< 1 Ebyomumirembe 14 >
1 Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
Hiram king of Tyre sent messengers to David with cedar trees, masons, and carpenters, to build him a house.
2 Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
David perceived that the LORD had established him king over Israel, for his kingdom was highly exalted, for his people Israel’s sake.
3 Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala.
David took more wives in Jerusalem, and David became the father of more sons and daughters.
4 Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
These are the names of the children whom he had in Jerusalem: Shammua, Shobab, Nathan, Solomon,
5 ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti,
Ibhar, Elishua, Elpelet,
6 ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
Nogah, Nepheg, Japhia,
7 ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.
Elishama, Beeliada, and Eliphelet.
8 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala.
When the Philistines heard that David was anointed king over all Israel, all the Philistines went up to seek David; and David heard of it, and went out against them.
9 Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu;
Now the Philistines had come and made a raid in the valley of Rephaim.
10 Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
David enquired of God, saying, “Shall I go up against the Philistines? Will you deliver them into my hand?” The LORD said to him, “Go up; for I will deliver them into your hand.”
11 Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
So they came up to Baal Perazim, and David defeated them there. David said, God has broken my enemies by my hand, like waters breaking out. Therefore they called the name of that place Baal Perazim.
12 Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.
They left their gods there; and David gave a command, and they were burnt with fire.
13 Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu.
The Philistines made another raid in the valley.
14 Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda.
David enquired again of God; and God said to him, “You shall not go up after them. Turn away from them, and come on them opposite the mulberry trees.
15 Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
When you hear the sound of marching in the tops of the mulberry trees, then go out to battle; for God has gone out before you to strike the army of the Philistines.”
16 Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
David did as God commanded him; and they attacked the army of the Philistines from Gibeon even to Gezer.
17 Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.
The fame of David went out into all lands; and the LORD brought the fear of him on all nations.