< Zaccharias Propheta 13 >

1 in die illa erit fons patens domus David et habitantibus Hierusalem in ablutionem peccatoris et menstruatae
“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.
2 et erit in die illa dicit Dominus exercituum disperdam nomina idolorum de terra et non memorabuntur ultra et prophetas et spiritum inmundum auferam de terra
“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
3 et erit cum prophetaverit quispiam ultra dicent ei pater eius et mater eius qui genuerunt eum non vives quia mendacium locutus es in nomine Domini et configent eum pater eius et mater eius genitores eius cum prophetaverit
Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.
4 et erit in die illa confundentur prophetae unusquisque ex visione sua cum prophetaverit nec operientur pallio saccino ut mentiantur
“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.
5 sed dicet non sum propheta homo agricola ego sum quoniam Adam exemplum meum ab adulescentia mea
Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’
6 et dicetur ei quid sunt plagae istae in medio manuum tuarum et dicet his plagatus sum in domo eorum qui diligebant me
Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’”
7 framea suscitare super pastorem meum et super virum coherentem mihi dicit Dominus exercituum percute pastorem et dispergantur oves et convertam manum meam ad parvulos
“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange, olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. “Kuba omusumba endiga zisaasaane nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
8 et erunt in omni terra dicit Dominus partes duae in ea disperdentur et deficient et tertia pars relinquetur in ea
Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama, “bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo, naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
9 et ducam tertiam partem per ignem et uram eas sicut uritur argentum et probabo eos sicut probatur aurum ipse vocabit nomen meum et ego exaudiam eum dicam populus meus es et ipse dicet Dominus Deus meus
Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro, ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa. Balikoowoola erinnya lyange nange ndibaanukula. Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’ era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’”

< Zaccharias Propheta 13 >