< 1 Ebyomumirembe 23 >
1 Awo Dawudi bwe yawangaala ennyo n’akaddiwa emyaka mingi n’afuula Sulemaani mutabani we okuba kabaka wa Isirayiri.
igitur David senex et plenus dierum regem constituit Salomonem filium suum super Israhel
2 Era yakuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri bonna, wamu ne bakabona n’Abaleevi.
et congregavit omnes principes Israhel et sacerdotes atque Levitas
3 Abaleevi abaali baweza emyaka amakumi asatu n’okusingawo baabalibwa, n’omuwendo gw’abasajja bonna gwali emitwalo esatu mu kanaana.
numeratique sunt Levitae a triginta annis et supra et inventa sunt triginta octo milia virorum
4 Awo Dawudi n’agamba nti, “Ku abo emitwalo ebiri mu enkumi nnya be banaalabiriranga omulimu ogwa yeekaalu ya Mukama, ate kakaaga banaabanga bakungu n’abalamuzi.
ex his electi sunt et distributi in ministerium domus Domini viginti quattuor milia praepositorum autem et iudicum sex milia
5 Enkumi nnya banaabanga baggazi, ate enkumi ennya abasigaddewo be banatenderezanga Mukama n’ebivuga bye nateekateeka ku lw’okutendereza.”
porro quattuor milia ianitores et totidem psaltae canentes Domino in organis quae fecerat ad canendum
6 Awo Dawudi n’agabanyamu Abaleevi mu bibinja ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
et distribuit eos David per vices filiorum Levi Gersom videlicet et Caath et Merari
7 Abaana ba Gerusoni baali Ladani ne Simeeyi.
Gersom Leedan et Semei
8 Batabani ba Ladani baali Yekyeri omukulu, ne Zesamu, ne Yoweeri, basatu bonna awamu.
filii Leedan princeps Ieihel et Zetham et Iohel tres
9 Batabani ba Simeeyi baali Seromisi, ne Kasiyeri, ne Kalani, basatu bonna awamu, era be baali abakulu b’ennyumba ya Ladani.
filii Semei Salomith et Ozihel et Aran tres isti principes familiarum Leedan
10 Batabani ba Simeeyi omulala Yakasi, ne Zina, ne Yewusi ne Beriya, be bana bonna awamu.
porro filii Semei Ieeth et Ziza et Iaus et Baria isti filii Semei quattuor
11 Yakasi ye yali omukulu, ne Ziza ye yali owookubiri, naye Yewusi be Beriya tebaalina baana noolwekyo baabalibwa ng’ekika kimu era nga bakola omulimu gwe gumu.
erat autem Ieeth prior Ziza secundus porro Iaus et Baria non habuerunt plurimos filios et idcirco in una familia unaque domo conputati sunt
12 Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri, be bana.
filii Caath Amram et Isaar Hebron et Ozihel quattuor
13 Batabani ba Amulaamu baali Alooni ne Musa. Alooni yayawulibwa, ye n’abazzukulu be emirembe gyonna, atukuzenga ebintu ebitukuvu ennyo, okuwangayo ssaddaaka eri Mukama, n’okumuweerezanga, era n’okusabanga omukisa mu linnya lye emirembe gyonna.
filii Amram Aaron et Moses separatusque est Aaron ut ministraret in sancto sanctorum ipse et filii eius in sempiternum et adoleret incensum Domino secundum ritum suum ac benediceret nomini eius in perpetuum
14 Batabani ba Musa omusajja wa Katonda babalibwa nga ba mu kika kya Leevi.
Mosi quoque hominis Dei filii adnumerati sunt in tribu Levi
15 Batabani ba Musa baali Gerusomu ne Eryeza.
filii Mosi Gersom et Eliezer
16 Mu bazzukulu ba Gerusomu, Sebweri ye yali omukulu.
filii Gersom Subuhel primus
17 Mu bazzukulu ba Eryeza, Lekabiya ye yali omukulu. Eryeza teyalina baana balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi ddala.
