< 1 Ebyomumirembe 13 >
1 Dawudi n’ateesa n’abaduumizi be ab’enkumi n’ab’ekikumi.
И советовался Давид с тысяченачальниками, сотниками и со всеми вождями,
2 N’ayogera eri ekkuŋŋaaniro ly’abantu bonna aba Isirayiri nti, “Bwe munaasiima, era nga kwe kusiima kwa Mukama Katonda waffe, ekigambo kitwalibwe era kibune eri baganda baffe mu nsi yonna eya Isirayiri, n’eri bakabona, n’Abaleevi ababeera nabo mu bibuga byabwe ne mu malundiro, bajje batwegatteko.
и сказал Давид всему собранию Израильтян: если угодно вам, и если на то будет воля Господа Бога нашего, пошлем повсюду к прочим братьям нашим, по всей земле Израильской, и вместе с ними к священникам и левитам, в города и селения их, чтобы они собрались к нам;
3 Tukomyewo essanduuko ya Katonda waffe, kubanga tetwamwebuuzangako mu mirembe gya Sawulo.”
и перенесем к себе ковчег Бога нашего, потому что во дни Саула мы не обращались к нему.
4 Olukuŋŋaana lwonna ne likikiriziganyako, kubanga ky’alabika nga kigambo kirungi mu maaso g’abantu bonna.
И сказало все собрание: “да будет так”, потому что это дело всему народу казалось справедливым.
5 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna okuva ku Sikoli omugga gw’e Misiri okutuuka ku wayingirirwa e Kamasi, n’aleeta essanduuko ya Katonda okugiggya e Kiriyasuyalimu.
Так собрал Давид всех Израильтян, от Шихора Египетского до входа в Емаф, чтобы перенести ковчег Божий из Кириаф-Иарима.
6 Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.
И пошел Давид и весь Израиль в Кириаф-Иарим, что в Иудее, чтобы перенести оттуда ковчег Бога, Господа, седящего на Херувимах, на котором нарицается имя Его.
7 Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera.
И повезли ковчег Божий на новой колеснице из дома Авинадава; и Оза и Ахия вели колесницу.
8 Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere.
Давид же и все Израильтяне играли пред Богом из всей силы, с пением, на цитрах и псалтирях, и тимпанах, и кимвалах и трубах.
9 Bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, ente ezaali zisika essanduuko ne zeesittalamu, Uzza n’agolola omukono gwe okutereeza essanduuko.
Когда дошли до гумна Хидона, Оза простер руку свою, чтобы придержать ковчег, ибо волы наклонили его.
10 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Uzza, n’afiirawo, kubanga yakwata ku ssanduuko. N’afiira mu maaso ga Katonda.
Но Господь разгневался на Озу, и поразил его за то, что он простер руку свою к ковчегу; и он умер тут же пред лицем Божиим.
11 Awo Dawudi n’anyiiga nnyo kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, era ekifo ekyo ne kituumibwa Perezuzza, ne leero.
И опечалился Давид, что Господь поразил Озу. И назвал то место поражением Озы; так называется оно и до сего дня.
12 Dawudi n’atya nnyo Katonda ku lunaku olwo, n’abuuza nti, “Nnyinza ntya okuleeta essanduuko ya Katonda gye ndi?”
И устрашился Давид Бога в день тот, и сказал: как я внесу к себе ковчег Божий?
13 Awo n’atatwala ssanduuko mu kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
И не повез Давид ковчега к себе, в город Давидов, а обратил его к дому Аведдара Гефянина.
14 Essanduuko ya Katonda n’ebeera mu maka ga Obededomu okumala emyezi esatu, ne Mukama n’awa ennyumba ye n’ebintu bye byonna omukisa.
И оставался ковчег Божий у Аведдара, в доме его, три месяца, и благословил Господь дом Аведдара и все, что у него.