< 1 Ebyomumirembe 11 >

1 Isirayiri yenna ne bakuŋŋaanira eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti, “Laba tuli ba mubiri gwo, na musaayi gwo.
And all Israel came to David in Chebron, saying, Behold, we [are] your bones and your flesh.
2 Mu biro eby’edda, Sawulo bwe yali kabaka ggwe wakulembera Isirayiri mu ntalo. Era Mukama Katonda wo n’akugamba nti, ‘Ggwe olirabirira abantu bange Isirayiri, era oliba mukulembeze waabwe.’”
And heretofore when Saul was king, you were he that led Israel in and out, and the Lord of Israel said to you, You shall feed my people Israel, and you shall be for a ruler over Israel.
3 Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira eri Kabaka Dawudi e Kebbulooni, n’akola endagaano nabo e Kebbulooni mu maaso ga Mukama, era ne bafuka amafuta ku Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza mu kigambo kye ng’ayita mu Samwiri.
And all the elders of Israel came to the king to Chebron; and king David made a covenant with them in Chebron before the Lord: and they anointed David to be king over Israel, according to the word of the Lord by Samuel.
4 Awo Dawudi ng’ali wamu n’Abayisirayiri bonna ne boolekera Yerusaalemi, ye Yebusi. Ne basangayo Abayebusi abaabeerangamu.
And the king and his men went to Jerusalem, this [is] Jebus; and there the Jebusites the inhabitants of the land said to David,
5 Abayebusi ne bagamba Dawudi nti, “Tojja kuyingira muno.” Naye Dawudi n’awamba ekigo kya Sayuuni, ky’ekibuga kya Dawudi.
You shall not enter in hither. But he took the strong hold of Sion: this [is] the city of David.
6 Dawudi yali asuubizza nti, “Oyo anaakulembera okulumba Abayebusi, ye aliba Omuduumizi w’eggye omukulu.” Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’abakulembera era n’aweebwa obukulu obwo.
And David said, Whoever first smites the Jebusite, even he shall be chief and captain. And Joab the son of Saruia went up first, and became chief.
7 Awo Dawudi n’abeeranga mu kigo, era ne kituumibwa Ekibuga kya Dawudi.
And David lived in the strong hold; therefore he called it the city of David.
8 N’azimba ekibuga okukyetooloola, okuva ku Miiro okutuukira ddala ku bbugwe w’ekibuga, ate Yowaabu ye n’addaabiriza ebitundu ebirala eby’ekibuga.
And he fortified the city round about.
9 Awo Dawudi ne yeeyongeranga okuba ow’amaanyi, kubanga Mukama ow’Eggye yali wamu naye.
And David continued to increase, and the Lord Almighty [was] with him.
10 Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;
And these [are] the chiefs of the mighty men, whom David had, who strengthened [themselves] with him in his kingdom, with all Israel, to make him king, according to the word of the Lord concerning Israel.
11 Bano be basajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yasobeyamu Omukakumoni, eyali omukulu w’abaduumizi abasatu; era yayimusiza abasajja abalwanyi bisatu effumu lye bonna n’abatta mu lulumbagana lumu.
And this [is] the list of the mighty [men] of David; Jesebada, son of Achaman, first of the thirty: he drew his sword once against three hundred whom he killed at one time.
12 Eyamuddiriranga mu buyinza ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodo Omwakowa, era nga y’omu ku baduumizi abasatu.
And after him Eleazar son of Dodai, the Achochite: he was amongst the three mighty men.
13 Yali wamu ne Dawudi e Pasudawinimu, bwe baali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, mu nnimiro eyalimu sayiri omungi, era abaserikale badduka Abafirisuuti.
He was with David in Phasodamin, and the Philistines were gathered there to battle, and [there was] a portion of the field full of barley; and the people fled before the Philistines.
14 Naye baayimirira wakati mu nnimiro ne bagirwanirira, era ne batta Abafirisuuti, nga Mukama y’abawadde obuwanguzi.
And he stood in the midst of the portion, and rescued it, and struck the Philistines; and the Lord wrought a great deliverance.
