< 1 Ebyomumirembe 22 >
1 Awo Dawudi n’ayogera nti, “Wano we wanaabeeranga ennyumba ya Mukama Katonda, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku lwa Isirayiri.”
大卫说:“这就是耶和华 神的殿,为以色列人献燔祭的坛。”
2 Dawudi n’alagira okukuŋŋaanya bannaggwanga abaali mu Isirayiri, era mu bo n’alondamu abatemi b’amayinja, bagabajje nga kuzimbisa nnyumba ya Mukama.
大卫吩咐聚集住以色列地的外邦人,从其中派石匠凿石头,要建造 神的殿。
3 Yateekawo ebyuma bingi olw’okukola emisumaali egy’enzigi egya wankaaki, n’olwebigatta, n’ebikomo bingi ebyayinga obungi n’obuzito.
大卫预备许多铁做门上的钉子和钩子,又预备许多铜,多得无法可称;
4 Yawaayo n’emivule egitabalika, Abazidoni n’Abatuulo gye baamuleetera.
又预备无数的香柏木,因为西顿人和泰尔人给大卫运了许多香柏木来。
5 Dawudi n’ayogera nti, “Sulemaani mutabani wange akyali mwana muto n’obumanyirivu bwe butono. Ennyumba egenda okuzimbirwa Mukama egwana okuba ey’ekitiibwa ekinene ennyo, ng’eyatiikirira era ng’etenderezebwa mu mawanga gonna. Noolwekyo nzija kuteekateeka ebinaagizimba.” Era Dawudi yakola entegeka nnene ddala nga tannaba kufa.
大卫说:“我儿子所罗门还年幼娇嫩,要为耶和华建造的殿宇必须高大辉煌,使名誉荣耀传遍万国;所以我要为殿预备材料。”于是,大卫在未死之先预备的材料甚多。
6 Awo n’ayita Sulemaani mutabani we n’amukuutira okuzimbira Mukama Katonda wa Isirayiri ennyumba.
大卫召了他儿子所罗门来,嘱咐他给耶和华—以色列的 神建造殿宇,
7 Dawudi n’agamba Sulemaani nti, “Mwana wange, kyali mu mutima gwange okuzimba ennyumba ku lwa Mukama Katonda wange.
对所罗门说:“我儿啊,我心里本想为耶和华—我 神的名建造殿宇,
8 Naye ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi, era olwanye entalo nnyingi. Tolizimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oyiye omusaayi mungi mu maaso gange.
只是耶和华的话临到我说:‘你流了多人的血,打了多次大仗,你不可为我的名建造殿宇,因为你在我眼前使多人的血流在地上。
9 Laba, omwana owoobulenzi alizaalibwa gy’oli, era aliba omusajja ow’emirembe, ne muwa emirembe eri abalabe bonna enjuuyi zonna. Aliyitibwa Sulemaani. Ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu ku mulembe gwe.
你要生一个儿子,他必作太平的人;我必使他安静,不被四围的仇敌扰乱。他的名要叫所罗门。他在位的日子,我必使以色列人平安康泰。
10 Oyo ye alizimba ennyumba ku lw’erinnya lyange. Aliba mutabani wange, nange ndiba kitaawe. Era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe mu Isirayiri emirembe gyonna.’
他必为我的名建造殿宇。他要作我的子;我要作他的父。他作以色列王;我必坚定他的国位,直到永远。’
11 “Kaakano, mwana wange, Mukama abeere naawe, era olabe omukisa, ozimbire Mukama Katonda wo ennyumba, nga bwe yayogera.
我儿啊,现今愿耶和华与你同在,使你亨通,照他指着你说的话,建造耶和华—你 神的殿。
12 Mukama akuwe amagezi ag’okwawula n’okutegeera ng’okulembera Isirayiri, olyoke okuumenga amateeka ga Mukama Katonda wo.
但愿耶和华赐你聪明智慧,好治理以色列国,遵行耶和华—你 神的律法。
13 Olwo onoolaba omukisa bw’oneekuumanga ebiragiro n’amateeka Mukama ge yawa Musa ku lwa Isirayiri. Beera n’amaanyi era gguma omwoyo, totya so totekemuka.
你若谨守遵行耶和华借摩西吩咐以色列的律例典章,就得亨通。你当刚强壮胆,不要惧怕,也不要惊惶。
14 “Mu kutegana okungi ntegekedde yeekaalu ya Mukama ttani eza zaabu enkumi ssatu mu bina mu ataano, ne ttani eza ffeeza emitwalo esatu mu enkumi nnya mu bitaano; n’ebikomo n’ebyuma bingi nnyo ebitapimika muwendo gwabyo, n’embaawo n’amayinja. Ate okyayinza n’okwongerako.
我在困难之中为耶和华的殿预备了金子十万他连得,银子一百万他连得,铜和铁多得无法可称;我也预备了木头、石头,你还可以增添。
15 Olina abakozi bangi; abatemi b’amayinja, n’abazimbi, n’ababazzi, n’abantu bonna abalina obumanyirivu mu kuweesa
你有许多匠人,就是石匠、木匠,和一切能做各样工的巧匠,
16 zaabu ne ffeeza, n’ebikomo, n’ekyuma. Kaakano tandikirawo okukola era Mukama akuluŋŋamye.”
并有无数的金银铜铁。你当起来办事,愿耶和华与你同在。”
17 Awo Dawudi n’alagira abakulembeze bonna aba Isirayiri okuyamba mutabani we Sulemaani ng’agamba nti,
大卫又吩咐以色列的众首领帮助他儿子所罗门,说:
18 “Mukama Katonda wammwe tali wamu nammwe? Era tabawadde okuwummula n’emirembe ku njuyi zonna? Agabudde ababeera mu nsi mu mukono gwange, era ensi ekkakkanye eri Mukama n’eri abantu be.
“耶和华—你们的 神不是与你们同在吗?不是叫你们四围都平安吗?因他已将这地的居民交在我手中,这地就在耶和华与他百姓面前制伏了。
19 Kaakano mumalirire mu mitima gyammwe ne mu mmeeme zammwe okunoonya Mukama Katonda wammwe. Mutandike okuzimba awatukuvu wa Mukama, n’oluvannyuma muleete essanduuko ey’endagaano ya Mukama, n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda mu yeekaalu eneezimbibwa ku lw’erinnya lya Mukama.”
现在你们应当立定心意,寻求耶和华—你们的 神;也当起来建造耶和华 神的圣所,好将耶和华的约柜和供奉 神的圣器皿都搬进为耶和华名建造的殿里。”