< 1 Ebyomumirembe 2 >
1 Bano be baali batabani ba Isirayiri: Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni,
2 ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.
3 Batabani ba Yuda baali Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani. Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.
4 Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.
5 Batabani ba Perezi baali Kezulooni ne Kamuli.
6 Batabani ba Zeera baali Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.
7 Mutabani wa Kalumi ye yali Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.
8 Mutabani wa Esani ye yali Azaliya.
9 Batabani ba Kezulooni baali Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.
10 Laamu n’azaala Amminadaabu, Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.
11 Nakusoni n’azaala Saluma, ne Saluma n’azaala Bowaazi,
12 Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.
13 Yese n’azaala Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri, Simeeyi nga ye wookusatu,
14 Nesaneeri nga ye wookuna, Laddayi nga ye wookutaano,
15 Ozemu n’aba ow’omukaaga, Dawudi nga ye wa musanvu.
16 Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
17 Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi. Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
19 Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21 Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22 Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
24 Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25 Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya.
26 Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27 Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.
28 Batabani ba Onamu be baali Sammayi ne Yada, ate batabani ba Sammayi nga be ba Nadabu ne Abisuli.
29 Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30 Batabani ba Nadabu be baali Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.
31 Mutabani wa Appayimu yali Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.
32 Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.
33 Batabani ba Yonasaani be baali Peresi ne Zaza. Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.
34 Sesani ye yalina baana ba buwala bokka, ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.
35 Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 Attayi n’azaala Nasani, ne Nasani n’azaala Zabadi.
37 Zabadi n’azaala Efulali, ne Efulali n’azaala Obedi.
38 Obedi n’azaala Yeeku, ne Yeeku n’azaala Azaliya.
39 Azaliya n’azaala Kerezi, ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40 Ereyaasa n’azaala Sisumaayi, ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.
41 Sallumu n’azaala Yekamiya, ne Yekamiya n’azaala Erisaama.
42 Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri, ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu. Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
43 Batabani ba Kebbulooni baali Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.
44 Sema n’azaala Lakamu, ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu. Lekemu n’azaala Sammayi.
45 Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni, ne Mawoni n’azaala Besuzuli.
46 Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira Kalani, ne Moza ne Gazezi. Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.
47 Batabani ba Yadayi baali Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.
48 Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira Seberi ne Tirukaana.
49 Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna. Seva n’azaala Makubena ne Gibea. Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
50 Abo be baali bazzukulu ba Kalebu. Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda, Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu,
51 Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52 Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi,
53 n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 Batabani ba Saluma baali Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli,
55 n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.