Lévites. Une maison de père était tirée pour Éléazar, et une était tirée ensuite pour Ithamar.
7 Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu, n’akokubiri ku Yedaya,
Le premier sort échut à Jéhojarib; le second, à Jédaeja;
8 n’akokusatu ku Kalimu, n’akokuna ku Seyolimu,
Le troisième, à Harim; le quatrième, à Séorim;
9 n’akookutaano ku Malukiya, n’ak’omukaaga ku Miyamini,
Le cinquième, à Malkija; le sixième, à Mijamin;
10 n’ak’omusanvu ku Kakkozi, n’ak’omunaana ku Abiya,
Le septième, à Kots; le huitième, à Abija;
11 n’ak’omwenda ku Yesuwa, n’ak’ekkumi ku Sekaniya,
Le neuvième, à Jeshua; le dixième, à Shécania;
12 n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu, n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu,
Le onzième, à Éliashib; le douzième, à Jakim;
13 n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa, n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu,
Le treizième, à Huppa; le quatorzième, à Jéshébeab;
14 ak’ekkumi noobutaano ku Biruga, n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri,
Le quinzième, à Bilga; le seizième, à Immer;
15 n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri, n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi,
Le dix-septième, à Hézir; le dix-huitième, à Pitsets;
16 n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya, n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri,
Le dix-neuvième, à Péthachia; le vingtième, à Ézéchiel;
17 ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini, n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,
Le vingt et unième, à Jakin; le vingt-deuxième, à Gamul;
18 n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya, n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya.
Le vingt-troisième, à Délaja; le vingt-quatrième, à Maazia.
19 Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
Tel fut leur classement pour leur service, pour entrer dans la maison de l'Éternel, selon leur règle, établie par Aaron, leur père, comme l'Éternel, le Dieu d'Israël, le lui avait ordonné.
20 Bazzukulu ba Leevi abalala baali: okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri; okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.
Quant au reste des enfants de Lévi, voici leurs chefs: Des fils d'Amram: Shubaël; et des fils de Shubaël: Jechdéja;
21 Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.
De Réchabia, des fils de Réchabia: le chef Jishija.
22 Ku Bayizukaali Seromosi, ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.
Des Jitseharites: Shélomoth; des fils de Shélomoth: Jachath.
23 Ku batabani ba Kebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
Fils de Hébron: Jérija, Amaria le second, Jachaziel le troisième, Jékameam le quatrième.
24 Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka; ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.
Fils d'Uziel: Mica; des fils de Mica: Shamir.
25 Muganda wa Mikka ye yali Issiya, ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.
Frère de Mica: Jishija; des fils de Jishija: Zacharie.
26 Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.
Fils de Mérari: Machli et Mushi, et les fils de Jaazija, son fils.
27 Batabani ba Merali, mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
Fils de Mérari, de Jaazija, son fils: Shoham, Zaccur et Ibri.
28 Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
De Machli: Éléazar qui n'eut point de fils;
29 Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
De Kis, les fils de Kis: Jérachméel.
30 Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi. Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Fils de Mushi: Machli, Éder et Jérimoth. Ce sont là les fils des Lévites, selon les maisons de leurs pères.
31 Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.
Eux aussi, comme leurs frères, les enfants d'Aaron, ils tirèrent au sort devant le roi David, Tsadok et Achimélec, et les chefs des pères des sacrificateurs et des Lévites. Le chef de maison de pères tira tout comme le moindre de ses frères.