15 Awo abasajja basatu ne balaga mu mpuku ya Adulamu omwali Dawudi, nga n’eggye ly’Abafirisuuti lisiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
And three of the thirty chiefs went down to the rock to David, to the cave of Odollam, and the camp of the Philistines [was] in the giants' valley.
16 Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, nga n’eggye ly’Abafirisuuti liri e Besirekemu.
And David [was] then in the hold, and the garrison of the Philistines [was] then in Bethleem.
17 Dawudi n’ayagala amazzi, n’agamba nti, “Singa wabaddewo omuntu anfunira amazzi ag’okunywa ag’omu luzzi oluli okumpi ne wankaaki ya Besirekemu.”
And David longed, and said, Who will give me water to drink of the well of Bethleem, that is in the gate?
18 Awo abasajja abazira abasatu ne bawaguza mu ggye ly’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi oluli okumpi ne wankaaki wa Besirekemu, era ne bagatwalira Dawudi. Naye Dawudi mu kifo ky’okuganywa yagawaayo ng’agafuka eri Mukama.
And the three broke through the camp of the Philistines, and they drew water out of the well that was in Bethleem, which was in the gate, and they took it, and came to David: but David would not drink it, and poured it out to the Lord, and said,
19 N’agamba nti, “Nnyinza ntya okunywa omusaayi gw’abasajja bano, abawaddeyo obulamu bwabwe, okumpi n’okubufiirwa?” Olw’okuwaayo obulamu bwabwe okugaleeta, Dawudi yali tasobola kuganywa. Obwo nno bwe bwali obuzira bw’abasajja abo.
God forbid that I should do this thing: shall I drink the blood of these men with their lives? for with [the peril of] their lives they brought it. So he would not drink it. These things did the three mighty [men].
20 Abisayi muganda wa Yowaabu ye yali omukulu w’abo abasatu, era oyo ye yayimusiza effumu abasajja abalwanyi bisatu era n’abatta, era kyeyava ayatiikirira mu basatu.
And Abisa the brother of Joab, he was chief of three: he drew his sword against three hundred slain at one time, and he had a name amongst the [second] three.
21 Yali mwatiikirivu nnyo okusinga abasatu, aboolubereberye, era n’aba muduumizi waabwe, newaakubadde nga teyabalibwa ng’omu ku bakulu.
He was more famous than the two [others] of the three, and he was chief [over] them; yet he reached not to the [first] three.
22 Benaya mutabani wa Yekoyaada yali mulwanyi omuzira ow’e Kabuzeeri, eyakola ebyobuzira bingi, era n’okutta yatta abasajja ababiri abaali basingayo amaanyi mu Mowaabu. Ate era yakka mu bunnya mu biro eby’omuzira n’atta empologoma.
And Banaia the son of Jodae was the son of a mighty man: many [were] his acts for Cabasael: he struck two lion-like men of Moab, and he went down and struck a lion in a pit on a snowy day.
23 Yatta Omumisiri omuwanvu ennyo eyali fuuti musanvu n’ekitundu. Newaakubadde nga Omumisiri yalina effumu eryenkana omuti ogulukirwako engoye, Benaya ye yagenda gyali ng’alina omuggo, era n’amuggyako effumu, n’alimuttisa.
And he struck an Egyptian, a wonderful man five cubits [high]; and in the hand of the Egyptian [there was] a spear like a weavers' beam; and Banaia went down to him with a staff, and took the spear out of the Egyptian's hand, and killed him with his own spear.
24 Ebyo bye bimu ku byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira nga bali abasajja abasatu ab’amaanyi.
These things did Banaia son of Jodae, and his name [was] amongst the three mighties.
25 Yaweebwa ekitiibwa kya waggulu nnyo okusinga abakulu amakumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa lya bali abasatu. Era Dawudi yamufuula omukulu w’abambowa be.