fuerunt autem filii Eliezer Roobia primus et non erant Eliezer filii alii porro filii Roobia multiplicati sunt nimis
18 Mu batabani ba Izukali, Seromisi ye yali omukulu.
filii Isaar Salumith primus
19 Mu batabani ba Kebbulooni, Yeriya omukulu, Amaliya nga wakubiri, Yakaziyeri nga wakusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
filii Hebron Ieriau primus Amarias secundus Iazihel tertius Iecmaam quartus
20 Mu batabani ba Wuziyeeri, Mikka ye yali omukulu, ne Issiya nga ye wookubiri.
filii Ozihel Micha primus Iesia secundus
21 Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Batabani ba Makuli baali Eriyazaali ne Kiisi.
filii Merari Mooli et Musi filii Mooli Eleazar et Cis
22 Eriyazaali n’afa nga tazadde baana babulenzi wabula aboobuwala bokka. Baganda baabwe, batabani ba Kiisi be babawassa.
mortuus est autem Eleazar et non habuit filios sed filias acceperuntque eas filii Cis fratres earum
23 Batabani ba Musi baali Makuli, Ederi ne Yeremosi be basatu.
filii Musi Mooli et Eder et Ierimuth tres
24 Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama.
hii filii Levi in cognationibus et familiis suis principes per vices et numerum capitum singulorum qui faciebant opera ministerii domus Domini a viginti annis et supra
25 Dawudi yali agambye nti, “Olw’okuba Mukama Katonda wa Isirayiri, awadde abantu be emirembe, era abeera mu Yerusaalemi emirembe gyonna,
dixit enim David requiem dedit Dominus Deus Israhel populo suo et habitationem Hierusalem usque in aeternum
26 Abaleevi tekikyabagwaniranga kusitula eweema oba ebintu ebikozesebwa mu kuweereza.”
nec erit officii Levitarum ut ultra portent tabernaculum et omnia vasa eius ad ministrandum
27 Nga bagoberera ebigambo bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi abaabalibwa baali ba myaka amakumi abiri n’okusingawo.
iuxta praecepta quoque David novissima supputabitur numerus filiorum Levi a viginti annis et supra
28 Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambanga bazzukulu ba Alooni mu buweereza obwa yeekaalu ya Mukama, nga bavunaanyizibwa mu mpya ne mu bisenge, ne mu kutukuzanga ebintu byonna ebitukuvu, n’okukola emirimu emirala mu nnyumba ya Katonda.
et erunt sub manu filiorum Aaron in cultum domus Domini in vestibulis et in exedris et in loco purificationis et in sanctuario et in universis operibus ministerii templi Domini
29 Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo.
sacerdotes autem super panes propositionis et ad similae sacrificium et ad lagana et azyma et sartaginem et ad ferventem similam et super omne pondus atque mensuram
30 Be baayimiriranga okwebazanga n’okutenderezanga Mukama buli nkya na buli akawungeezi,
Levitae vero ut stent mane ad confitendum et canendum Domino similiterque ad vesperam
31 ne mu kuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebyaweebwangayo ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga ezaateekebwawo. Kyabagwaniranga okuweerezanga mu maaso ga Mukama obutayosa, mu mpalo zaabwe, nga bwe balagibwa.
tam in oblatione holocaustorum Domini quam in sabbatis et kalendis et sollemnitatibus reliquis iuxta numerum et caerimonias uniuscuiusque rei iugiter coram Domino
32 Awo Abaleevi ne bakolanga emirimu gyabwe mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne mu Kifo Ekitukuvu, nga bayamba baganda baabwe bazzukulu ba Alooni, okuweerezanga okw’omu yeekaalu ya Mukama.
et custodiant observationes tabernaculi foederis et ritum sanctuarii et observationem filiorum Aaron fratrum suorum ut ministrent in domo Domini