< 1 Ebyomumirembe 16 >
1 Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda.
2 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama,
3 era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
4 Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.
5 Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa.
6 Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
7 Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:
8 Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mumanyise ebikolwa bye mu mawanga.
9 Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza mwogere ku byamagero bye byonna.
10 Erinnya lye ligulumizibwe, n’emitima gy’abo abanoonya Mukama gisanyuke.
11 Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge; munoonye amaaso ge ennaku zonna.
12 Mujjukire ebyewuunyo by’akoze, n’ebyamagero bye, n’ensala ye ey’emisango gy’alangirira,
13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be, mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
14 Ye Mukama Katonda waffe; okusalawo kwe okw’emisango kubuna ensi yonna.
15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, n’ekigambo kye yalagira, okutuusa ku mirembe olukumi,
16 gye yakola ne Ibulayimu, era n’agirayiza Isaaka.
17 N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo, n’eri Isirayiri ng’endagaano ey’olubeerera,
18 ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”
19 Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono, era omutono ddala, nga batambuze mu yo,
20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala, n’okuva mu bwakabaka obumu okudda mu bantu abalala.
21 Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe:
22 ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so bannabbi bange temubakolanga akabi.”
23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna; mulangirire obulokozi bwe buli lunaku.
24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga, n’ebikolwa bye ebyamagero mu bantu bonna.
25 Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa; era atiibwenga okusinga bakatonda abalala bonna.
26 Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi, naye Mukama ye yakola eggulu.
27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge, amaanyi n’essanyu biri wamu naye.
28 Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna, mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
29 Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye; muleete ekiweebwayo, mujje mu maaso ge; musinze Mukama mu kitiibwa ky’obutukuvu bwe.
30 Mukankane mu maaso ge ensi yonna, weewaawo ensi nywevu, teyinza kusesetulwa.
31 Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze; boogere mu mawanga nti, “Mukama afuga!”
32 Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna, n’ennimiro zijaguze, n’okujjula kwazo!
33 Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba, ginaayimbira Mukama n’essanyu, kubanga akomawo okusalira ensi omusango.
34 Weebaze Mukama kubanga mulungi; era okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
35 Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; tukuŋŋaanye, otulokole eri amawanga, twebaze erinnya lyo ettukuvu, era tujagulize mu ttendo lyo.”
36 Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri ow’emirembe n’emirembe. Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”
37 Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.
38 Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.
39 Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni
40 okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.
41 Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.
42 Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.
43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.