< 1 Ebyomumirembe 18 >
1 Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.
2 Dawudi n’awangula n’Abamowaabu, ne bafuuka baddu be, ne bamuwanga obusuulu.
3 Ate era Dawudi yalwanagana ne Kadalezeri kabaka w’e Zoba okutuukira ddala e Kamasi, bwe yali ng’anyweza okufuga kwe ku nsalo ey’Omugga Fulaati.
4 Dawudi n’amuwambako amagaali lukumi, n’abeebagala embalaasi abasajja kasanvu, n’abasajja abeebigere emitwalo ebiri. Embalaasi endala zonna ez’amagaali n’azitema enteega, ne yeerekerawo kikumi.
5 Awo Abasuuli ab’e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w’e Zoba, Dawudi n’abattamu abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri.
6 N’ateeka olusiisira lw’eggye lye mu Busuuli e Ddamasiko, era Abasuuli baafuuka baweereza be, ne bamutonera ebirabo. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yatabaalanga.
7 Dawudi n’atwala engabo eza zaabu abaserikale ba Kadalezeri ze baasitulanga, n’azireeta e Yerusaalemi.
8 Mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga ebyali ebya Kadadezeri n’aggyayo ebikomo bingi nnyo, era ebyo Sulemaani bye yakolamu ennyanja ey’ekikomo, n’empagi, n’ebintu eby’ebikomo ebirala.
9 Awo kabaka Toowu ow’e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri, kabaka w’e Zoba
10 n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.
11 Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki.
12 Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
13 Era yateeka olusiisira lw’abaserikale mu Edomu, era aba Edomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi mu bifo byonna gye yatabaalanga.
14 Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, mu bwenkanya ne mu butuukirivu abantu be bonna.
15 Yowaabu mutabani wa Seruyiya ye yali omuduumizi w’eggye; Yekosafaati mutabani wa Akirudi nga ye mujjukiza;
16 Zadooki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Savusa ye yali muwandiisi;
17 Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yakuliranga Abakeresi n’Abaperesi; ate batabani ba Dawudi baali bakungu bakulu ddala era nga babeera ku lusegere lwa kabaka.