He was distinguished beyond the thirty, yet he reached not to the [first] three: and David set him over his family.
26 Abasajja abazira ab’eggye baali: Asakeri muganda wa Yowaabu, ne Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,
And the mighty [men] of the forces [were], Asael the brother of Joab, Eleanan the son of Dodoe of Bethleem,
27 ne Sammosi Omukalooli, ne Kerezi Omuperoni;
Samaoth the Arorite, Chelles the Phelonite,
28 ne Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa, ne Abiyezeeri Omwanasosi,
Ora the son of Ekkis the Thecoite, Abiezer the Anathothite,
29 ne Sibbekayi Omukusasi, ne Irayi Omwakowa,
Sobochai the Usathite, Eli the Achonite,
30 ne Makalayi Omunetofa, ne Keredi mutabani wa Bayaana Omunetofa,
Marai the Netophathite, Chthaod the son of Nooza the Netophathite,
31 ne Isayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea ow’ekika kya Benyamini, ne Benaya Omupirasoni,
Airi the son of Rebie of the hill of Benjamin, Banaias the Pharathonite,
32 ne Kulayi ow’oku bugga obw’e Gaasi, ne Abiyeeri Omwalubasi,
Uri of Nachali Gaas, Abiel the Garabaethite,
33 ne Azumavesi Omubakalumi, ne Eriyaba Omusaaluboni,
Azbon the Baromite, Eliaba the Salabonite,
34 batabani ba Kasamu Omugizoni, ne Yonasaani mutabani wa Sage Omukalali;
the son of Asam the Gizonite, Jonathan the son of Sola the Ararite,
35 ne Akiyamu mutabani wa Sakali Omukalali, ne Erifali mutabani wa Uli,
Achim the son of Achar the Ararite, Elphat the son of Thyrophar
36 ne Keferi Omumekera, ne Akiya Omuperoni,
the Mechorathrite, Achia the Phellonite,
37 ne Kezulo Omukalumeeri, ne Naalayi mutabani wa Ezubayi,
Esere the Charmadaite, Naarai the son of Azobai,
38 ne Yoweeri muganda wa Nasani, ne Mibukali mutabani wa Kaguli;
Joel the son of Nathan, Mebaal son of Agari,
39 ne Zereki Omwamoni, ne Nakalayi Omubeerosi, ey’etikkanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,
Sele the son of Ammoni, Nachor the Berothite, armour-bearer to the son of Saruia,
40 ne Ira Omuyisuli, ne Galebu Omuyisuli,
Ira the Jethrite, Gaber the Jethrite,
41 ne Uliya Omukiiti, ne Zabadi mutabani wa Akulayi,
Uria the Chettite, Zabet son of Achaia,
42 ne Adina mutabani wa Siza Omulewubeeni, eyali omukulembeze wa Balewubeeni, n’amakumi asatu abaabeeranga naye,
Adina son of Saeza, a chief of Ruben, and thirty with him,
43 ne Kanani mutabani wa Maaka, ne Yosafaati Omumisuni,
Anan the son of Moocha, and Josaphat the Matthanite,
44 ne Uzziya Omwasutaloosi, ne Samma ne Yeyeri batabani ba Kosamu Omwaloweri,
Ozia the Astarothite, Samatha and Jeiel sons of Chotham the Ararite,
45 ne Yediyayeri mutabani wa Simuli, ne muganda we Yoka, nga bombi Batiizi,
Jediel the son of Sameri, and Jozae his brother the Thosaite,
46 ne Eryeri Omumakavi, ne Yeribayi ne Yosaviya batabani ba Erunaamu, ne Isuma Omumowaabu,
Eliel the Maoite, and Jaribi, and Josia his son, Ellaam, and Jethama the Moabite,
47 ne Eryeri, ne Obedi ne Yaasiyeri Omumezoba.
Daliel, and Obeth, and Jessiel of Mesobia.

< 1 Ebyomumirembe 11 >