< 1 Ebyomumirembe 21 >
1 Awo Setaani n’atandika okulwana ne Isirayiri, Dawudi n’asendebwasendebwa okubala Abayisirayiri.
2 Dawudi n’alagira Yowaabu, n’abaduumizi b’eggye nti, “Mugende mubale Abayisirayiri okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, mukomewo, muntegeeze bwe beenkana.”
3 Naye Yowaabu n’amuddamu nti, “Mukama ayongere ku bantu be, n’okusingawo emirundi kikumi. Mukama wange kabaka, bonna si baweereza ba mukama wange, kale kiki ekimukoza kino? Lwaki aleetera Isirayiri emitawaana?”
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga ebya Yowaabu, era Yowaabu n’agenda n’abuna Isirayiri yonna, n’akomawo e Yerusaalemi.
5 Yowaabu n’ategeeza Dawudi omuwendo gw’abasajja abalwanyi. Mu Isirayiri mwalimu abasajja abalwanyi akakadde kamu n’emitwalo kkumi, ng’okwo kw’otadde emitwalo amakumi ana mu emitwalo musanvu abaali mu Yuda.
6 Naye teyabalirako Baleevi n’Ababenyamini, kubanga ekiragiro kya kabaka tekyasanyusa Yowaabu.
7 Ekikolwa ekyo ky’okubala abantu, kyali kya kivve mu maaso ga Katonda era n’abonereza Isirayiri.
8 Awo Dawudi n’agamba Katonda nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekikolwa ekyo. Kaakano, nkusaba ogyewo obutali butuukirivu obw’omuddu wo, kubanga nkoze ekintu eky’obusirusiru ennyo.”
9 Mukama Katonda n’ayogera ne nnabbi Gaadi eyaluŋŋamyanga Dawudi nti,
10 “Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: nkuteekeddewo eby’okulondako bisatu, weerobozeeko ekimu kye nnaakukola.’”
11 Awo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Weerobozeeko ku bisatu:
12 emyaka esatu egy’enjala, oba emyezi esatu egy’okumalibwawo abalabe bo, oba ennaku ssatu ez’ekitala kya Mukama Katonda, kawumpuli agwe mu nsi, ne malayika wa Mukama azikirize abantu mu bitundu byonna ebya Isirayiri.’ Kale nno, ssalawo kye mbanziramu oyo antumye.”
13 Dawudi n’addamu Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo. Wakiri ka ngwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi, okusinga okugwa mu mukono gw’omuntu.”
14 Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri, abantu emitwalo musanvu ne bafa.
15 Ate era Katonda n’atuma malayika okuzikiriza Yerusaalemi. Naye Mukama bwe yalaba ebyo byonna, n’alumwa nnyo olw’ebyo byonna, n’alagira malayika eyali azikiriza abantu nti, “Ekyo kimala! Zzaayo omukono gwo.” Mu kiseera ekyo malayika wa Mukama Katonda yali ayimiridde kumpi ne gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
16 Dawudi n’ayimusa amaaso ge, n’alaba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde wakati w’ensi n’eggulu ng’asowodde ekitala mu mukono gwe, nga kigoloddwa ku Yerusaalemi. Awo Dawudi n’abakadde, nga bambadde ebibukutu ne bavuunama amaaso gaabwe.
17 Dawudi n’agamba Katonda nti, “Si nze nalagira abantu babalibwe? Nze nnyonoonye, era nkoze ebibi. Bano ndiga, kiki kye bakoze? Ayi Mukama Katonda wange, ombonereze nze ne nnyumba yange, naye toganya kawumpuli ono kusigala ku bantu bo.”
18 Awo malayika wa Mukama Katonda n’alagira Gaadi okugamba Dawudi ayambuke, azimbire Mukama ekyoto ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
19 Awo Dawudi n’agondera ekigambo Gaadi kye yayogera mu linnya lya Mukama Katonda, n’ayambuka.
20 Laba Olunaani bwe yali ng’awuula eŋŋaano, n’akyuka n’alaba malayika wa Mukama, ne batabani be abana abaaliwo ne beekweka.
21 Awo Dawudi bwe yasembera okumpi ne Olunaani we yali, Olunaani n’amulaba, n’ava mu gguuliro, n’amuvuunamira.
22 Dawudi n’amugamba nti, “Mpa ekifo egguuliro lyo mwe liri, nzimbire Mukama ekyoto, nange n’asasula omuwendo gwakyo gwonna, kawumpuli ave ku bantu.”
23 Olunaani n’addamu Dawudi nti, “Kitwale! Mukama wange kabaka akole nga bw’asiima. Laba, nzija kukuwa ziseddume z’onoowaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebintu ebiwuula ng’enku, n’eŋŋaano okuba ekiweebwayo eky’obutta. Ebyo byonna nzija kubikuwa.”
24 Naye Dawudi n’agamba Olunaani nti, “Nedda, maliridde okusasula omuwendo omujjuvu. Sijja kutwalira Mukama ekikyo, wadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bye sisasulidde.”
25 Awo Dawudi n’agula ekifo kya Olunaani kilo musanvu eza zaabu.
26 Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto mu kifo ekyo, era n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, ng’akoowoola Mukama, era Mukama n’amuddamu n’omuliro okuva mu ggulu ogwaka ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
27 Awo Mukama Katonda n’alagira malayika okuzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo.
28 Okuva mu kiseera ekyo, Mukama bwe yaddamu Dawudi ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi, Dawudi n’aweerangayo ssaddaaka eyo.
29 Mu biro ebyo Eweema ya Mukama, Musa gye yali azimbidde mu ddungu, n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa byali mu kifo ekigulumivu e Gibyoni.
30 Naye Dawudi yali tasobola kugendayo kwebuuza ku Katonda, kubanga yali atya ekitala kya malayika wa Mukama Katonda.